2 ABATESSALONIKA 1
1
Okulamusa
1Nze Pawulo, ne Siluvaano ne Timoteewo, tuwandiikira ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ab'omu Tessalonika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo.#Laba ne Bik 17:1 2Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa era babawe emirembe.
Okugumya abakkiriza
3Abooluganda, tuteekwa okwebaza Katonda bulijjo ku lwammwe. Ekyo tusaanye okukikola kubanga okukkiriza kwammwe kukula nnyo, era n'okwagala buli omu mu mmwe kw'ayagalamu banne kweyongera. 4Naffe ffennyini kyetuva twenyumiriza ku lwammwe mu bibiina by'abakkiririza Katonda mu Kristo. Twenyumiriza olw'okugumiikiriza n'olw'okukkiriza kwammwe mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna, ne mu kubonaabona bye mugumira.
5Ekyo kiraga nti Katonda mwenkanya mu kulamula kwe, kubanga ku nkomerero mulisaanira Obwakabaka bwa Katonda bwe mubonaabonera. 6Katonda mwenkanya, alibonereza abo abababonyaabonya, 7ate mmwe ababonyaabonyezebwa n'abawa ekiwummulo awamu naffe. Ebyo biribaawo Mukama waffe Yesu bw'alirabika ng'ava mu ggulu, ng'ali ne bamalayika be ab'amaanyi. 8Walibaawo n'omuliro ogwaka, abonereze abo abatamanyi Katonda, n'abo abagaana okukkiriza Amawulire Amalungi aga Mukama waffe Yesu. 9Baliweebwa ekibonerezo eky'okuzikirira okw'emirembe n'emirembe, ne bagobebwa mu maaso ga Mukama oweekitiibwa ennyo.#Laba ne Yis 2:10
10Ebyo biribaawo ku lunaku lw'alijjirako okugulumizibwa mu batukuvu be, bonna abakkiriza ne bamulaba mu kitiibwa kye. Nammwe muliba wamu nabo, kubanga mwakkiriza ebyo bye twabategeeza.
11Bulijjo kyetuva tubasabira eri Katonda waffe, abasaanyize ekyo kye yabayitira, era mu buyinza bwe, atuukirize ebirungi byonna bye mumaliridde okukola, ne bye mukola olw'okukkiriza. 12Olwo Mukama waffe Yesu alyoke aweebwe ekitiibwa mu mmwe, nammwe muweebwe ekitiibwa mu ye. Ekyo kituukirizibwe olw'ekisa kya Katonda waffe, ne Mukama Yesu Kristo.
Currently Selected:
2 ABATESSALONIKA 1: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.