2 ABATESSALONIKA Ennyanjula
Ennyanjula
Okutabukatabuka okwaleetebwa okudda kwa Kristo okwali kulindirirwa, kwayongera okuleeta emitawaana mu kibiina ky'abagoberezi ba Kristo ab'e Tessalonika. Ebbaluwa eyookubiri Pawulo gye yawandiikira Abatessalonika, ekola ku nzikiriza egamba nti olunaku olw'okudda kwa Mukama lwatuuka dda. Pawulo agolola endowooza eyo, ng'alaga nti nga Kristo tannaba kudda, obubi n'obwonoonefu bulimala kweyongera ne butuuka ku ntikko, nga bukulemberwa oyo ayitibwa Omuntu Omwonoonyi aliwakanya Kristo.
Omutume akubiriza b'awandiikira okusigala nga banywevu mu kukkiriza kwabwe, wadde nga waliwo ebizibu n'okubonaabona, bakolenga emirimu okweyimirizaawo mu bulamu nga Pawulo ne bakozi banne bwe bakola okweyimirizaawo, era banywerere mu kukolanga ebirungi.
Ebiri mu bbaluwa eno mu bufunze
Ennyanjula 1:1-2
Okutendereza Katonda n'okwagaliza Abatessalonika ebirungi 1:3-12
Okuyigiriza ebifa ku kudda kwa Kristo 2:1-17
Okukubiriza Abakristo okuyisa obulungi 3:1-15
Okufundikira 3:16-18
Currently Selected:
2 ABATESSALONIKA Ennyanjula: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.