YouVersion Logo
Search Icon

2 ABAMAKKABEEWO 7

7
Omuzadde n'abaana be musanvu battibwa olw'eddiini yaabwe
1Mu biseera ebyo abooluganda musanvu ne bakwatibwa wamu ne nnyaabwe. Kabaka n'abakuba ng'ayagala okubawaliriza okulya ennyama y'embizzi etekkirizibwa mu mateeka g'eddiini yaabwe.#Laba ne Beb 11:35-36 2Omu ku bo n'ayogerera bonna, n'agamba nti: “Kiki ky'onoonya okumanya ku ffe? Tuli beetegefu okufa, okusinga lwe tumenya amateeka ga bajjajjaffe.”
3Kabaka n'asunguwala nnyo. N'alagira okubugumya amaseffuliya n'ensaniya ez'ekikomo ezisiikirwako. Bwe byamala okwengerera, 4n'alagira basale olulimi lw'oyo eyayogera, bamubaageko n'olususu ku mutwe, era bamutemeko emikono n'amagulu nga baganda be ne nnyina balaba. 5Ng'amaze okufuulibwa bw'atyo atakyeyinza, kabaka n'alagira bamusembeze ku muliro ng'akyassa, bamusuule ku lusaniya olusiikirwako. Ekikoomi ky'omukka n'evvumbe bwe byanyooka okuva ku lusaniya, abooluganda ne nnyaabwe ne bagumyagana okufa nga bazira. 6Ne bagamba nti: “Mukama Katonda alaba bwe tubonaabona era ddala atusaasira nga Musa bwe yagamba mu luyimba lwe olunenya abeggya ku Mukama. Yagamba nti: ‘Mukama ajja kusaasira abaweereza be’ ”.#Laba ne Ma 32:36
7Owooluganda eyasooka bwe yamala okufa bw'atyo, abaserikale ne bakudaalira owookubiri. Ne bamukuunyuulako enviiri, ne bamususumbulako olususu ku mutwe. Ne balyoka bamubuuza nti: “Kaakano okkiriza okulya ennyama y'embizzi okusinga lw'onoolaba nga buli nnyingo erumizibwa?” 8N'addamu mu lulimi lwe nti: “Nedda!” Bwe batyo ne bamubonyaabonya nga bwe baakola eyasooka. 9Bwe yali ng'anaatera okussa omukka ogw'enkomerero, n'agamba kabaka nti: “Mutemu ggwe! Kale tuggyeeko obulamu buno. Naye kabaka w'ensi zonna alituzuukiza n'atuwa obulamu obutaggwaawo, kubanga tufudde olw'okukwata amateeka ge.”
10Oyo bwe yavaawo ne bakudaalira owookusatu. Bwe baamulagira okuggyayo olulimi lwe, n'aluggyayo mangu, era n'agolola emikono gye n'obuzira. 11N'agamba n'obuvumu nti: “Katonda ye yampa emikono gino. Olw'amateeka ge sigirabamu kantu, era neesiga nti aliginziriza.”
12Kabaka n'abo abaali naye ne beewuunya obuvumu bw'omuvubuka oyo, kubanga teyatya kubonyaabonyezebwa. 13Bwe yamala okufa ne batta owookuna mu ngeri y'emu nga bamubonyaabonya. 14Bwe yali ng'anaatera okutondoka, n'agamba nti: “Kirungi okuttibwa abantu nga tulina essuubi nti Katonda alituzuukiza. Naye ggwe kabaka tolizuukirira bulamu.”
15Bwe baaleeta owookutaano ne bamubonyaabonya, 16n'asimba kabaka amaaso, n'agamba nti: “Olw'obuyinza bw'olina ku bantu okola ky'oyagala newaakubadde nga naawe oli wa kufa. Naye leka kulowooza nti Katonda ayabulidde abantu b'eggwanga lyaffe. 17Linda ojje olabe obuyinza bwe obw'amaanyi bwe bukubonyaabonya ggwe n'ezzadde lyo!”
18Oyo bwe baamuggyawo ne baleeta ow'omukaaga. Ono bwe yali ng'anaatera okufa n'agamba nti: “Leka kwerimba. Ffe tubonaabona nga bwe kitusaanira kubanga twasobya eri Katonda. 19Naye ggwe agezaako okulwanyisa Katonda, leka kulowooza nti oliwona ekibonerezo.”
20Nnyaabwe ye yeewuunyisa ennyo, era asaanye okujjukirwanga. Newaakubadde nga yalaba batabani be omusanvu nga bazikirira mu lunaku lumu, era yakigumira n'obuzira kubanga yali yeesiga Mukama. 21Mu bigambo eby'amagezi yagumya buli omu ku batabani be mu lulimi lwabwe. Yagattika eggonjebwa ery'omuzadde omukazi n'obuvumu obw'omusajja, n'abagamba nti: 22“Simanyi nga bwe mwatondebwa munda yange. Si nze nabawa obulamu n'okussa omukka, era si nze nayunga ennyingo za buli omu ku mmwe. 23Kale Omutonzi w'ensi abumba abantu ne bazaalibwa, era ensibuko y'ebintu byonna, olw'ekisa kye buli omu ku mmwe alimuddiza obulamu n'okussa omukka, kubanga mwagala amateeka ge okusinga bwe mwagala obulamu bwammwe.”
24Antiyooko yalaba ng'anyoomeddwa, era ng'ebigambo by'omukazi ono bimuvuma buvumi. Kyeyava agezaako okukkirizisa omulenzi asinga obuto, eyali akyasigaddewo, alekeyo empisa za bajjajjaabe. Teyakoma ku kumugamba bugambi kwokka, naye yalayira n'okulayira nga bw'ajja okumuwa obugagga n'ekitiibwa, nga bw'ajja okumufuula mukwano gwe, amuwe n'obukulu okulabirira eby'eggwanga. 25Kyokka omulenzi n'atawuliriza. Antiyooko kyeyava ayita nnyina w'omulenzi oyo, n'amusaba abuulirire omwana we ku by'okuwonya obulamu bwe. 26Kabaka bwe yamwegayirira ennyo, omukazi n'akkiriza. 27Bwe yakutama n'asemberera mutabani we, n'alimbalimba kabaka omukambwe, ng'agamba mu lulimi lwabwe nti: “Mwana wange, nkwatirwa ekisa. Jjukira nti namala emyezi mwenda ng'oli mu lubuto lwange. Nakuyonseza emyaka esatu. Nakulera, ne nkulabirira n'okula okutuuka ku myaka gy'oliko. 28Kale mwana wange, nkwegayirira otunuulire eggulu n'ensi olabe byonna ebibirimu, omanye nti Katonda yabikola nga talina birala mw'abiggya. Era bw'atyo bwe yatonda olulyo lw'abantu. 29Leka kutya mutemu ono. Kkiriza okufa, okakase nti osaanidde okuba awamu ne baganda bo, olw'ekisa kya Katonda ndyoke nziremu okukufuna wamu nabo mu kuzuukira.”
30Bwe yali ng'akyayogera, omuvubuka n'agamba nti: “Mulinda ki? Sijja kugondera kiragiro kya kabaka, wabula eky'omu mateeka agaaweebwa bajjajjaffe nga gayita mu Musa. 31Ggwe oyiiyizza amagezi aga buli ngeri okubonyaabonya Abayudaaya, naye togenda kuwona kibonerezo Katonda ky'akutegekedde. 32Ffe newaakubadde Mukama atusunguwalidde okumala akabanga, 33n'atubonereza okutugolola, ajja kutuddiramu, kubanga tuli baweereza be. 34Naye ggwe omubi, ggwe osingirayo ddala obukambwe mu bantu bonna. Leka kwerimba n'okwekulumbaliza obwereere ng'oyigganya abaweereza ba Katonda. 35Tolina gy'onoowonera kusalirwa musango Katonda Omuyinzawaabyonna. 36Baganda bange nga bamaze okugumira obulumi obw'akaseera obuseera, bali mu bulamu obutaggwaawo, Katonda bwe yalagaanya. Naye ggwe, Katonda alikusalira omusango n'akubonereza nga bw'osaanira olw'okwekulumbaza kwo. 37Nze mpaayo obulamu bwange n'omubiri gwange nga baganda bange bwe bakoze olw'amateeka ga bajjajjaffe. Naye era nsaba Katonda ayanguwe okukwatirwa abantu be ekisa, era naawe akubonyeebonye, okkirize nti ye ye Katonda yekka. 38Era nsaba nti nze ne baganda bange ffe tuba tusembayo okubonerezebwa obusungu bwa Katonda Omuyinzawaabyonna, bwe yali omutuufu okusiba ku ggwanga lyaffe lyonna.”
39Kabaka n'asunguwala nnyo, n'alagira ono bamubonyeebonye okusinga baganda be, kubanga yalaba nti by'ayogedde bya bunyoomi. 40Bw'atyo n'ono n'afa nga teyeejaajaamizza, era nga yeeweeredde ddala Mukama. 41Oluvannyuma ng'abatabani baweddewo, ne nnyaabwe n'attibwa.
42Kale okulya ennyama y'ebitambiro n'okubonyaabonyezebwa mbyogeddeko ekimala.

Currently Selected:

2 ABAMAKKABEEWO 7: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in