2 ABAMAKKABEEWO 8
8
Yuda Makkabeewo yeediima
(Laba ne 1 Bamak 3:1-26)
1Yuda Makkabeewo ne mikwano gye baagendanga mu bubba ne bayingira mu buli kyalo ne bakuŋŋaanya bannaabwe abanyweredde ku ddiini y'Ekiyudaaya, ne baweza abantu nga kakaaga. 2Ne basaba Mukama atunuulize ekisa abantu be, abayigganyizibwa amawanga gonna, era atunuulire Essinzizo eryonooneddwa abantu abatamussaamu kitiibwa, 3atunuulire n'ekibuga Yerusaalemu ekizikiriziddwa kumpi okusaanyirizibwawo ddala, akikwatirwe ekisa. 4Era ne basaba Mukama abonereze abo abattira obwereere abaana abato era n'abamuvvoola, bw'atyo alage nga bw'akyawa ebibi byabwe.
5Makkabeewo bwe yamala okutereeza eggye lye, ab'amawanga amalala ne balemwa okumuwangula, kubanga Katonda eyasooka okubasunguwalira, yali abakwatiddwa ekisa. 6Makkabeewo yazinduukirizanga ebibuga n'ebyalo n'abikumako omuliro, n'awamba ebifo ebikulu, n'awangula ebibinja by'abalabe bingi. 7Okulumba kuno yasinganga kukukola kiro. Obuzira bwe ne bumanyibwa wonna.
Nikanori atumibwa okulwanyisa Yuda
(Laba ne 1 Bamak 3:38-41)
8Filipo omufuzi w'e Yerusaalemu bwe yalaba nga Yuda agenda yeenyweza mpola mpola, era ng'obuwanguzi bwe bweyongera obungi, n'awandiikira Putoleme omufuzi omukulu owa Fenikiya, amuwe obuyambi okutaasa obwakabaka. 9Amangwago Putoleme n'atuma Nikanori mutabani wa Paterokulo, omu ku mikwano gya kabaka abakulu, n'amuwa abaserikale abasoba mu mitwalo ebiri, ab'amawanga agatali gamu, azikirize eggwanga ly'Abayudaaya lyonna. Era n'amuteekako Gorugiya omukulu mu magye era omumanyirivu mu by'entalo. 10Nikanori n'abalirira nti ajja kutunda Abayudaaya mu buddu, asobole okufunira kabaka talanta enkumi bbiri ez'okusasula omusolo, Abarooma gwe baali bamubanja. 11Amangwago kyeyava atumya ab'omu bibuga by'oku lubalama lw'ennyanja bajje beegulire ku baddu Abayudaaya. Era n'abasuubiza nti ajja kubaguza abaddu kyenda ku talanta emu. Yali talowoozezza ku kibonerezo Katonda Omuyinzawaabyonna ky'amutegekedde.
Yuda amanya entegeka za Nikanori
(Laba ne 1 Bamak 3:42-54)
12Yuda yamanya nti Nikanori ajja e Buyudaaya, n'ategeeza banne be yali nabo. 13Abamu ku bo abatiitiizi era abateesiga Katonda omwesigwa ne badduka okwewonya. 14Naye abalala ne batunda ebyabwe byonna bye baali bakyasigazizza, era ne basaba Mukama abawonye Nikanori atassaamu Katonda kitiibwa, eyali amaze okubatunda mu buddu nga n'olutalo terunnabaawo. 15Ne basaba nti Mukama bw'atandibawonyezza ku lwabwe bonna, wadde abawonye olw'endagaano ze yakola ne bajjajjaabwe, era kubanga ye Katonda omutuukirivu era oweekitiibwa, yabayita babeere babe.
16Awo Yuda n'akuŋŋaanya abantu be, ne bawera kakaaga. N'abakubiriza obutatabagana na balabe era obutatya nga balaba obungi bw'amagye g'ab'amawanga amalala abajja okubalumba awatali nsonga, naye balwane n'obuzira, 17nga bajjukira ebibi ebingi abo ab'amawanga amalala bye baakola Ekifo Ekitukuvu, era bajjukire nga bwe baabonyaabonya ennyo ab'omu Yerusaalemu ne babaswazaswaza, era ne basaanyaawo empisa za bajjajjaabwe. 18Era n'agamba nti: “Bali beesiga byakulwanyisa era n'obuvumu bwabwe. Naye ffe twesiga Mukama Omuyinzawaabyonna, asobola okukutamya obukutamya ku mutwe n'azikiriza si abo bokka abajja okutulwanyisa, naye n'ensi yonna.”
19Yuda n'ayongera okubajjukiza nga Katonda bwe yayamba bajjajjaabwe. Mu mulembe gwa Sennakeribu abalabe emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano baazikirizibwa. 20Era olulala mu Babilooniya, Abayudaaya kanaana nga bayambibwako Abamakedooniya enkumi nnya, Katonda yabakwatirako ne bawangula Abagalatiya emitwalo kkumi n'ebiri.
Yuda awangula Nikanori
(Laba ne 1 Bamak 3:55–4:27)
21Yuda bwe yayogera ebyo, ne baddamu amaanyi, ne beewaayo okufiirira eddiini yaabwe n'eggwanga lyabwe. Awo eggye n'alyawulamu ebitundu bina. 22Ye ne baganda be Simooni ne Yosefu ne Yonataani buli omu n'aduumirako kimu nga kirimu abantu lukumi mu bitaano. 23Bwe yamala okulagira Eleyazaari n'asoma eby'omu kitabo ekitukuvu bonna nga bawulira, n'abagumya nti: “Katonda ye muyambi waffe.” Olwo ye yennyini n'akulemberamu okulwanyisa Nikanori.#Laba ne 1 Bamak 3:48
24Katonda Omuyinzawaabyonna n'alwanira ku ludda lwabwe, ne batta abalabe abasoba mu kenda. N'abalala bangi ne babatuusaako ebisago. Eggye lyonna ne lidduka. 25Ne banyaga ensimbi z'abo abaali bazze okubagula babafuule abaddu. Ne bagoba abalabe ne babatuusa wala. 26Naye obudde ne bubawaliriza okudda, kubanga lwe lwali olunaku olukulembera Sabbaato. 27Bwe baamala okunyaga ebyokulwanyisa by'abalabe, n'omunyago gwe baabasuuza, ne bakuuma Sabbaato nga batendereza Mukama era nga bamwebaza, kubanga yabatuusa ku lunaku olwo, era ng'abalaze bw'atandise okubakolera eby'ekisa. 28Sabbaato bwe yaggwaako, eby'omunyago ebimu ne babigabira abantu abaabonyaabonyezebwa, ne bannamwandu ne bamulekwa. Ebyasigalawo ne babigabana bo bennyini n'ab'omu maka gaabwe. 29Ebyo bwe byaggwa bonna ne bakuŋŋaana okusaba Mukama, ow'ekisa ne bamwegayirira addemu okussa ekimu n'abaweereza be.
Yuda awangula Timoteewo ne Bakide
30Mu ntalo Abayudaaya ze balwanagana n'amagye ga Timoteewo ne Bakide battiramu abantu abasoba mu mitwalo ebiri, ne bawamba ebigo eby'okwerindiramu ebyazimbibwa ku nsozi waggulu, era ne banyaga ebintu bingi bye baagabanira wakati, bo ne batwalako ekitundu ekimu, ekirala ne bakiwa abaabonyaabonyezebwa ne bannamwandu ne bamulekwa n'abakadde. 31Ebyokulwanyisa by'abalabe byonna bye baabasuuza ne babikuŋŋaanya ne babitereka bulungi mu bifo ebinywevu. Eby'omugaso ebirala ebyasigalawo ne babitwala e Yerusaalemu. 32Ne batta omuduumizi w'amagye ga Timoteewo, omusajja omubi ennyo, eyali abonyaabonyezza ennyo Abayudaaya. 33Ate bwe baali mu Yerusaalemu ekibuga kya bajjajjaabwe nga bajaguza olw'okuwangula olutalo, ne bookya abo abaali bookezza emiryango gy'ekifo ekitukuvu. Mu abo mwe mwali Kalisitene n'abalala abaali beekukumye mu nnyumba. Bwe batyo ne baweebwa ekibonerezo ekibasaanira olw'obutassaamu Katonda kitiibwa.
Nikanori adduka
34Nikanori omwonoonefu ennyo eyali aleese abasuubuzi olukumi okugula Abayudaaya, 35abantu abo bennyini be yali anyooma ennyo, Mukama yabakwatirako ne bamuwangula. Kyeyava yeeyambulamu ekyambalo kye ekirungi, ne yessa mu lugendo ng'ali yekka ng'omuddu atoloka, n'ayita mu nsi eyo, okutuusa lwe yatuuka mu Antiyookiya ng'ali mu buyinike olw'eggye lye lyonna okuzikirizibwa. 36Omusajja ono eyali asuubizza okusasula Abarooma omusolo ng'atunda abantu b'e Yerusaalemu, n'ayatula mu lwatu nti Abayudaaya balina abalwanirira era nti tebawangulwa, kubanga bakwata amateeka Oyo abalwanirira ge yateekawo.
Currently Selected:
2 ABAMAKKABEEWO 8: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.