2 ABAMAKKABEEWO 6
6
Abayudaaya bayigganyizibwa olw'eddiini yaabwe
1Bwe waayitawo ekiseera kitono, kabaka n'atuma omukungu w'omu lukiiko lwa Ateene ajje awalirize Abayudaaya okulekayo eddiini yaabwe n'empisa za bajjajjaabwe. 2Era yamutuma ayonoone Essinzizo ly'e Yerusaalemu, alifuule erya lubaale Zeewo ow'e Olimpo, ate Essinzizo ery'e Gerizimu alituume “Essinzizo lya Zeewo Lubaale ayaniriza abagenyi”, ng'abatuuze b'omu kitundu ekyo bwe baasaba.
3Okuwalirizibwa okukola ebibi ebyo kwaluma nnyo Abayudaaya, era nga tekugumiikirizika. 4Essinzizo ab'amawanga amalala baalifuula lya kukoleramu binyumu na bya bugwenyufu, ne batuuka n'okwebakamu n'abakazi bamalaaya, era n'okuteekamu ebintu eby'omuzizo. 5N'ekifo ky'ebitambiro kyennyini ne kijjuzibwamu ebintu ebigaanibwa mu mateeka. 6Abantu baali tebakyasobola kukuuma Sabbaato n'ennaku enkulu ez'eggwanga, wadde okwatula nti Bayudaaya.
7Buli mwezi olunaku lw'amazaalibwa ga Kabaka Antiyooko bwe lwatuukanga, baawalirizibwanga lwa mpaka okulya ebyenda by'ensolo ezittiddwa olw'ebitambiro. Ate ku lunaku olukulu olwa Diyonisiyo lubaale w'omwenge gw'emizabbibu, baateekwanga okwetikkira ku mitwe emige egy'amakoola n'okwetaba mu kukumba. 8Putoleme yawa amagezi ne wayisibwawo etteeka nti ne mu bibuga ebirala eby'Abayonaani, Abayudaaya bawalirizibwenga okulya ennyama y'ensolo ezittiddwa olw'ebitambiro. 9Era Abayudaaya bonna abagaana okukwata empisa z'Abayonaani battibwenga buttibwa. Olwo ne kirabika lwatu nti akabi kabatuukiridde. 10Kale abakazi babiri battibwa olw'okuwaayo abaana baabwe abato okukomolebwa. Baabatambuza okwetooloola ekibuga nga bawambaatidde abaana baabwe abo mu kifuba, oluvannyuma ne babalinnyisa waggulu ku kisenge, ne babakasuka wansi.#Laba ne 1 Bamak 1:60-61 11Abayudaaya abalala baali bakuŋŋaanidde mu mpuku ez'okumpi bakuze olunaku lwa Sabbaato mu nkukutu. Baabaloopa eri Filipo, ne babookeramu nga balamu. Olw'okussaamu ennyo Sabbaato ekitiibwa, tebeerwanako kwetaasa.#Laba ne 1 Bamak 2:32-38
Mukama abonereza ate n'asaasira
12Nsaba abasoma ekitabo kino baleme kuterebuka olw'ebyo ebyabaawo, naye bategeere nti ebyo byonna byagwawo si lwa kuzikiriza ggwanga lyaffe, naye lwa kulibonereza. 13Era ddala kaba kabonero ka busaasizi abantu okubonerezebwa amangwago olw'ebibi byabwe, okusinga lwe balekerwa awo ebbanga eddene. 14Ku ffe Mukama takola nga bw'akola ku b'amawanga amalala. Ku bo asooka n'agumiikiriza, n'abaleka, ebibi byabwe ne biyitirira obungi nga tannababonereza. 15Naye ffe atubonereza nga tetunnayonoona kisukkiridde. 16Bw'atyo Mukama talekangayo kutukwatirwa kisa ffe abantu be. Ne bw'atuleka okugwa mu buyinike okutubonereza, tatwabulira n'akatono. 17Bino mbyogedde olw'okwejjukanya. Kati ka tuddeyo ku bye tubadde twogerako.
Eleyazaari afiirira eddiini ye
18Waaliwo omusajja omukulu era oweekitiibwa, omu ku bannyonnyozi b'amateeka, ayitibwa Eleyazaari, gwe baawaliriza okulya ennyama y'embizzi nga bamukwata lwa mpaka ne bagimuteeka mu kamwa.#Laba ne Leev 11:7-8; Beb 11:35 19Kyokka ye n'asiima okufa ng'alina ekitiibwa okusinga lw'asigaza obulamu n'aswala. Kyeyava awandula ennyama eyo, ne yeetwala yekka mu kifo gye babonyaabonyeza abantu. 20Yakola ng'abantu abazira abagaanira ddala okulya eby'omuzizo, newaakubadde ekyo nga kibatuusa okufiirwa obulamu bwabwe. 21Abantu abaalabiriranga omukolo ogw'okulya ennyama eyo baali bamanyiganye ne Eleyazaari okumala ebbanga ggwanvu. Kyebaava bamuzza ku bbali, ne bamugamba nti ye yennyini yeereetere ennyama gy'akkirizibwa okulya afaanane ng'alya eyo ey'ebitambiro, kabaka gye yalagira. 22Bw'anaakola bw'atyo aleme kuttibwa.
23Kyokka Eleyazaari n'asalawo ekyo ekisaanidde okukolebwa omuntu ow'envi ze, n'ow'emyaka gye. Yali wa mpisa obulamu bwe bwonna ng'akwata ebiragiro bya Katonda okuviira ddala mu buto. 24Kyeyava abaddamu nti waakiri attibwe, n'agamba nti: “Okulimba ng'okwo tekusaanira muntu wa myaka gyange. Sikulwa ng'abavubuka balowooza nti Eleyazaari yeegaana eddiini ye ng'awezezza emyaka kyenda. 25Singa nfaanana ng'alidde ennyama eno olw'okweyongerako okuba omulamu akaseera kano akatono, nja kweswaza nzennyini era nkyamye bangi abakyali abato. 26Kati weewaawo nkyayinza okuwona ekibonerezo abantu kye bampa. Naye oba mba mulamu oba nfa, siyinza kweggya mu buyinza bwa Katonda Omuyinzawaabyonna. 27N'olwekyo kati singa nfa masajja, nja kulaga nti ntegeera obukadde bwange. 28Era nja kulekera abakyali abato ekyokulabirako ekirungi nti tusaanidde okwewaayo nga tusanyuka okufiirira amateeka gaffe amatukuvu era ageekitiibwa.”
Olwamala okwogera ebyo n'alaga mu kifo mwe babonyaabonyeza abantu. 29Abo bennyini abaali bamukwatirwa ekisa mu kaseera katono akaakayita ne bamukambuwalira, kubanga baalowooza nti by'ayogedde bya kwekulumbaza. 30Bwe yali ng'anaatera okufa olw'okukubibwa, n'aleekaana nti: “Mukama omutuukirivu amanyi byonna. Amanyi nti nandisobodde okuwona okubonaabona kuno okukambwe, era n'olumbe. Era amanyi nti ndi musanyufu okubonaabona olw'okumussaamu ekitiibwa.”
31Bw'atyo Eleyazaari n'afa. Naye okufa kwe okw'obuzira kunajjukirwanga si abo bokka abakyali abato, naye n'eggwanga lyonna ng'ekyokulabirako ekyekitiibwa.
Currently Selected:
2 ABAMAKKABEEWO 6: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.