2 ABAKORINTO 8
8
Okugaba
1Abooluganda, twagala mumanye ekisa Katonda kye yakwatirwa ebibiina by'abakkiriza Kristo eby'omu Makedooniya.#Laba ne Bar 15:26 2Mu kugezebwa kwabwe, nga babonyaabonyezebwa ennyo, baafuna essanyu lingi, ne libaleetera okugaba nga tebeebalira, newaakubadde nga baavu nnyo. 3Era nkakasa nti baagaba ng'okufuna kwabwe bwe kuli. Naye era baasinzaawo, ate nga beeyagalidde bokka. 4Baatwegayirira nnyo bakkirizibwe okwegatta n'abo abayamba abantu ba Katonda. 5Era baakola kye twali tutasuubira! Okusooka beewaayo eri Mukama, era olw'okwagala kwa Katonda, ne beewaayo eri ffe. 6Kyetwava tusaba Tito eyatandika omulimu ogwo ogw'ekisa ajje agumalirize ne mu mmwe.
7Kale nga bwe musukkirira mu byonna, mu kukkiriza ne mu kwogera ne mu kumanya ne mu kunyiikirira byonna era ne mu kutwagala, twagala musukkirire ne mu mulimu guno ogw'ekisa.
8Ekyo sikyogera nga mbalagira bulagizi, wabula mbalaga abalala nga bwe beetegese okuyamba, ndyoke ndabe nti okwagala kwammwe kwa mazima. 9Mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo. Mumanyi nti newaakubadde nga yali mugagga, kyokka yafuuka mwavu ku lwammwe, mmwe mulyoke mugaggawale olw'obwavu bwe.
10Amagezi ge mbawa ku kino, kwe kumaliriza ekyo kye mwatandika omwaka ogwayita. Mmwe mwasinga, si mu kukola kwokka, naye ne mu kusanyukira kye mukola. 11Kale obumalirivu bwammwe mu kwagala okukikola, bulabikire mu kukimaliriza, nga mukozesa ebyo bye mulina. 12Kuba oba nga mwegomba okubaako kye muwaayo, Katonda akkiriza ekyo kye mulina, sso si ekyo kye mutalina.
13Saagala muyambe balala ate mmwe mwerumye. 14Naye olw'obwenkanya, mmwe bye mulina ebingi mu kiseera kino, biyambe bo mu kwetaaga kwabwe. Ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi, biriyamba mmwe mu kwetaaga kwammwe, walyoke wabeewo okwenkanankana. 15Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Eyakuŋŋaanya ebingi, tebyamuyitirirako, n'eyakuŋŋaanya ebitono, yafuna ebimumala.”#Laba ne Kuv 16:18
Tito ne banne
16Kyokka twebaze Katonda awadde Tito omwoyo ogubalumirwa ennyo nga ffe gwe tulina. 17Teyakoma ku kukkiriza bukkiriza kye twamusaba, wabula naye yennyini yali mwetegefu, era ajja kujja gye muli nga yeeyagalidde. 18Era awamu naye, tubatumidde owooluganda amanyiddwa ennyo ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo. Amanyiddwa kubanga ategeeza abantu Amawulire Amalungi. 19Era ekirala, ebibiina by'abakkiriza Kristo bimulonze okutuwerekera n'okutuyamba mu mulimu guno ogw'ekisa, gwe tukola olw'okuweesa Katonda ekitiibwa n'okulaga bwe twagala okuyamba.
20Twegendereza waleme kubaawo atwemulugunyiza olw'engeri gye tugabanyaamu ebirabo abantu bye bawa. 21Kye tugenderera kwe kukola ebirungi, si mu maaso ga Katonda yekka, wabula ne mu maaso g'abantu.#Laba ne Nge 3:4
22Era awamu nabo, tubatumidde owooluganda omulala, gwe tugezezza emirundi emingi, ne tusanga nga munyiikivu mu bintu bingi. Era kaakano yeeyongedde okuba omunyiikivu, kubanga abeesiga nnyo mmwe. 23Tito ye, ye mukozi munnange bwe tukola mu kubaweereza mmwe. Era baganda baffe abo, be babaka b'ebibiina by'abakkiriza Kristo, era abaweesa Kristo ekitiibwa.
24Kale mu maaso g'ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo, mubalage ekikakasa okwagala kwammwe n'okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe.
Currently Selected:
2 ABAKORINTO 8: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: