YouVersion Logo
Search Icon

2 ABAKORINTO 7

7
Ebisanyusa Pawulo
1Abaagalwa, nga bwe twasuubizibwa ebyo, twetukuze, mu ebyo byonna ebyonoona omubiri, n'ebyonoona omwoyo, tulyoke tubeerere ddala batukuvu abassaamu Katonda ekitiibwa.
2Mutuwe ekifo mu mitima gyammwe. Tetuliiko gwe twakola kabi, tetuliiko gwe twazikiriza, era tetuliiko gwe twalyazaamaanya. 3Ebyo sibyogedde lwa kubanenya. Nagambye dda nti muli baagalwa baffe, abali naffe bulijjo mu kufa, oba mu bulamu. 4Mbeesiga nnyo, era mbeenyumiririzaamu nnyo. Newaakubadde tubonyaabonyezebwa, naye nziramu amaanyi, ne nzijula essanyu.
5Era ne bwe twatuuka mu Makedooniya, tetwawummula n'akatono. Twabonaabona eruuyi n'eruuyi: twali twetooloddwa ennyombo, era ng'emitima gyaffe gyeraliikirira.#Laba ne 2 Kor 2:13 6Kyokka Katonda asanyusa abasobeddwa, yatusanyusa olw'okujja kwa Tito. 7Si lwa kujja kwe kwokka, naye era n'okututegeeza nga bwe mwamusanyusa. Yatutegeeza nga bwe mwagala ennyo okundabako, nga bwe mulumwa olw'ebyo ebyagwawo, era nga bwe munnumirwa ennyo. Neeyongera okusanyuka olw'ebyo.
8Newaakubadde nga nabanakuwaza mu bbaluwa yange, ssejjusa. Weewaawo nejjusa kubanga nalaba nti ebbaluwa eyo yabanakuwaza okumala akaseera. 9Naye kaakano nsanyuka, si lwa kuba nga nabanakuwaza, naye kubanga okunakuwala kwammwe kwabaviiramu okwenenya. Okunakuwala okwo Katonda yakusiima, n'olwekyo tetulina kye twabafiiriza. 10Okunakuwala okusiimibwa Katonda, kuleeta okwenenya okuvaamu okulokolebwa, era tekuleetera bantu kujulirira. Naye okunakuwala okw'abantu ab'ensi, kuvaamu okufa. 11Kale mulabe okunakuwala okwo Katonda kw'asiima bye kwabaleetera: mwafuba nnyo, mwennyonnyolako, mwasunguwala, mwatya, mwegomba okundaba, mwewaayo eri Katonda, era mweteekateeka okubonereza buli akola ekibi. Mu byonna mweraga nga temuliiko kye munenyezebwa mu kino.
12Kale newaakubadde nga nabawandiikira ebbaluwa eyo, saagiwandiika lw'oyo eyakola ekibi, oba olw'oyo eyakolwa ekibi, wabula nagiwandiika lwa kukakasa mu maaso ga Katonda nti mutulumirwa. 13N'olwekyo twaddamu amaanyi.
Ne mu kuddamu amaanyi, tweyongera okusanyuka ennyo olw'essanyu lya Tito, mmwe mwenna gwe mwawonya okweraliikirira. 14Ne bwe mba nga nabatenda nnyo gy'ali, temwanswaza. Kuba nga byonna bye twabategeeza bwe biri eby'amazima, n'okubatenda eri Tito kweragira ddala nga kwa mazima. 15Era naye olw'okujjukira nga bwe mwamussaamu ennyo ekitiibwa, yeeyongedde nnyo okubaagala. 16Nsanyuse kubanga nnyinza okubeesigira ddala mu byonna.

Currently Selected:

2 ABAKORINTO 7: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in