2 ABAKORINTO 9
9
Okuyamba abakkiriza
1Tekinneetaagisa kubawandiikira olw'ebirabo ebikuŋŋaanyizibwa okuyamba abantu ba Katonda ab'omu Buyudaaya. 2Mmanyi nti muli beetegefu okuyamba, era kindeetera okwenyumiriza eri ab'omu Makedooniya, nga mbagamba bo nti: “Ab'omu Akaya beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita.” Era obumalirivu bwammwe bukubirizza bangi mu bo. 3Naye mmwe mbatumidde, abooluganda, okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme kuba kwa bwereere, wabula mube beetegefu nga bwe nagamba. 4Sikulwa ng'abamu ku b'omu Makedooniya bajja nange, ne tusanga nga temuli beetegefu, ffe, ne bwe siiyogere ku kuswala okwammwe, ne tufa ensonyi, olw'okubeesigira obwereere. 5Kyenvudde ndowooza nti kituufu okubatumira abooluganda bansooke okujja gye muli, bateeketeeke ekirabo ekyo kye mwasuubiza, kisangibwe nga kitegekeddwa lwa kweyagalira, sso si lwa kuwalirizibwa.
6Mujjukire nti oyo asiga ng'akekkereza ensigo, alikungula bitono; kyokka oyo asiga ennyingi, alikungula bingi. 7Kale buli omu akole nga bw'amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaakola ntya, wadde olw'okuwalirizibwa. Katonda ayagala oyo agaba nga musanyufu. 8Era Katonda ayinza okubawa ebyo ebisinga ku bye mwetaaga, mulyoke mube na bingi bulijjo, era mugabe bingi olwa buli mulimu omulungi. 9Nga bwe kyawandiikibwa nti:
“Yagaba nnyo
ng'agabira abaavu.
Obutuukirivu bwe
bwa mirembe gyonna.”#Laba ne Zab 112:9
10Era Katonda awa omusizi ensigo, n'amuwa n'emmere ey'okulya, anaayazanga ensigo zammwe ne mweyongera okugaba.#Laba ne Yis 55:10 11Anaabagaggawazanga mu byonna ne mugaba nnyo, abantu balyoke beebazenga Katonda olw'ebyo bye tukoze. 12Okukola omulimu guno tekukoma ku kuyamba bantu ba Katonda kyokka, naye era kwongera okuleetera abantu okwebaza ennyo Katonda.
13Ekyo kye mukola kikakasa okukkiriza kwammwe, era kireetera abantu okuwa Katonda ekitiibwa, si lwa kukkiriza Amawulire Amalungi kyokka, wabula era mugagondera, ne mubawa ku byammwe era ne muwa n'abalala bonna. 14N'engeri gye babasabiramu eri Katonda, eraga nga bwe babaagala ennyo, kubanga Katonda yabakwatirwa mmwe ekisa ekitasangikasangika. 15Katonda yeebazibwe olw'ekirabo kye ekyo ekitanyumizika.
Currently Selected:
2 ABAKORINTO 9: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: