2 ABAKORINTO 6
6
1Kale nga bwe tukolera awamu ne Katonda, tubeegayirira muleme kugayaalirira kisa Katonda kye yabakwatirwa. 2Katonda agamba nti:
“Nakuwuliriza
mu kiseera eky'okusaasirirwamu,
ne nkuyamba
ku lunaku olw'okulokolerwako.”
Laba kaakano kye kiseera eky'okusaasirirwamu, era leero lwe lunaku olw'okulokolerwako.#Laba ne Yis 49:8
3Tetwagala kukola kyesittaza muntu n'omu, sikulwa ng'omulimu gwaffe gubaako kye gunenyezebwamu. 4Naye mu byonna tulaga nga tuli baweereza ba Katonda, nga tugumiikiriza nnyo mu kubonyaabonyezebwa, mu bitukaluubirira, ne mu kunyolwa. 5Tukubiddwa, tusibiddwa mu makomera, tuyise mu busasamalo, tukoze emirimu, era nga tetwebaka wadde okulya.#Laba ne Bik 16:23 6Era mu butukuvu, mu kumanya, mu kugumiikiriza, mu kuba ab'ekisa, mu kuba ne Mwoyo Mutuukirivu era n'okwagala okutaliimu bukuusa, tulaga nga tuli baweereza ba Katonda.
7Twogera amazima, era tukolera ku maanyi ga Katonda. Era obutuukirivu bye byokulwanyisa bye tulina mu mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono. 8Abamu batussaamu ekitiibwa, abalala batugaya. Abamu batwogerako bubi, abalala batwogerako bulungi. Tuyitibwa balimba, sso nga twogera mazima. 9Tuli ng'abatamanyiddwa, sso nga bonna batumanyi. Tuli ng'abafudde, sso nga tuli balamu. Newaakubadde nga tubonerezebwa, naye tetuttibwa. 10Newaakubadde nga tunakuwazibwa, naye tuli basanyufu bulijjo. Tuli ng'abaavu, naye tugaggawaza bangi. Tuli ng'abatalina kantu, naye ddala tulina byonna.
11Mmwe ab'e Korinto, twogedde lwatu gye muli, tetubakisizza kiri mu mitima gyaffe. 12Ffe tetubeekwekeredde, wabula mmwe mutwekwekeredde. 13Njogera nammwe ng'abaana bange, nammwe mube nga ffe bwe tuli eri mmwe, temutwekwekerera.
Okulabula obutasikirizibwa mpisa z'abatamanyi Katonda
14Temwegattanga wamu na batakkiriza, kubanga tekibasaanira mmwe. Kale obutuukirivu butabagana butya n'obujeemu? Oba ekitangaala kitabagana kitya n'ekizikiza? 15Era Kristo atabagana atya ne Sitaani? Oba, omugoberezi wa Kristo atabagana atya n'atali mugoberezi wa Kristo? 16Era Essinzizo lya Katonda litabagana litya n'ebyo ebitali Katonda? Ffe tuli Ssinzizo lya Katonda Nnannyinibulamu. Nga ye bw'agamba nti:
“Nnaabeeranga mu bo,
ne ntambuliranga mu bo.
Ndiba Katonda waabwe,
nabo ne baba bantu bange.”#Laba ne Leev 26:12; Ezek 37:27; 1 Kor 3:16; 6:19
17Era Mukama agamba nti:
“N'olwekyo mubaveemu,
mwawukane nabo.
Era temukwatanga
ku kitali kirongoofu,
olwo nange ndibaaniriza mmwe.#Laba ne Yis 52:11
18Ndiba kitammwe,
nammwe ne muba batabani bange
ne bawala bange.
Bw'atyo Mukama
Omuyinzawaabyonna bw'agamba.”#Laba ne 2 Sam 7:14; 1 Byom 17:13; Yis 43:6; Yer 31:9
Currently Selected:
2 ABAKORINTO 6: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: