2 ABAKORINTO 5
5
1Tumanyi nti ensiisira yaffe ey'oku nsi, gwe mubiri gwe tulimu, bw'eryabizibwa, Katonda alituwa ennyumba mu ggulu ey'olubeerera, etaazimbibwa bantu.
2Kya mazima, nga tukyali mu nsiisira eno, tusinda nga twegomba okwambazibwa omubiri ogw'omu ggulu gwe tulibeeramu, 3nga tusuubira nti bwe tuligwambazibwa, tuleme kusangibwa nga tuli bwereere. 4Kuba nga bwe tukyali mu mubiri guno, tusinda nga tuzitoowereddwa, si lwa kuba nti twagala okugwambulwa, wabula twagala kwongera kwambazibwa, olwo ogwo ogufa gulyoke gumiribwe obulamu. 5Eyatuteekerateekera ekyo ye Katonda, eyatuwa Mwoyo Mutuukirivu okuba omusingo.
6Kyetuva tuguma bulijjo. Era tumanyi nti bwe tuba nga tuli mu mubiri guno, tuba wala ne Mukama. 7Tutambulira ku kukkiriza, sso si ku kulaba. 8Tuguma, era kye twandisinze okwagala, kwe kuva mu mubiri guno, tube wamu ne Mukama.
9N'olwekyo kye tugenderera, kwe kumusanyusa, ne bwe tuba ewala, ne bwe tuba okumpi naye. 10Ffenna tuli ba kulabika mu maaso g'entebe ya Kristo kw'asalira emisango, buli omu alyoke aweebwe ekimusaanira, okusinziira ku birungi oba ku bibi bye yakola, ng'akyali mu mubiri guno.#Laba ne Bar 14:10
Kristo ye atabaganya abantu ne Katonda
11N'olwekyo nga bwe tumanyi nti kituufu okutya Mukama, tugezaako okukkirizisa abantu. Kyokka Katonda amanyi nga bwe tuli, era nsuubira nti nammwe mumanyi mu mitima gyammwe. 12Tetuddamu kweyanjula gye muli, naye tubawa kye munaasinziirangako okwenyumiriza ku lwaffe, mulyoke mubenga n'ekyokuddamu abo abeenyumiririza mu byokungulu, sso si mu ebyo eby'omu mutima. 13Oba nga tulaluse, tulaluse lwa Katonda. Oba nga tulina amagezi agateredde, tuli nago lwa kugasa mmwe, 14era tufugibwa kwagala kwa Kristo. 15Tumanyi nti omu yafiirira bonna, olwo abo abalamu balemenga kuba balamu ku lwabwe, wabula babenga balamu ku lw'oyo eyabafiirira, n'azuukira.
16N'olwekyo, okuva kaakano tetukyakozesa magezi ga bantu buntu okumanya omuntu. Newaakubadde nga twamanyako Kristo mu ngeri eyo, naye kaakano si bwe tumumanyi. 17Buli eyeegatta awamu ne Kristo, kyava aba muntu muggya: empisa ez'obulamu obw'edda nga ziweddewo, olwo ng'empisa ez'obulamu obuggya zitandise. 18Ebyo byonna biva eri Katonda eyatutabaganya naye yennyini, ng'ayita mu Kristo, era n'atuwa omulimu ogw'obutabaganya. 19Kwe kugamba nti Katonda yali mu Kristo, ng'atabaganya abantu bonna naye yennyini, nga tabavunaana bibi byabwe, era yatukwasa obubaka obw'okutabaganya.
20N'olwekyo tuli babaka ba Kristo, Katonda ng'ali ng'abeegayirira mmwe, ng'ayita mu ffe. Tubeegayirira mu linnya lya Kristo, mutabagane ne Katonda. 21Kristo ataalina kibi, Katonda yamufuula ekibi, ffe olw'okwegatta awamu ne Kristo, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda.
Currently Selected:
2 ABAKORINTO 5: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: