1
1 TIMOTEEWO 4:12
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Waleme kubaawo akunyooma olw'obuvubuka bwo, wabula mu kwogera ne mu mpisa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu butukuvu, beeranga kyakulabirako eri abakkiriza.
Compare
Explore 1 TIMOTEEWO 4:12
2
1 TIMOTEEWO 4:8
kubanga okwemanyiiza mu by'omubiri kugasa katono, naye okussaamu Katonda ekitiibwa kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi ery'omu bulamu buno, era n'ery'obwo obugenda okujja.
Explore 1 TIMOTEEWO 4:8
3
1 TIMOTEEWO 4:16
Ebyo binywerereko, nga weekuuma mu mpisa zo, ne mu by'oyigiriza, kubanga bw'okola bw'otyo, olyerokola ggwe wennyini, era n'abo abakuwulira.
Explore 1 TIMOTEEWO 4:16
4
1 TIMOTEEWO 4:1
Mwoyo Mutuukirivu ayogera lwatu nti mu nnaku ez'oluvannyuma, walibaawo abasuula okukkiriza, ne bagoberera emyoyo egiwubisa, era ne bagoberera enjigiriza za Sitaani
Explore 1 TIMOTEEWO 4:1
5
1 TIMOTEEWO 4:7
Naye enfumo ezitaliimu ddiini, ezitasaana kunyumizibwa, zeewalenga. Weemanyiize okussangamu Katonda ekitiibwa
Explore 1 TIMOTEEWO 4:7
6
1 TIMOTEEWO 4:13
Nyiikiriranga okusoma ebyawandiikibwa, n'okubuulirira abantu ebya Katonda, n'okubayigiriza okutuusa lwe ndijja.
Explore 1 TIMOTEEWO 4:13