1 TIMOTEEWO 3
3
Abalabirizi b'ekibiina ky'abakkiriza Kristo
1Kituufu nti: “Buli muntu ayagala okuba omulabirizi, aba yeegombye omulimu mulungi.” 2Omulabirizi ateekwa okuba nga taliiko ky'anenyezebwamu. Ateekwa okuba n'omukazi omu yekka. Ateekwa okuba nga yeefuga, mwegendereza, mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng'amanyi okuyigiriza.#Laba ne Tit 1:6-9 3Ateekwa okuba nga si mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula abe nga muwombeefu, nga si muyombi, era nga talulunkanira byakufuna. 4Ateekwa okuba ng'afuga bulungi amaka ge, n'abaana be nga bawulize, era nga ba mpisa. 5Kale omuntu atasobola kufuga maka ge, asobola atya okulabirira ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo?
6Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, sikulwa nga yeekulumbaza, n'asalirwa omusango, nga Sitaani bwe yagusalirwa. 7Ateekwa okuba ng'assibwamu ekitiibwa abo abatali ba mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, aleme kubaako ky'anenyezebwamu, era aleme kugwa mu mutego gwa Sitaani.
Abadyakoni
8Abadyakoni nabo basaana okuba abantu abassibwamu ekitiibwa, aboogera amazima, abatanywa mwenge mungi, era abatalulunkanira bya kufuna. 9Basaana okukuuma ekyama ky'okukkiriza mu mwoyo omulungi. 10Era basookenga kugezebwa, balyoke baweereze nga tebalina kye banenyezebwamu. 11N'abakazi bwe batyo, nabo basaana okuba abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kimu.
12Omudyakoni ateekwa okuba n'omukazi omu yekka, era ng'asobola okufuga obulungi abaana be, n'amaka ge, 13kubanga ababa bakoze obulungi mu budyakoni, bafuna ekifo ekya waggulu, era baba n'obuvumu bungi mu kukkiriza kwabwe mu Kristo Yesu.
Ekyama ekikulu
14Nsuubira okujja amangu gy'oli. Kyokka bino mbikuwandiikira, 15ne bwe ndirwa, omanye bw'osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, kye kibiina ky'abakkiriza Katonda Nnannyinibulamu, empagi era omusingi gw'amazima. 16Tewali kubuusabuusa, ekyama ky'eddiini yaffe kikulu ddala, ekigamba nti:
“Yalabika nga muntu ddala,
n'akakasibwa Mwoyo Mutuukirivu.
Yalabibwa bamalayika,
n'amanyisibwa mu mawanga.
Yakkirizibwa ab'omu nsi,
n'atwalibwa waggulu mu kitiibwa.”
Currently Selected:
1 TIMOTEEWO 3: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.