1
1 ABATESSALONIKA 5:16-18
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Musanyukenga bulijjo. Musinzenga Katonda buli kiseera. Mu byonna mwebazenga, kubanga ekyo mmwe ng'abantu ba Kristo, Katonda ky'ayagala mukole.
Compare
Explore 1 ABATESSALONIKA 5:16-18
2
1 ABATESSALONIKA 5:23-24
Katonda yennyini atuwa emirembe, abatukuze. Era emyoyo gyammwe n'obulamu bwammwe n'emibiri gyammwe, bikuumibwe nga biri bulungi, Mukama waffe Yesu bw'alijja, mube nga temuliiko kye munenyezebwa. Eyabayita mwesigwa, era ekyo alikituukiriza.
Explore 1 ABATESSALONIKA 5:23-24
3
1 ABATESSALONIKA 5:15
Mulabe nti mu mmwe tewaba awoolera ggwanga, wabula bulijjo munyiikirirenga okukola ebirungi mu mmwe, ne mu bantu bonna.
Explore 1 ABATESSALONIKA 5:15
4
1 ABATESSALONIKA 5:11
Kale buli omu agumyenga munne, era amuyambenga, nga bwe mukola kati.
Explore 1 ABATESSALONIKA 5:11
5
1 ABATESSALONIKA 5:14
Abooluganda, tubeegayiridde mulabulenga abagayaavu, mugumyenga abatali banywevu, muyambenga abanafu, mugumiikirizenga bonna.
Explore 1 ABATESSALONIKA 5:14
6
1 ABATESSALONIKA 5:9
kubanga Katonda teyatuteekerateekera kubonerezebwa busungu bwe, wabula yatuteekerateekera kulokolebwa Mukama waffe Yesu Kristo
Explore 1 ABATESSALONIKA 5:9
7
1 ABATESSALONIKA 5:5
kubanga mwenna muli bantu ba kitangaala, era muli ba misana. Tetuli ba kiro, wadde ab'ekizikiza.
Explore 1 ABATESSALONIKA 5:5