1 ABATESSALONIKA 2
2
Omulimu gwa Pawulo mu Tessalonika
1Abooluganda, mmwe mwennyini mumanyi nti okujja kwaffe gye muli, tekwafa bwereere. 2Mumanyi nga bwe twabonaabona, era nga bwe twavumirwa e Filippi, nga tetunnajja gye muli e Tessalonika. Naye Katonda waffe yatugumya, ne tubategeeza mmwe Amawulire Amalungi agava gy'ali, newaakubadde bangi baatuziyizanga.#Laba ne Bik 16:19-24; 17:1-9
3Bye tubakubiriza si bya bulimba oba eby'obugwagwa, wadde eby'obukuusa. 4Naye nga Katonda bwe yatwesiga n'atukwasa Amawulire Amalungi, naffe bwe tutyo bwe tugabategeeza, nga tetugenderera kusanyusa bantu, wabula okusanyusa Katonda akebera emitima gyaffe.
5Mumanyi bulungi nti tetukozesanga bigambo bya kubawaanawaana, wadde eby'okukweka omululu gwaffe. Katonda ye mujulirwa waffe. 6Tetwegombanga kitiibwa, okukiweebwa mmwe oba abalala, newaakubadde nga twandisobodde okukibasaba mmwe, nga bwe tuli abatume ba Kristo. 7Naye twegendereza mu mmwe, ng'omuzadde alabirira abaana be. 8Twabalumirwa nnyo omwoyo, kyetwava twegomba okubatuusaako Amawulire Amalungi agava eri Katonda. Si ekyo kyokka, naye twegomba n'okuwaayo obulamu bwaffe bwennyini, kubanga twabaagala nnyo.
9Abooluganda mujjukire nga bwe twabategeezanga Amawulire Amalungi agava eri Katonda, era nga bwe twafuba ne tutegana, nga tukola emisana n'ekiro, tuleme okuzitoowerera wadde omu ku mmwe. 10Mmwe abakkiriza muyinza okutujulira, era ne Katonda atujulira nti empisa zaffe nga tuli mu mmwe zaali ntukuvu, ezituukiridde, era ezitaliiko kya kunenyezebwa.
11Mumanyi nti buli omu ku mmwe twabanga naye nga kitaawe w'abaana bw'aba n'abaana be. 12Twababuulirira, twabagumya, era twabakubiriza mube mu bulamu obusanyusa Katonda, eyabayita okuba mu Bwakabaka bwe ne mu kitiibwa kye.
13Era kyetuva twebaza Katonda bulijjo, kubanga bwe mwawulira ekigambo kye, kye twabategeeza, mwakikkiriza, si nga eky'abantu, wabula mwakkiriza nti ddala kya Katonda. Era ekigambo kye, kye kikolera mu mmwe abakkiriza. 14Abooluganda, mufaanana n'ab'ebibiina by'abakkiririza Katonda mu Kristo Yesu ab'omu Buyudaaya, kubanga mwabonyaabonyezebwa bannansi bannammwe, nga bali bwe baabonyaabonyezebwa Abayudaaya,#Laba ne Bik 17:5 15abatta Mukama waffe Yesu era n'abalanzi, ate naffe ne batuyigganya. Tebasanyusa Katonda, era balabe b'abantu bonna.#Laba ne Bik 9:23,29; 13:45,50; 14:2,5,19; 17:5,13; 18:12 16Baagezaako n'okutuziyiza okutegeeza ab'amawanga amalala eby'okubalokola, ekyo ne kyongera ku bibi byabwe bye bazze bakola okuva edda. Ku nkomerero Katonda n'abasunguwalira nnyo.
Pawulo ayagala okuddayo okubakyalira
17Abooluganda, bwe mwatwawukanako akaseera akatono (ku maaso, sso si ku mutima), tweyongera nnyo okwegomba okubalabako, 18ne twagala okujja gye muli. Nze Pawulo, nagezaako omulundi ogusooka n'ogwokubiri, kyokka Sitaani n'atuziyiza.
19Kale Mukama waffe bw'alijja, si mmwe mulibeera essuubi lyaffe n'essanyu lyaffe mu maaso ge? Si mmwe tulisinziirako okwenyumiriza olw'obuwanguzi? 20Mmwe kitiibwa kyaffe, era mmwe ssanyu lyaffe.
Currently Selected:
1 ABATESSALONIKA 2: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: