1 ABATESSALONIKA 1
1
Okulamusa
1Nze Pawulo ne Siluvaano ne Timoteewo, tuwandiikira ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo abali mu Tessalonika, aba Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo. Katonda abakwatirwe ekisa mmwe era abawe emirembe.#Laba ne Bik 17:1
Okukkiriza kw'Abatessalonika
2Bulijjo twebaza Katonda ku lwammwe mwenna, era tetwosa kubasabira eri Katonda. 3Bulijjo nga tuli mu maaso ga Katonda era Kitaffe, tujjukira nga bwe mulaga okukkiriza kwammwe n'okwagala kwammwe, mu ebyo bye mukola. Era tujjukira nga bwe mulaga essuubi lyammwe mu Mukama waffe Yesu Kristo.
4Abooluganda, tumanyi nga Katonda abaagala, era yabalondamu mube ababe, 5kubanga bwe twabategeeza Amawulire Amalungi, tegaali bigambo bugambo, wabula gaalimu amaanyi ne Mwoyo Mutuukirivu, era nga tukakasiza ddala nti bye tugamba bya mazima. Mumanyi bulungi nga bwe twayisanga nga tuli mu mmwe. Ekyo kyali bwe kityo, lwa kwagala kugasa bwammwe.
6Nammwe mwagoberera empisa zaffe n'eza Mukama waffe, kubanga newaakubadde mwabonaabona olw'ekigambo kya Katonda, naye mwakikkiriza n'essanyu eriva mu Mwoyo Mutuukirivu.#Laba ne Bik 17:5-9 7Bwe mutyo ne muba ekyokulabirako eri abakkiriza bonna ab'omu Makedooniya n'ab'omu Akaya, 8kubanga mwabunya ekigambo kya Katonda, si mu Akaya mwokka, naye wonna wonna baamanya bwe mukkiriza Katonda. Kyetuva tuteetaaga kubaako kye twogera, 9kubanga abantu bennyini banyumya nga bwe twajja ewammwe, era nga bwe mwava ku bitali Katonda, ne mudda eri Katonda Nnannyinibulamu era ow'amazima, mumuweereze, 10era mulindirire Omwana we okujja ng'ava mu ggulu, gwe yazuukiza, ye Yesu atuwonya obusungu bwa Katonda obugenda okujja.
Currently Selected:
1 ABATESSALONIKA 1: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: