YouVersion Logo
Search Icon

1 ABATESSALONIKA 3

3
1Kale bwe twalemwa okwongera okugumiikiriza, kyetwava tusalawo okusigala ffekka mu Ateene,#Laba ne Bik 17:15 2ne tutuma muganda waffe Timoteewo, gwe tukola naye omulimu gwa Katonda nga tutegeeza abantu Amawulire Amalungi aga Kristo. Twamutuma abagumye, era abanyweze mu kukkiriza kwammwe, 3waleme kubaawo n'omu aterebuka olw'okuyigganyizibwa. 4Bwe twali tukyali nammwe twabategeerezaawo nti tuli ba kubonyaabonyezebwa, era mumanyi nti ekyo kituukiridde. 5Nange bwe nalaba nga sikyayinza kugumiikiriza, kwe kubatumira Timoteewo. Namutuma, ndyoke mmanye okukkiriza kwammwe bwe kuli nga ntya nti sikulwa ng'omukemi abakema, okufuba kwaffe ne kuba okw'obwereere.
6Kaakano Timoteewo ky'ajje akomewo gye tuli ng'ava ewammwe. Atuleetedde amawulire amalungi, agafa ku kukkiriza kwammwe n'okwagala kwammwe. Era atutegeezezza nti bulijjo mutulowoozaako nnyo, era nti mwegomba okutulabako nga naffe bwe twegomba okubalabako.#Laba ne Bik 18:5
7Kale baganda baffe, newaakubadde nga tuli mu buzibu bungi, ne mu kubonaabona, naye okukkiriza kwammwe kutuzzizzaamu amaanyi, 8kubanga bwe muba abanywevu mu Mukama waffe, tuba balamu ddala.
9Kale Katonda tunaamuwa ki okumwebaza olw'essanyu lye tulina mu maaso ge ku lwammwe? 10Emisana n'ekiro twegayirira nnyo Katonda, tusobole okulabaganako nammwe amaaso n'amaaso, era tulyoke tutuukirize ebikyabula ku kukkiriza kwammwe.
11Katonda yennyini era Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu, batusobozese okujja gye muli. 12Mukama abongeremu okwagalananga n'okwagalanga abantu bonna, nga ffe bwe tubaagala mmwe. 13Anyweze emitima gyammwe, Mukama waffe Yesu bw'alijja awamu n'abatukuvu be, mulyoke musangibwe nga temuliiko kya kunenyezebwa, nga muli batukuvu mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe.

Currently Selected:

1 ABATESSALONIKA 3: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in