1 PEETERO 5
5
Eggana lya Katonda
1Kaakano neegayirira abo abakulembeze mu mmwe. Nange ndi mukulembeze munnaabwe, eyalabirako ddala ku kubonyaabonyezebwa kwa Kristo, era abalirwa mu abo abaligabana ku kitiibwa ekigenda okulabika. Mbeegayirira, 2mulunde eggana lya Katonda eryabakwasibwa. Mulirabirire nga Katonda bw'ayagala, si lwa buwaze, wabula nga mwagala. Mukole n'omwoyo ogwewaayo okuweereza, nga temululunkanira kufuna mpeera.#Laba ne Yow 21:15-17 3Muleme kwefuula bafuzi b'abo be mwakwasibwa, naye mube kyakulabirako gye bali. 4Olwo omusumba omukulu bw'alirabika, muliweebwa engule eyeekitiibwa etefuma.
5Nammwe abavubuka muwulirenga abakulu. Mwenna muweerezaganenga nga mujjudde obwetoowaze, kubanga
“Katonda tayagala beekulumbaza,
kyokka abeetoowaze
abakwatirwa ekisa.”#Laba ne Nge 3:34
6Kale mwetoowazenga wansi w'omukono gwa Katonda ogw'amaanyi, ye alyoke abagulumize ekiseera nga kituuse.#Laba ne Mat 23:12; Luk 14:11; 18:14 7Mumukwasenga byonna ebibeeraliikiriza, kubanga ye abalabirira.
8Mwegendereze era mutunule. Omulabe wammwe Sitaani, atambulatambula ng'empologoma ewuluguma, ng'anoonya gw'anaalya. 9Mumuziyize nga muli banywevu mu kukkiriza kwammwe, nga mumanyi nti ne baganda bammwe abali mu nsi yonna, babonaabona nga mmwe. 10Bwe mulimala okubonyaabonyezebwako akaseera akatono, Katonda nnannyini kisa, eyabayita okugabana awamu ne Kristo ku kitiibwa kye ekitaggwaawo, ye yennyini alibazza mu mbeera ennungi, alibanyweza, era alibawa amaanyi. 11Oyo abe n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.
12Mbawandiikidde ebbaluwa eno ennyimpi nga nnyambibwako Siluvaano owooluganda, gwe mmanyi nga mwesigwa. Ngibawandiikidde nga mbakakasa nti ekyo kye kisa kya Katonda kyennyini, era nga mbakuutira okukinywereramu.#Laba ne Bik 15:22,40
13Ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Babilooni, nakyo ekyalondebwa Katonda nga mmwe, kibalamusizza. N'omwana wange Mariko naye abalamusizza.#Laba ne Bik 12:12,25; 13:13; 15:37-39; Bak 4:10; Fil 24 14Mulamusagane mu ngeri eraga nti mwagalana.
Emirembe gibenga nammwe mwenna aba Kristo.
Currently Selected:
1 PEETERO 5: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.