1 PEETERO 4
4
Obulamu obuggya
1Kale nga Kristo bwe yabonyaabonyezebwa mu mubiri, nammwe mubenga bamalirivu nga ye, kubanga omuntu abonaabona mu mubiri, aba amaze okuleka ekibi, 2alyoke amale obulamu bwe bw'akyasigazizza ku nsi, ng'agoberera ebyo Katonda by'ayagala, sso si ebyo ebitwaliriza abantu mu bubi.
3Mu biseera ebyayita mwafuna obudde obumala okukola ebyo abantu ab'ensi bye baagala. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obw'omwenge, ne mu kusinza ebitali Katonda, sso nga kwa muzizo. 4Kaakano abantu ab'ensi beewuunya bwe balaba nga temukyabeegattako mu bya ffujjo ng'eryo, ne babavuma. 5Baliwoza mu maaso ga Katonda, eyeeteeseteese okusala omusango gw'abalamu n'abafu. 6Abafu baasalirwa omusango ng'abantu abalala, nga bakyali mu bulamu obw'omubiri. Kyokka nabo baategeezebwa Amawulire Amalungi nga bamaze okufa, balyoke babe balamu mu mwoyo nga Katonda.
7Enkomerero ya byonna eri kumpi. N'olwekyo mubenga beegendereza era beetegefu, nga mwegayirira Katonda. 8N'okusingira ddala, mwagalanenga mu mazima, kubanga okwagala kusonyiyisa ebibi bingi.#Laba ne Nge 10:12 9Mwaniriziganenga awatali kwemulugunya. 10Mube bawanika abalungi, Katonda be yakwasa ebirabo bye ebya buli ngeri. Buli omu ekirabo kye yafuna akikozesenga okugasa abalala. 11Oyo ayogera, ayogere ebigambo Katonda by'amuwa okwogera. Oyo aweereza, aweereze n'amaanyi Katonda g'amuwa, mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.
Okubonyaabonyezebwa ng'Omukristo
12Abaagalwa, bwe mugezebwa mu muliro, temwewuunyanga ng'abatuukiddwako ekitali kya bulijjo. 13Wabula musanyukenga olw'okugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ekitiibwa kye bwe kirirabika, mulyoke mujjule essanyu. 14Bwe muvumibwa olw'okuba abagoberezi ba Kristo, muli ba mukisa, kubanga Mwoyo oweekitiibwa, Mwoyo wa Katonda, ali mu mmwe. 15Waleme kubaawo n'omu ku mmwe abonyaabonyezebwa nga bamulanga okuba omutemu oba omubbi, oba omukozi w'obubi, oba eyeeyingiza mu by'abalala. 16Wabula singa omuntu abonyaabonyezebwa nga bamulanga okuba Omukristo, takwatibwanga nsonyi. Atenderezenga Katonda olw'okuyitibwa erinnya eryo.
17Ekiseera kituuse omusango okusalibwa nga gutandikira ku ba mu nnyumba ya Katonda. Kale oba nga gutandikidde ku ffe, ku nkomerero guliba gutya ku abo abatakkiriza Mawulire Amalungi agava eri Katonda? 18Era,
“Oba nga kizibu
oyo akola ebituufu okulokolebwa,
oyo atassaamu Katonda kitiibwa
n'omwonoonyi baliba batya?”#Laba ne Nge 11:31
19Kale nno abo ababonaabona nga Katonda bw'ayagala, bakolenga ebirungi, ng'obulamu bwabwe babukwasa Omutonzi omwesigwa.
Currently Selected:
1 PEETERO 4: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.