Bible App logo
Search Icon

1 PEETERO 3

3
Abakazi n'abasajja abafumbo
1Bwe mutyo nammwe abakazi abafumbo, muwulirenga babbammwe, abamu ku bo bwe baba nga tebakkiriza kigambo kya Katonda, balyoke baleetebwe mu kukkiriza olw'empisa zammwe ennungi, nga temulina na kye mubagambye,#Laba ne Beef 5:22; Bak 3:18 2kubanga bajja kulaba empisa zammwe ennongoofu era ezibassisaamu ekitiibwa. 3Okweyonja kwammwe kulemenga kuba mu byakungulu: mu misono gy'enviiri, n'egy'amajolobera aga zaabu, n'egy'ebyambalo,#Laba ne 1 Tim 2:9 4naye kube kwa mu mutima munda, okweyonja okutayonooneka, okw'omwoyo omuwombeefu era omuteefu. Okwo kwe kw'omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda, 5kubanga n'abakazi ab'edda abatukuvu, abaasuubiranga mu Katonda, bwe batyo bwe beeyonjanga, era nga bawulize eri babbaabwe. 6Saara bw'atyo bwe yali. Yawuliranga Aburahamu, ng'amuyita mukama we. Oba mwagala okuba bawala be, mube ba mpisa nnungi, nga tewali kibatiisa.#Laba ne Nta 18:12
7Nammwe abasajja abafumbo, mubenga ne bakazi bammwe mu bulamu bwammwe obw'obufumbo, nga mumanyi nti bo mu kikula kyabwe banafu. Mubassengamu ekitiibwa, kubanga nabo Katonda alibakwatirwa wamu nammwe ekisa ekiwa obulamu. Olwo essaala zammwe teziibengako kiziziyiza.#Laba ne Beef 5:25; Bak 3:19
Okubonyaabonyezebwa olw'okukola ekituufu
8Eky'enkomerero, mwenna mubenga n'emmeeme emu, buli omu alumirwenga munne, mwagalanenga ng'abooluganda, mubenga ba kisa era beetoowaze.
9Oyo akoze ekibalumya, mmwe temumukolanga kibi. Abavumye, mmwe temumuvumanga, wabula mumusabirenga mukisa, kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke mufune omukisa. 10Ekyawandiikibwa kigamba nti:
“Ayagala okufuna obulamu
n'okubeera mu ddembe,
aziyize olulimi lwe
okwogera ekibi,
n'emimwa gye
okwogera eby'obukuusa.#Laba ne Zab 34:12-16
11Era yeewalenga ebibi,
akolenga ebirungi.
Anoonyenga emirembe,
era agigobererenga,
12kubanga abakola ebituufu,
Mukama abatunuuliza kisa,
era awulira bye basaba.
Kyokka abakola ebibi
abatunuuliza bukambwe.”
13Bwe mwefubirira okukola ebituufu, ani anaabakola akabi? 14Naye ne bwe mubonyaabonyezebwa olw'okukola ebituufu, mulina omukisa. Temubangako be mutya, era temweraliikiriranga.#Laba ne Mat 5:10; Yis 8:12-13 15Mukama wammwe Kristo mumussengamu ekitiibwa mu mitima gyammwe, era mubenga beetegefu bulijjo okuddamu buli muntu ababuuza okunnyonnyola essuubi lye mulina, 16wabula nga muddamu n'obuwombeefu n'eggonjebwa. Mubenga n'omutima omulungi, abo ababavuma era ababoogerako obubi olw'empisa zammwe ennungi ez'abagoberezi ba Kristo, balyoke baswale. 17Kirungi okubonyaabonyezebwa olw'okukola ebirungi, bwe kuba nga kwe kusiima kwa Katonda, okusinga okubonyaabonyezebwa olw'okukola ebibi. 18Ne Kristo yabonyaabonyezebwa olw'ebibi byaffe, n'atufiirira omulundi gumu n'amala. Ye omutuukirivu yafiirira ffe aboonoonyi, alyoke atuzze eri Katonda. Mu mubiri yattibwa, n'addizibwa obulamu mu mwoyo. 19Era mu mwoyo, mwe yagendera okuyigiriza emyoyo egiri mu kkomera. 20Egyo gye myoyo egy'abo edda abaagaana okuwulira Katonda ng'akyabagumiikirizza, mu kiseera Noowa kye yazimbiramu eryato. Mu lyato eryo abantu abatono, bonna awamu munaana, mwe baawonyezebwa amazzi.#Laba ne Nta 6:1–7:24 21Amazzi ago gaali kabonero k'okubatizibwa, okubalokola mmwe kaakano. Okubatizibwa tekuba kunaazaako kko lya mubiri, wabula kuba kusaba Katonda atuwe omutima omulongoofu olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo, 22eyalinnya mu ggulu, era aliraanye Katonda ku ludda lwe olwa ddyo, ng'afuga bamalayika n'ab'obuyinza n'ab'amaanyi ab'omu ggulu.

Currently Selected:

1 PEETERO 3: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in