Bible App logo
Search Icon

1 PEETERO 2

2
Ejjinja eddamu n'eggwanga ettukuvu
1Kale mulekenga ettima lyonna, n'obulimba bwonna, n'obukuusa, n'obuggya, n'okwogera obubi kwonna. 2Ng'abaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata amalungi agagasa omwoyo, mulyoke muganywe mukule era mulokolebwe. 3Ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba, “Mwalega ku bulungi bwa Mukama.”#Laba ne Zab 34:8
4Mujje gy'ali. Ye lye jjinja eddamu, abantu lye baasuula nga balowooza nti terigasa, kyokka eryalondebwa Katonda era ery'omugaso ennyo. 5Mujje gy'ali ng'amayinja amalamu, muzimbe ennyumba ey'omwoyo. Mu yo, mube bakabona abatukuvu, abaweereza ebitambiro eby'omwoyo, ebisiimibwa Katonda mu Yesu Kristo. 6Ekyawandiikibwa kigamba nti:
“Nalonda ejjinja ery'omuwendo,
kati lye nteeka mu Siyooni,
libe ekkulu ery'entabiro.
Era amukkiriza taliswazibwa”#Laba ne Yis 28:16
7Ejjinja lino lya muwendo nnyo eri mmwe abakkiriza, naye eri abo abatakkiriza:
“Lye jjinja abazimbi lye baagaana,
eryafuuka ekkulu ery'entabiro.”#Laba ne Zab 118:22
8Era nti:
“Lye jjinja abantu kwe beekoona;
lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.”
Beesittala, kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda. Bwe batyo bwe baateekerwateekerwa.#Laba ne Yis 8:14-15
9Naye mmwe muli lulyo lulondobe, bakabona ba Kabaka, ggwanga ttukuvu, bantu ba Katonda bennyini, abaalondebwamu mulyoke mulangirire ebirungi bya Katonda eyabayita okuva mu kizikiza, okuyingira mu kitangaala kye ekyewuunyizibwa.#Laba ne Kuv 19:5-6; Yis 43:20-21; Ma 4:20; 7:6; 14:2; Tit 2:14; Yis 9:2 10Edda temwali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda. Edda mwali temusaasirwa Katonda, kyokka kaakano abasaasidde.#Laba ne Hos 2:23
11Abaagalwa, muli bagenyi abayita obuyisi mu nsi muno. Mbeegayirira mwewale ebyo omubiri bye gwegomba, ebirwanyisa omwoyo. 12Mukuumenga empisa zammwe ennungi, olwo abantu ab'ensi be mulimu, newaakubadde baboogerako nti ebikolwa byammwe bibi, basobole okulaba ebirungi bye mukola, bagulumize Katonda ku lunaku lw'alijjirako.
13Ku bwa Mukama, muwulire buli kiragiro eky'abo abalina obuyinza, oba kabaka alina obuyinza obw'oku ntikko, 14oba abafuzi abalala b'atuma okubonerezanga abakola ebikolwa ebibi, era n'okusiimanga abo abakola ebikolwa ebirungi. 15Katonda ayagala mukole ebikolwa ebirungi, musirise abantu abasiru era abatalina kye bamanyi. 16Mube ba ddembe, naye eddembe eryo muleme kulyesigamako okuyisa obubi, wabula mulikozese ng'abaweereza ba Katonda. 17Mussengamu abantu bonna ekitiibwa, mwagalenga abooluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu abafuzi ekitiibwa.
Tulabire ku Kristo
18Abakozi muwulirenga bakama bammwe, mubassengamu ekitiibwa ekijjuvu, si abo bokka abalungi era abakwatampola, naye n'abo abakambwe. 19Kya mukisa omuntu bw'abonyaabonyezebwa awatali nsonga, n'agumiikiriza ng'alowooza ku Katonda. 20Ttendo ki lye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonerezebwa olw'okukola ebibi? Naye bwe mugumiikiriza mu kubonyaabonyezebwa olw'okukola ebirungi, ekyo Katonda akisiima. 21Ekyo kye mwayitirwa, kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n'abalekera ekyokulabirako, mulyoke mumugoberere. 22Ye takolanga kibi, tayogeranga bya bukuusa.#Laba ne Yis 53:9 23Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda asala omusango nga tasaliriza.#Laba ne Yis 53:7 24Ye yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe ku musaalaba, tulyoke tufe eri ekibi, tube balamu mu butuukirivu. Ebiwundu bye, bye byabawonya.#Laba ne Yis 53:5 25Mwali muwabye ng'endiga, naye kaakano mukomyewo eri omusumba era omulabirizi w'obulamu bwammwe.#Laba ne Yis 53:6

Currently Selected:

1 PEETERO 2: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in