1 PEETERO 1
1
Okulamusa
1Nze Peetero omutume wa Yesu Kristo, mpandiikira mmwe abalondemu ba Katonda, abali kati mu Ponto, Galatiya, Kapadookiya, Asiya ne mu Bitiniya, gye mwasaasaanira. 2Okuva edda Katonda Kitaffe yabalonda mmwe, Mwoyo Mutuukirivu abatukuze, muwulire Yesu Kristo, era mumansibweko omusaayi gwe. Katonda ayongere okubakwatirwa mmwe ekisa, era n'okubawa emirembe.
Essuubi
3Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo yeebazibwe. Olw'okusaasira kwe okungi, yatuzaala omulundi ogwokubiri, bwe yazuukiza Yesu Kristo. Bw'atyo n'atuwa essuubi eddamu, 4ery'okufuna ebirungi ebitaggwaawo, Katonda by'abaterekedde mmwe mu ggulu, gye bitayinza kwonoonekera wadde okufuma. 5Olw'okukkiriza kwammwe, Katonda abakuuma n'obuyinza bwe, era alibalokola ku lunaku olw'enkomerero, lwe yategeka okulokolerako.
6Ekyo kibasanyusenga, newaakubadde muteekwa okunakuwala okumala akaseera, nga mugezebwa mu bizibu ebya buli ngeri, 7okugezebwa okwo kulyoke kulage nti okukkiriza kwammwe kwa mazima. Ne zaabu aggwaawo, naye agezebwa mu muliro. N'okukkiriza kwammwe okw'omuwendo okusinga zaabu, kuteekwa okugezebwa, kulyoke kusaanire ettendo, n'ekitiibwa, n'okugulumizibwa, ku lunaku Yesu Kristo lw'alirabikirako. 8Yesu oyo mumwagala, newaakubadde temumulabangako. Mumukkiriza, newaakubadde temumulaba kaakano, ne mujjula essanyu ery'ekitalo era eritalojjeka, 9ne mufuna kye mwagenderera mu kukkiriza, kwe kulokoka kw'obulamu bwammwe.
10Eby'okulokoka okwo, abalanzi abaalanga ekisa ekyo Katonda kye yali agenda okubakwatirwa mmwe, baabirowoozangako nnyo, ne babyekenneenya. 11Baagezaako okumanya ebiseera ebyo Mwoyo wa Kristo eyali mu bo bye yalanga, we birituukira, era n'engeri gye birituukamu, bwe yalanga nga Kristo bw'alibonyaabonyezebwa, era n'ekitiibwa ekiriddirira. 12Katonda yabalaga nti ebyo tebaabikola ku lwabwe, wabula ku lwammwe. By'ebyo kaakano bye mubuuliddwa abo ababategeeza Amawulire Amalungi ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, eyatumibwa okuva mu ggulu. Era by'ebyo bamalayika bye beegomba okulaba.
Twayitibwa kuba batukuvu
13Kale mubenga beetegefu era mwefugenga. Essuubi lyammwe lyonna muliteekenga mu kisa ekiribakwatirwa, Kristo bw'alirabika. 14Mube baana bawulize. Obulamu bwammwe temubutambulizanga mu kwegomba kwe mwalina nga mukyali mu butamanya, 15naye mubenga batukuvu mu mpisa zammwe zonna, nga Katonda eyabayita bw'ali omutuukirivu. 16Kyawandiikibwa nti: “Mubenga batuukirivu, kubanga nze ndi omutuukirivu.”#Laba ne Leev 11:44-45; 19:2
17Oba nga Katonda mumuyita Kitammwe, ate ng'asala omusango awatali kusaliriza, ng'asinziira ku ebyo buli muntu by'akola, kale mumussengamu ekitiibwa ekiseera kyonna eky'obulamu bwammwe. 18Mumanyi nga ffeeza oba zaabu ebiggwaawo, si bye byabanunula mu mpisa zammwe ezitaliimu, ze mwafuna ku bajjajjammwe. 19Mwanunulibwa musaayi ogw'omuwendo ennyo, omusaayi gwa Kristo, ali ng'omwana gw'endiga ogutaliiko kamogo wadde ebbala. 20Kristo oyo yali yalonderwa dda kino nga n'ensi tennatondebwa, kyokka mu nnaku zino ezaakayita, n'alabibwa ku lwammwe. 21Mu ye mwe muyita okukkiriza Katonda eyamuzuukiza n'amuwa ekitiibwa, okukkiriza kwammwe n'okusuubira kwammwe ne kulyoka kunywerera ku Katonda.
22Kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe nga mukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala ng'abooluganda, mweyongere okwagalana n'omutima ogutaliimu bukuusa. 23Mwazaalibwa omulundi ogwokubiri. Ekyo ekiggwaawo si kye kyabazaala, wabula mwazaalibwa ekyo ekitaggwaawo: kye kigambo kya Katonda ekiwa abantu obulamu era ekyolubeerera. 24Ng'ekyawandikibwa bwe kigamba,
“Abantu bonna bali ng'omuddo,
n'ekitiibwa kyabwe
kiri ng'ekimuli ky'omuddo.
Omuddo gukala,
ekimuli kyagwo ne kigwa.#Laba ne Yis 40:6-8
25Naye ekigambo kya Mukama
kibeerera emirembe gyonna.”
Era ekigambo ekyo, ge Mawulire Amalungi agaabategeezebwa.
Currently Selected:
1 PEETERO 1: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.