1 ESIDERAASI 6
6
Omulimu gw'okuzimba Essinzizo guddamu
(Laba ne Ezer 5:1-17)
1Mu mwaka ogwokubiri ogw'okufuga kwa Dariyo, abalanzi Haggayi ne Zekariya mutabani wa Yiddo, ne batandika okutegeeza Abayudaaya b'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu ebigambo eby'obulanzi mu linnya lya Mukama Katonda wa Yisirayeli.#Laba ne Zek 1:1 2Awo Zerubabbeli mutabani wa Seyalutiyeli ne Yoswa mutabani wa Yehozadaaki ne batandika okuzimba obuggya Essinzizo mu Yerusaalemu, n'abalanzi ababiri ne babayamba.#Laba ne Hag 1:12; Zek 4:6-9
3Mu biro ebyo Sisine omufuzi wa Siriya ne Fenikiya wamu ne Setari Buzenayi ne bannaabwe ne bajja e Yerusaalemu ne babuuza nti: 4“Ani yabalagira okuzimba ennyumba eno n'okumaliriza bbugwe waayo n'ebirala? Abakola omulimu guno be baani?” 5Naye Mukama yali wamu n'abantu abadda okuva mu busibe era ng'alabirira abakulembeze baabwe, 6ne bakkirizibwa okwongera okuzimba okutuusa Dariyo lw'alimala okutegeezebwa n'okuddamu. 7Bino bye bigambo abafuzi b'e Perusiya bye baawandiikira kabaka:
8“Ssaabasajja Kabaka Dariyo, tukwagaliza emirembe. Ssaabasajja, twagala omanye nti twagenda e Buyudaaya ne tutuuka mu kibuga Yerusaalemu, ne tusanga ng'abakulembeze b'Abayudaaya abaava mu busibe, 9bazimbira Mukama Essinzizo, nga bazimbisa amayinja amanene n'emiti egiteekeddwa mu bisenge. 10Omulimu ogwo banyiikidde okugwanguya era gugenda bulungi, nga banyiriza bye bakola. 11Twabuuza abakulembeze baabwe nti: ‘Ani yabalagira okuzimba Essinzizo n'okuteekawo emisingi gino?’ 12Era twababuuza batutegeeze amannya g'abakulembeze baabwe tugawandiike tugakutegeeze. 13Ne baddamu nti: ‘Tuli baweereza ba Mukama eyatonda eggulu n'ensi. 14Essinzizo lino lyazimbibwa kabaka eyalina obuyinza obungi mu Yisirayeli n'alimaliriza emyaka mingi egiyise. 15Naye bajjajjaffe bwe baasobya ne banyiiza Mukama wa Yisirayeli ali mu ggulu, yabaleka ne bawangulwa Nebukadunezzari Kabaka wa Babilooniya Omukaludaaya,#Laba ne 2 Bassek 25:8-12; 2 Byom 36:17-20; Yer 52:12-15 16eyazikiriza Essinzizo lino, n'atwala abantu mu busibe e Babilooni. 17Naye Kuuro mu mwaka gwe omubereberye nga ye kabaka wa Babilooniya, yalagira Essinzizo lino lizimbibwe buggya. 18Era yakomyawo ebintu ebya zaabu n'ebya ffeeza eby'omu Ssinzizo, Nebukadunezzari bye yali aggye mu Ssinzizo ly'omu Yerusaalemu n'abiteeka mu ssabo lye e Babilooni. Kuuro yabikwasa Zerubabbeli ne Sesubazzari gwe yawa obufuzi. 19Yalagira Sesubazzari oyo nti: Twala ebintu ebyo obizzeeyo mu Ssinzizo mu Yerusaalemu, era ozimbe buggya Essinzizo mu kifo mwe lyali. 20Awo Sesubazzari n'ajja n'atandikawo emisingi gy'Essinzizo lya Katonda mu Yerusaalemu. Okuva olwo okuzimba ne kutandika, n'okutuusa kati, era tekunnaba kuggwa.’
21“Kale oba nga Ssaabasajja osiima, banoonye mu biwandiiko by'obwakabaka mu Babilooni, okuzuula oba nga bwe biri bityo, nga Kuuro ye yakkiriza Essinzizo lino lizimbibwe mu Yerusaalemu. 22Era Ssaabasajja, bw'onoosiima, otutumire otutegeeze ebifa ku kigambo kino.”
Ekiragiro kya Kuuro kizuulibwa
(Laba ne Ezer 6:1-5)
23Awo Kabaka Dariyo n'alagira okunoonya mu biwandiiko by'obwakabaka ebikuumirwa e Babilooni. Naye mu kigo kye Ekibatana mu kitundu kya Madiya, ye waazuulwa omuzingo ogulimu ekiwandiiko nti:
24“Kabaka Kuuro, mu mwaka gwe omubereberye ku bwakabaka, yalagira Essinzizo lizimbibwe buggya mu Yerusaalemu, libe ekifo awaweerwayo ebitambiro obutasalako. 25Obugulumivu bwalyo zibe mita amakumi abiri mu musanvu, n'obugazi mita amakumi abiri mu musanvu. Ebisenge byalyo bizimbibwe nga ku buli mbu ssatu ez'amayinja amanene kuteekebwako olubu lumu olw'emiti emiggya. Ensimbi zonna ezeetaagibwa mu kuzimba ziggyibwe mu ggwanika ly'obwakabaka. 26Era ebintu ebya zaabu n'ebya ffeeza Kabaka Nebukadunezzari bye yaggya mu Ssinzizo e Yerusaalemu n'abireeta e Babilooni bizzibweyo mu kifo kyabyo e Yerusaalemu mu Ssinzizo.”
Dariyo alagira bongere okuzimba
(Laba ne Ezer 6:6-12)
27Awo Dariyo n'alagira n'amaanyi Sisine omufuzi wa Siriya ne Fenikiya, Setari Bozenayi, ne bannaabwe, n'abafuzi abalala mu kitundu ekyo, beesambe Yerusaalemu, era bakkirize Zerubabbeli omuweereza wa Mukama era omufuzi wa Buyudaaya, n'abakulembeze abalala ab'Abayudaaya, bazimbe buggya Essinzizo lya Mukama mu kifo we lyali okusooka. 28Era n'alagira nti: “Ndagira nti Essinzizo lizimbirwe ddala okutuusa okumalirizibwa, era buli ekisoboka kikolebwe okuyamba Abayudaaya abaava mu busibe. 29Ku musolo gw'e Siriya ne Fenikiya, kuggyibweko ekitundu kiweebwe abantu abo, kikwasibwe Zerubabbeli omufuzi okugulamu ente ennume, endiga enkulu n'ento ez'okuwaayo mu bitambiro eri Mukama. 30Buli mwaka eŋŋaano, omunnyo, omwenge gw'emizabbibu, n'omuzigo biweebwengayo awatali kwekwasa nsonga yonna, nga bakabona bwe banaategeezanga ebyetaagibwa buli lunaku. 31Kino kikolebwe bwe kityo, basobole okuwangayo ebitambiro eri Katonda Atenkanika, okusabira nze kabaka n'abaana bange, Katonda awe obulamu bwaffe omukisa.” 32N'ayongerako nti: “Bwe wabaawo ajeemera ebiragiro ebyo ebiwandiikiddwa, oba agaana okubituukiriza, anaawanikibwanga ku muti oguggyiddwa mu nnyumba ye yennyini, era ebintu bye binaatwalibwanga kabaka. 33Mukama asinzibwa e Yerusaalemu azikirize bakabaka bonna n'amawanga abagezaako okuyimiriza omulimu oba okwonoona Essinzizo ery'omu Yerusaalemu. 34Nze Dariyo ndagidde ebiragiro ebyo bituukirizibwe byonna.”
Currently Selected:
1 ESIDERAASI 6: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: