1 ESIDERAASI 7
7
Bamaliriza okuzimba Essinzizo
(Laba ne Ezer 6:13-18)
1Awo Sisine omufuzi wa Siriya ne Fenikiya, wamu ne Setari Bozenayi ne bannaabwe, ne bakola nga kabaka bwe yalagira, 2ne bassaako omwoyo okulabirira omulimu gw'Essinzizo nga bayamba abakulembeze Abayudaaya n'abalabirira Essinzizo. 3Abakozi ne banyiikirira omulimu ng'abalanzi Haggayi ne Zekariya babongeramu amaanyi.#Laba ne Hag 1:1 4Abayudaaya ne bamaliriza okuzimba nga Mukama, Katonda wa Yisirayeli, bwe yalagira era nga Kuuro ne Dariyo ne Arutazeruzesi, bakabaka b'e Perusiya bwe baabakkiriza. 5Essinzizo baalimaliriza ku lunaku olw'amakumi abiri mu essatu olw'omwezi gwa Adaari mu mwaka ogw'omukaaga ogw'obufuzi bwa Dariyo kabaka. 6Awo abantu ba Yisirayeli, bakabona, Abaleevi, n'abalala abaava mu busibe, ne babeegattako, ne bakola ebiragirwa mu kitabo kya Musa. 7Olw'okutukuza Essinzizo, ne bawaayo ente kikumi, endiga enkulu ennume ebikumi bibiri, n'endiga ento ebikumi bina ez'okutambira, 8n'embuzi kkumi na bbiri ez'okuwaayo olw'okusonyiyisa ebibi, ng'omuwendo ogw'abakulu b'ebika bwe guli. 9Bakabona n'Abaleevi nga bali mu byambalo byabwe, ne bayimirira nga bwe baagerekebwa okuweereza mu Ssinzizo lya Mukama, Katonda wa Yisirayeli, nga bwe kiri mu mateeka agali mu kitabo kya Musa. Abakuumi b'Essinzizo ne bayimirira ku buli mulyango.
Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako
(Laba ne Ezer 6:19-22)
10Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogusooka ogw'omwaka ogwaddirira, abantu ba Yisirayeli ne bakuza Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Bakabona n'Abaleevi baali beetukulizza kumu.#Laba ne Kuv 12:1-20 11Mu baava mu buwaŋŋanguse, tewali beetukuliza kumu ne bakabona okuggyako Abaleevi. 12Abaleevi ne batta ebisolo eby'okutambira ku lw'abantu bonna abaali bakomyewo okuva mu buwaŋŋanguse, ne ku lwa bakabona, ne ku lwabwe bennyini. 13Ebitambiro ne biriibwako bonna abaali bavudde mu buwaŋŋanguse. Ne basinza Mukama ne beggyako empisa ez'obugwagwa bw'ab'amawanga amalala ab'omu nsi eyo. 14Ne bamala ennaku musanvu nga bakuza Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa, nga basanyuka mu maaso ga Mukama, 15Katonda wa Yisirayeli, kubanga yali akyusizza omutima gwa kabaka wa Assiriya n'abasemba era n'abayamba mu mulimu gwabwe.
Currently Selected:
1 ESIDERAASI 7: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: