YouVersion Logo
Search Icon

1 ESIDERAASI 5

5
Olukalala lw'abadda ku butaka
(Laba ne Ezer 2:1-70; Neh 7:4-73)
1Ebyo bwe byaggwa, abakulu b'amasiga ne balondebwa mu buli kika okugenda e Yerusaalemu ne bakazi baabwe n'abaana baabwe, n'abaddu baabwe era n'ensolo zaabwe. 2Dariyo n'abateekako ekibinja ky'abeebagadde embalaasi kya bantu lukumi okubawerekera babatuuse bulungi e Yerusaalemu. 3N'abasiibula mu kinyumu eky'okuyimba, okukuba ebivuga, n'okuzina.
4Gano ge mannya g'abo abaakomawo e Yerusaalemu ng'ebika byabwe n'amasiga era n'ennyumba zaabwe bwe biri. 5Mu bakabona, bazzukulu ba Finehaasi mutabani wa Arooni, mwalimu Yoswa, mutabani wa Yehozadaaki era muzzukulu wa Seraya. Yali ne Zerubabbeli mutabani wa Seyalutiyeli ow'omu nnyumba ya Dawudi, mu lunyiriri lwa Pereezi ow'Ekika kya Yuda. 6Oyo ye yayogera ebigambo eby'amagezi mu maaso ga Dariyo kabaka wa Perusiya. Baava e Babilooni mu mwaka ogwokubiri ogw'omulembe gwa kabaka oyo, mu Nisani, omwezi omubereberye.
7Bano be Bayudaaya abadda okuva mu bunyage. Baali Babilooni, Kabaka Nebukadunezzari gye yali abatutte nga basibe. 8Baakomawo e Yerusaalemu n'awalala mu Buyudaaya, buli omu ng'adda mu kibuga ky'ewaabwe. Abakulembeze baabwe baali Zerubabbeli, Yoswa, Nehemiya, Seraya, Resaya, Eneneewo, Moruddekaayi, Beelusaaru, Asifaraso, Reeliya, Rehimu ne Baana.
9Omuwendo gw'abo abaava mu bunyage, abajja n'abakulembeze baabwe gwe guno: ab'omu nnyumba ya Parosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri. 10Ab'omu nnyumba ya Sefatiya, ebikumi bina mu nsanvu mu babiri. Ab'omu nnyumba ya Ara, lusanvu mu ataano mu mukaaga. 11Ab'omu nnyumba ya Pahati Mowaabu, bazzukulu ba Yoswa ne Yowaabu, enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri. 12Ab'omu nnyumba ya Elamu, lukumi mu ebikumi bibiri mu ataano mu bana. Ab'omu nnyumba ya Zattu, lwenda mu ana mu bataano. Ab'omu nnyumba ya Karube, lusanvu mu bataano. 13Ab'omu nnyumba ya Bani, lukaaga mu ana mu munaana. Ab'omu nnyumba ya Bebayi, lukaaga mu abiri mu basatu. Ab'omu nnyumba ya Azigaadi, lukumi mu bisatu mu abiri mu babiri. 14Ab'omu nnyumba ya Adonikamu, lukaaga mu nkaaga mu musanvu. Ab'omu nnyumba ya Biguvaayi, enkumi bbiri mu nkaaga mu mukaaga. Ab'omu nnyumba ya Adini, ebikumi bina mu ataano mu bana. 15Ab'omu nnyumba ya Ateri era ayitibwa Heezeekiya, kyenda mu babiri. Ab'omu nnyumba ya Kilani ne Azeeta, nkaaga mu musanvu. Ab'omu nnyumba ya Azaru, ebikumi bina mu asatu mu babiri. 16Ab'omu nnyumba ya Anniya, kikumi mu omu. Ab'omu nnyumba ya Aromu n'ab'omu nnyumba ya Bezaayi, ebikumi bisatu mu abiri mu basatu. Ab'omu nnyumba ya Arusifuriiti, kikumi mu abiri mu babiri. 17Ab'omu nnyumba ya Bayitero, enkumi ssatu mu bataano. Bazzukulu b'abo abaabeeranga mu bibuga ebiddirira, nabo baakomawo: Ab'e Betilehemu, kikumi mu abiri mu basatu. 18Ab'e Netofa, ataano mu bataano. Ab'e Anatooti, kikumi mu ataano mu munaana. Ab'e Betazumaveti, amakumi ana mu babiri. 19Ab'e Kiriyati Yarimu, amakumi abiri mu bataano. Ab'e Kefira n'e Beeroti, lusanvu mu ana mu basatu. 20Abakadiya n'Abammidi, ebikumi bina mu abiri mu babiri. Ab'e Raama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu. 21Ab'e Mikumasi, kikumi mu ataano mu mukaaga. Ab'e Beteli, amakumi ataano mu babiri. Ab'e Magubisi, kikumi mu ataano mu mukaaga. 22Ab'e Elamu ekirala, ne Ono, lusanvu mu abiri mu bataano. 23Ab'e Yeriko, ebikumi bisatu mu ana mu bataano. Ab'e Seena, enkumi ssatu mu bisatu mu asatu.
24Bano be b'omu lulyo lwa bakabona, abaava mu bunyage: ab'omu nnyumba ya Yedaaya, muzzukulu wa Yoswa ne Anasibu, lwenda mu nsanvu mu babiri. Ab'omu nnyumba ya Yimmeri, lukumi mu ataano mu babiri. 25Ab'omu nnyumba ya Pasuhuuri, lukumi mu ebikumi bibiri mu ana mu musanvu. Ab'omu nnyumba ya Harimu, lukumi mu kkumi na musanvu.
26Ab'omu Kika kya Leevi abaakomawo be bano: ab'omu nnyumba ya Yeswa, Kadumyeli, Bennuyi, ne Odaviya, nsanvu mu bana. 27Abayimbi ab'omu Ssinzizo, bazzukulu ba Asafu, kikumi mu abiri mu munaana. 28Abakuumi b'Essinzizo, bazzukulu ba Sallumu ne Ateri ne Talumooni, ne Akkubu, Atita ne Sobayi, kikumi mu asatu mu mwenda.
29Abaweereza b'omu Ssinzizo: ab'omunnyumba ya Esawu, n'eya Asufa, n'eya Tabbawooti, n'eya Siyaka, 30n'eya Padoni, n'eya Lebana, n'eya Agaba, n'eya Akkubu, n'eya Wutaki, n'eya Ketabu, n'eya Agaba, 31n'eya Samulaayi, n'eya Kanaani, n'eya Katuwa, n'eya Geddura, n'eya Yayiro, n'eya Dayisani, n'eya Noweba, n'eya Kaseba, n'eya Gazera, n'eya Wuzza, n'eya Fineya, n'eya Asara, n'eya Besayi, n'eya Asuna n'eya Mewuniimu, n'eya Nefisimu, n'eya Akubu, n'eya Akufa, n'eya Asuri, n'eya Farakimu, n'eya Bazuluti, 32n'eya Mekida, n'eya Kuta, n'eya Kareya, n'eya Baruko, n'eya Sisera, n'eya Tema, n'eya Neziya, n'eya Atiifa.
33Bano be bazzukulu b'abaweereza ba Solomooni abaakomawo: bazzukulu ba Hassofereti, aba Peruda, aba Yaala, aba Lozoni, aba Giddeli, aba Sefatiya, 34aba Agiya, aba Fokeriti, aba Hazzebayimu, aba Satori, aba Masiya, aba Gaasi, aba Addu, aba Suba, aba Afeera, aba Barodi, aba Safati, n'aba Adulooni.
35Omuwendo gwonna ogw'abazzukulu b'abaweereza b'omu Ssinzizo n'aba Solomooni, abaakomawo okuva mu bunyage, gwali ebikumi bisatu mu nsanvu mu babiri.
36Waaliwo n'abo abaava e Teeli Meela ne Teeli Harusa, nga bakulembeddwa Kerubi ne Addani ne Yimmeri. 37Naye baali tebasobola kukakasa nti bazzukulu ba Bayisirayeli. Baali lukaaga mu ataano mu babiri, nga ba mu lulyo lwa Delayi, muzzukulu wa Tobiya ne mu lwa Nekoda.
38Waaliwo abaali beeyita ab'omu lulyo lwa bakabona, naye nga tebalina biwandiiko bibakakasa, be bano: ab'omu nnyumba ya Habaya, n'ab'omu nnyumba ya Hakkoozi, n'ab'omu nnyumba ya Yaddu, eyawasa Agiya muwala wa Baruzillayi n'atwala erinnya ery'ekika ekya kitaawe wa mukazi we. 39Bwe baalemwa okukakasa obuzaale bwabwe, ne batakkirizibwa kukola mulimu gwa bakabona. 40Nehemiya yabagamba nti tebayinza kulya ku biweebwayo eri Katonda okutuusa lwe walibaawo Ssaabakabona akozesa ebimanyisa Ebikwekeddwa n'eby'Amazima#5:40 Ebimanyisa Ebikwekeddwa n'eby'Amazima: Mu Lwebureeyi Urim ne Thummim..#Laba ne Kubal 27:21
41Omuwendo gw'Abayisirayeli bonna okuva ku b'emyaka ekkumi n'ebiri ng'abaddu n'abazaana tebabaliddwa, baali mitwalo ena mu ebikumi bisatu mu nkaaga. 42Abaddu n'abazaana baali kasanvu mu ebikumi bisatu mu nsanvu. Abakubi b'ebivuga n'abayimbi abasajja n'abakazi: ebikumi bibiri mu ana mu bataano. 43Eŋŋamiya ebikumi bina mu asatu mu ttaano, embalaasi kasanvu mu asatu mu mukaaga. Ennyumbu ebikumi bibiri mu ttaano, endogoyi enkumi ttaano mu bitaano mu abiri mu ttaano.
44Bwe batuuka mu kifo ky'Essinzizo lya Katonda, abamu ku bakulembeze baabwe ne beeyama okuzimba obuggya Essinzizo mu kifo kyalyo eky'edda, nga bwe basobola. 45Ne basuubiza n'okuwaayo zaabu wa kilo ebikumi bitaano, ne ffeeza wa kilo enkumi bbiri mu bitaano okuzimba obuggya Essinzizo, era n'okuwaayo n'ebyambalo lukumi ebya bakabona.
46Bakabona n'Abaleevi n'abamu ku bantu abalala ne basenga mu Yerusaalemu n'emiriraano. Abakubi b'ebivuga n'abakuumi b'Essinzizo nabo ne basenga okumpi ne Yerusaalemu. Abayisirayeli abalala ne basenga mu bibuga ebyabeerangamu bajjajjaabwe.#Laba ne 1 Byom 9:2; Neh 11:3
Okusinza kuzzibwawo
(Laba ne Ezer 3:1-6)
47Omwezi ogw'omusanvu we gwatuukira, ng'Abayisirayeli bamaze okukkalira mu bibuga byabwe. Awo ne bakuŋŋaanira wamu mu luggya mu maaso g'omulyango ogusooka ku ludda lw'ebuvanjuba olw'Essinzizo. 48Yoswa mutabani wa Yehozadaaki, ne bakabona banne, ne Zerubabbeli mutabani wa Seyalutiyeli ne baganda be, ne bateekateeka alutaari ya Katonda wa Yisirayeli, 49basobole okwokerako ebitambiro, nga bagoberera ebiragiro ebiri mu mateeka ga Musa, Omusajja wa Katonda. 50Abamu ku bantu ab'omu nsi eyo, wadde baali ba maanyi okusinga Abayudaaya era nga tebakkaanya nabo, baabeegattako okuzimba obuggya alutaari mu kifo we yali okusooka. 51Olwo Abayudaaya ne batandika nate okwokyanga ebitambiro ebya buli nkya n'ebya buli kawungeezi. Ne bakuza Embaga ey'Ensiisira, nga bawaayo ebitambiro buli lunaku ng'amateeka bwe gali. 52Ne bawangayo n'ebitambiro ebya bulijjo buli lunaku, n'ebyo ebiweebwayo ku Sabbaato, ku Mbaga y'Okuboneka kw'Omwezi, ne ku nkuŋŋaana endala ez'okusinza.#Laba ne Kubal 28:11–29:39 53Newaakubadde baali tebannazimba buggya Ssinzizo lya Katonda, buli omu eyali yeeyamye mu maaso ga Katonda, ng'awaayo ebitambiro ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'omusanvu.
Bazimba Essinzizo
(Laba ne Ezer 3:7-13)
54Baawaayo ensimbi okusasula abazimbisa amayinja n'ababazzi. 55Ne bawaayo ebyokulya n'ebyokunywa n'ebigaali eby'okuweereza mu bibuga Tiiro ne Sidoni bafuneyo emiti gy'emivule egy'e Lebanooni, nga bagiyisa ku mazzi ne gigoba ku mwalo gw'e Yoppa. Bino byonna baabikola nga bagoberera ebiragiro Kuuro, kabaka wa Perusiya bye yawa.
56-57Mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwo nga bamaze okudda mu kifo ky'Essinzizo mu Yerusaalemu, ne batandika omulimu gw'okuzimba era ne basima omusingi. Zerubabbeli ne Yoswa ne bannaabwe bonna, bakabona n'Abaleevi n'abantu bonna abaakomawo e Yerusaalemu nga bava mu buwaŋŋanguse, beetaba mu mulimu. 58Abaleevi ab'emyaka amakumi abiri n'okusingawo ne baweebwa ogw'okulabirira okuzimbira Mukama Essinzizo. Omuleevi Yeswa n'abaana be n'ab'olulyo lwe, muganda we Kadumyeli, abaana ba Yeswa Emadabuni, batabani ba Yoda omwana wa Yiliyaduni n'abaana baabwe wamu ne baganda baabwe bonna, ka tugambe nti Abaleevi bonna okutwalira awamu, ne beetaba mu kulabirira omulimu ogw'okuddamu okuzimba Essinzizo.
Abakozi bwe baabanga bazimba Essinzizo lya Mukama, 59bakabona abali mu byambalo byabwe, baabeeranga mu bifo byabwe nga bakutte mu ngalo eŋŋombe n'ebivuga ebirala. Abaleevi ab'omu lulyo lwa Asafu ne bayimirira awo nga balina ensaasi.#Laba ne 1 Byom 25:1 60Ne batendereza Mukama era ne bamwebaza nga bagoberera amateeka agaateekebwawo Kabaka Dawudi. 61Ne bayimba Zabbuli nga batendereza Mukama, nga bayimba ekiddibwamu nti: “Ekisa kya Mukama n'ekitiibwa kye biri n'Abayisirayeli bonna bulijjo.”#Laba ne 1 Byom 16:34; 2 Byom 5:11-14; Zab 100:5; 106:1; 118:1; 136:1; Yer 33:11 62Abantu bonna ne bafuuwa eŋŋombe ne baleekaana nnyo nga batendereza Mukama, kubanga Essinzizo lye lizzeemu okuzimbibwa. 63Abamu ku bakabona abakadde, n'Abaleevi, n'abakulu b'ebika, baali balabye Essinzizo eryasooka. Kale bwe baalaba Essinzizo bwe lizimbibwa obuggya, ne bakaaba ne bakuba ebiwoobe. 64Abalala abaaliwo ne bafuuwa eŋŋombe, ne baleekaana olw'essanyu. 65Ekibiina ky'abantu kyanyanyaagiza nnyo eŋŋombe, nga ziwulirwa n'ewala, naye nga ku bali okumpi tewali ayinza kuwulira kuleekaana kwa ŋŋombe olw'amaloboozi g'abo abakaaba era abakuba ennyo ebiwoobe.
Okuzimba Essinzizo kuwakanyizibwa ne kuyimirira
(Laba ne Ezer 4:1-5)
66Abalabe b'Ekika kya Yuda n'ekya Benyamiini bwe baawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, ne bajja okulaba kye litegeeza. 67Bwe baamanya nti abo abaava mu buwaŋŋanguse baali baddamu okuzimba Essinzizo lya Mukama, Katonda wa Yisirayeli,#Laba ne 2 Bassek 17:24-41 68ne bagenda eri Zerubabbeli ne Yoswa n'abakulu b'ebika, ne babagamba nti: “Ka tuzimbire wamu Essinzizo, 69kubanga naffe tusinza Mukama ye omu nga mmwe, era tubadde tumuwa ebitambiro okuva ku mirembe gya Esaraddoni, kabaka wa Assiriya eyatusindika okubeera wano.”
70Zerubabbeli ne Yoswa n'abakulu b'ebika ne babagamba nti: “Tetwetaaga mmwe kutuyamba kuzimba Ssinzizo lya Mukama Katonda waffe. 71Tujja kulizimba ffekka nga Kuuro kabaka wa Perusiya bwe yatulagira.”
72Awo abantu ab'omu nsi eyo ne batandika okutawaanya Abayudaaya, ne babaziyiza okuleeta eby'okuzimbisa. 73Ne beekoba ne bajagalala, ne beegugunga ne baziyiza Essinzizo okumalirizibwa mu mirembe gya Kuuro. Omulimu ne guyimirira okutuusa Dariyo lwe yafuuka kabaka nga wayiseewo emyaka ebiri.

Currently Selected:

1 ESIDERAASI 5: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in