1 ESIDERAASI 4
4
1Owookubiri eyawandiika ku maanyi ga kabaka, n'atandika okunnyonnyola ebibye nti: 2“Bakama bange, tewali kisinza bantu maanyi, kubanga be bafuga ensi n'ennyanja, na buli kimu ekiri ku nsi. 3Naye bonna kabaka ye abasinga amaanyi. Ye mukama waabwe abatwala, era bagondera ebiragiro bye byonna. 4Bw'abagamba okulwanagana, bakikola. Bw'abasindika okulwanyisa abalabe be, bagenda ne basaanyaawo ensozi n'ebigo n'eminaala. 5Batta oba ne battibwa, naye ne batajeemera biragiro bya kabaka. Bwe bawangula, byonna bye banyaze ne bye bafunye mu lutalo babireetera kabaka. 6Wadde abalimi abatagenda kutabaala, ekitundu ky'ebyo bye bakungula bakireetera kabaka, era bakubirizagana okuwa kabaka omusolo. 7Newaakubadde kabaka ali omu, bw'alagira abantu okutta, batta, bw'alagira okuta abasibe, babata. 8Bw'alagira balumbe, balumba. Bw'alagira okuzikiriza, bakikola, bw'abalagira okuzimba, bazimba. 9Bw'alagira bateme ebirime, babitema, bw'alagira okusimba emisiri, bakikola. 10Abantu be bonna abaserikale n'abatali baserikale, bamuwulira. 11Bw'atuula okulya n'okunywa oluvannyuma ne yeebaka, abaweereza be bayimirira awo, nga bamwetoolodde, era tebayinza kuvaawo kugenda kwekolera byabwe, kubanga tebalina kye bamujeemeramu. 12Kale bakama bange, oba ng'abantu, kabaka bamuwulira bwe batyo, ddala ku nsi teri kimusinga maanyi.” Bw'atyo bwe yamaliriza.
13Owookusatu eyawandiika ku bakazi ne ku mazima, yali Zerubabbeli. Ye yagamba bw'atyi: 14“Bakama bange, kituufu kabaka wa maanyi, n'abantu bangi, n'omwenge gwa maanyi, naye byonna abifuga ye ani? Ddala be bakazi. 15Abakazi be bazaala kabaka n'abantu bonna abafuga ensi n'ennyanja. 16Abakazi be baabaleeta ku nsi. Abakazi be baakuza abantu abasimba emisiri gy'emizabbibu omuva omwenge. 17Abakazi be bakolera abasajja engoye ze bambala, abakazi be baweesa abasajja ekitiibwa. Abasajja tebayinza kubeerawo awatali bakazi.
18“Abasajja bayinza okwekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu n'ebintu ebirala ebirungi. Naye bwe balaba omukazi eyakula obulungi era atunula obulungi, 19biri byonna babireka ne bamwekaliriza amaaso, ne bamwegomba okusinga zaabu ne ffeeza n'ebirungi ebirala. 20Omusajja alekawo kitaawe eyamukuza, n'ava ne mu nsi ye, olw'okuwasa. 21Yeerabira kitaawe ne nnyina era n'ensi ye, abeerenga ne mukazi we obulamu bwe bwonna. 22Mumanye nti abakazi be bakama bammwe. Kale temukola ne mutuuyana, ate byonna bye mufunyeemu ne mubitwalira bakazi bammwe? 23Omusajja aggyayo ekitala kye n'agenda okulumba, okunyaga n'okubba, n'okusomoka ennyanja n'emigga. 24Alwanagana n'empologoma, n'atambulira mu kizikiza. Naye bw'amala okubba n'okunyakula, by'anyaze abireetera mukazi gw'ayagala.
25“Omusajja ayagala mukazi we okusinga bw'ayagala kitaawe ne nnyina. 26Abasajja abamu baggwaamu amagezi olw'abakazi, abamu bafuuka abaddu era olw'abakazi. 27Bangi abattibwa, oba abalumya obulamu bwabwe, oba abazza emisango olw'abakazi. 28Kale kye ŋŋamba temukikkiriza? Ddala kabaka alina amaanyi mangi, tewali ggwanga liguma kumulumba. 29Naye olumu namulaba ng'ali ne Apame, muganzi we, muwala wa Barutaako omututumufu. Omukazi oyo bwe yali ng'atudde ku ludda lwa kabaka olwa ddyo, 30n'amutikkula engule ku mutwe, n'agyetikkira ku gugwe, n'akuba kabaka oluyi n'omukono gwe ogwa kkono. 31Kabaka yamutunuulira butunuulizi ng'ayasaamiridde. Omukazi bwe yamusekeranga, nga ne kabaka aseka. Omukazi bwe yasunguwalanga, nga kabaka amubudaabuda era ng'amuwaanawaana amusanyuse. 32Bakama bange oba ng'abakazi basobola okukola ebyo byonna, tuyinza tutya okuwakana nti si be basinga byonna amaanyi?” 33Awo kabaka n'abakungu be ne batunulaganako.
34Oluvannyuma Zerubabbeli n'atandika okwogera ku mazima. N'agamba nti: “Weewaawo tulabye abakazi nga bwe bali ab'amaanyi. Naye mulowooze ku bunene bw'ensi, ku butumbiivu bw'eggulu, ne ku misinde enjuba gy'etambulirako, ng'eyanguwa okwetooloola eggulu lyonna mu lunaku olumu. 35Kale ebyo byonna bikulu. Naye amazima makulu era ga maanyi okusinga ebyo byonna. 36Ensi yonna ewa amazima ekitiibwa, eggulu ligatendereza, ebitonde byonna bigatya ne bikankana. We gabeera tewaba kitali kya bwenkanya. 37Mu mwenge ne mu kabaka, mu bakazi ne mu bantu bonna ne mu byonna bye bakola, ne mu birala, osangamu obutali bwenkanya. Temuli mazima mu byo, si bya bwenkanya, era birizikirira. 38Naye amazima ga lubeerera era gaba ga maanyi bulijjo. Gasigalawo, era gafuga emirembe n'emirembe. 39Amazima tegaliimu kusosola wadde okwekubiira. Gasiima okukola ekituufu okusinga ekitali kya bwenkanya wadde ekibi. Buli omu asiima amazima bye gakola. 40Gasala emisango mu bwenkanya. Amazima ga maanyi, meesigwa, ga buyinza era ga kitiibwa emirembe gyonna. Ebintu byonna bitendereze Katonda, Mukama w'amazima.”
41Zerubabbeli bwe yamala okwogera, abantu bonna ne baleekaana nti: “Amazima makulu, amazima ge gasinga byonna amaanyi.”
42Awo kabaka n'amugamba nti: “Nsaba kyonna ky'oyagala ne bwe kinaaba nga tekyabadde mu ebyo bye mwalagaanye, nja kukikuwa. Ojja kuba muwi wange ow'amagezi. Era ojja kuweebwa obukulu, oyitibwenga ‘Muganda wa kabaka.’ ”
43Zerubabbeli n'addamu nti: “Ssaabasajja, nzikiriza nkujjukize kye weeyama ng'olayira ku lunaku lwe waliirako obwakabaka. Weeyama okuzimba Yerusaalemu, 44n'okuzzaayo ebyobugagga byonna ebyanyagibwa mu kibuga ekyo. Jjukira nti Kuuro bwe yeeyama okuzikiriza Babilooni, yataliza ebintu ebyo, n'asuubiza okubizzaayo e Yerusaalemu. 45Era wasuubiza okuzimba obuggya Essinzizo, Abeedomu lye baayokya, Abakaludaaya bwe baazikiriza Buyudaaya.#Laba ne Ob 10-14 46Kale, Ssaabasajja, nga bw'oli ow'ekisa, nkusaba otuukirize kye walagaanya Kabaka w'Eggulu”.
47Awo Kabaka Dariyo n'ayimirira, n'anywegera Zerubabbeli, era n'awandiika amabaluwa Zerubabbeli g'anaatwalira abawanika bonna, n'abafuzi b'ebitundu n'abakulu mu magye n'ab'amasaza, ng'abalagira okuyisa Zerubabbeli obulungi, wamu n'abo abagenda naye okuzimba Yerusaalemu obuggya. 48Era n'awandiikira n'abafuzi bonna ab'omu Siriya ne Fenikiya. Ab'omu Lebanooni n'abongerako n'ebiragiro eby'okuweereza emiti egy'emivule e Yerusaalemu, n'okuyamba Zerubabbeli okuzimba ekibuga obuggya.
49Abayudaaya bonna abaagala okuddayo e Yerusaalemu, kabaka n'abawa amabaluwa agakakasa nti ba ddembe, era n'alagira abawanika bonna, n'abakulu b'ebitundu n'abafuzi abalala baleme kubaziyiza. 50Ettaka lyonna lye bafuna lireme kuweebwako busuulu, era Abeedomu baweeyo ebyalo bye baggya ku Bayudaaya. 51Buli mwaka kilo lukaaga mu kinaana eza ffeeza ziweebwengayo okuzimba Essinzizo okutuusa lwe liriggwa. 52Era buli mwaka kilo endala bisatu mu ana eza ffeeza ziweebwengayo okugulanga ebitambiro ebyokebwa mu Ssinzizo buli lunaku. 53Abayudaaya bonna abava e Babilooni okugenda okuzimba ekibuga Yerusaalemu ba kuweebwa eddembe lyabwe awamu n'abaana baabwe ne bakabona.
54Kabaka n'awandiika ng'alagira nti bakabona bayambibwe era baweebwe ebyambalo bye bambala nga baweereza mu Ssinzizo. 55Abaleevi balabirirwe okutuusa ng'Essinzizo ne Yerusaalemu bimaze okuzimbibwa obuggya. 56Abakuumi b'ekibuga bonna baweebwe ettaka n'emisaala. 57Kabaka n'addamu okukakasa ebiragiro bya Kuuro nti ebikopo byonna n'ebyobugagga eby'omu Ssinzizo, Kuuro bye yatalizaawo, bizzibweyo e Yerusaalemu.
58Awo omuvubuka Zerubabbeli n'ava mu kisenge ky'olukiiko, n'ayolekera Yerusaalemu, n'ayimusiza amaaso ge eri eggulu, n'atendereza Kabaka w'Eggulu, ng'agamba nti: 59“Ayi Mukama, oweebwe ettendo lyonna. Ggwe nsibuko y'obuwanguzi n'amagezi. 60Nkwebaza ayi Mukama wa bajjajjaffe, kubanga ggwe ompadde amagezi, nze omuweereza wo.”
61Oluvannyuma Zerubabbeli n'akwata amabaluwa, n'alaga e Babilooni, n'ategeeza Bayudaaya banne byonna ebibaddewo. 62Ne batendereza Katonda wa bajjajjaabwe abasobozesezza okugenda 63okuzimba obuggya Yerusaalemu n'Essinzizo mu linnya lye. Ne bamala ennaku musanvu nga bakola embaga nga basanyuka.
Currently Selected:
1 ESIDERAASI 4: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: