YouVersion Logo
Search Icon

1 ABAKORINTO 6

6
Okuwozesa abooluganda
1Omu mu mmwe bw'abaako ky'avunaana munne, lwaki aguma okutwala ensonga ze mu balamuzi abatalina kukkiriza, n'atazitwala mu bantu ba Katonda? 2Temumanyi nti abantu ba Katonda be balisalira ensi omusango? Oba nga mmwe mulisalira ensi omusango, kale temusobola kusala musango mu busonga obwo obutono? 3Temumanyi nti ffe tulisalira bamalayika omusango? Kale tuyinza tutya okulemwa okusala emisango egy'omu bulamu buno? 4Kale bwe muba n'emisango egy'engeri eyo, lwaki mugitwala eri abo ab'ebweru, abanyoomebwa mu kibiina ky'abakkiriza Kristo?
5Kino nkyogedde kubaswaza. Ddala mu mmwe temuyinza kuzuulamu muntu mugezi asobola okusala omusango gw'abooluganda?
6Ddala owooluganda awawaabire muganda we eri abo abatalina kukkiriza? 7Naye n'okuwozaŋŋanya mwekka na mwekka, kiraga nti muli mu kabi. Lwaki temugumiikiriza nga mukoleddwa akabi? Lwaki temugumira bya kulyazaamanyizibwa? 8Naye mmwe mwennyini mukola bubi, era mulyazaamaanya. Kino mukikola ne ku baganda bammwe. 9Temumanyi nti abatali batuukirivu tebalifuna mugabo mu Bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: abo abakola eby'obukaba, abasinza ebitali Katonda, abenzi, abalya ebisiyaga, 10ababbi, ab'omululu, abatamiivu, abawaayiriza, n'abanyazi, tebalifuna mugabo mu Bwakabaka bwa Katonda. 11Era abamu ku mmwe mwali ng'abo. Naye olw'erinnya lya Mukama Yesu Kristo n'olwa Mwoyo wa Katonda, mwanaazibwa era mwatukuzibwa, ne muweebwa obutuukirivu.
12Omu ayinza okugamba nti: “Byonna nzikirizibwa okubikola.” Weewaawo, naye si byonna ebigasa. Nange nnyinza okugamba nti: “Byonna nzikirizibwa okubikola.” Naye nga byo si bye binfuga.#Laba ne 1 Kor 10:23 13N'omulala ayinza okugamba nti: “Ebyokulya byatonderwa lubuto, n'olubuto lwatonderwa byakulya.” Weewaawo, naye byombi Katonda alibiggyawo. Naye omubiri teguliiwo lwa bwenzi, wabula guliwo lwa Mukama, ne Mukama lwa mubiri. 14Katonda yazuukiza Mukama, era naffe alituzuukiza olw'amaanyi ge.
15Temumanyi nti emibiri gyammwe bitundu bya mubiri gwa Kristo? Kale nnyinza okuddira ebitundu by'omubiri gwa Kristo ne mbifuula ebitundu by'omwenzi? Ekyo siyinza kukikola. 16Temumanyi nti eyeegatta n'omwenzi, bombi baba omubiri gumu? Kubanga kyawandiikibwa nti: “Bombi baliba omubiri gumu.”#Laba ne Nta 2:24 17Kyokka oyo eyeegatta ne Mukama, bombi baba omu mu mwoyo.
18Mwewalenga obwenzi. Buli kibi omuntu ky'akola, kiba bweru wa mubiri gwe. Kyokka oyo ayenda, akola ekibi ku mubiri gwe gwennyini.
19Temumanyi nti emibiri gyammwe lye ssinzizo lya Mwoyo Mutuukirivu abeera mu mmwe, Katonda gwe yabawa? Era temumanyi nti temuliiwo ku lwammwe?#Laba ne 1 Kor 3:16; 2 Kor 6:16 20Mwagulwa n'omuwendo munene. N'olwekyo emibiri gyammwe mugikozesenga ebyo ebiweesa Katonda ekitiibwa.

Currently Selected:

1 ABAKORINTO 6: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in