1 ABAKORINTO 5
5
Eby'ekivve mu Korinto
1Tutegedde nti mu mmwe mulimu obwenzi, obutasangibwa na mu batalina kukkiriza, kubanga omuntu atwala muka kitaawe n'amufuula mukazi we.#Laba ne Ma 22:30 2Ne mwekulumbaza sso nga mwandinakuwadde bunakuwazi, era eyakola ekyo yandibadde aggyibwa mu mmwe. 3Nze newaakubadde siri eyo nammwe mu mubiri, naye nga bwe ndi nammwe mu mwoyo, omuntu eyakola ekikolwa ekyo, mmaze okumusalira omusango okumusinga. 4Mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukuŋŋaane nga nange ndi nammwe mu mwoyo, era nga n'amaanyi ga Mukama waffe Yesu Kristo gali nammwe 5muweeyo eri Sitaani omuntu eyakola ekyo, omubiri gwe guzikirizibwe, omwoyo gwe gulyoke gulokolebwe ku lunaku Mukama waffe Yesu lw'addirako.
6Temusaana kwekulumbaza. Temumanyi nti ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna?#Laba ne Bag 5:9 7Muggyeewo ekizimbulukusa ekyo eky'edda, mulyoke mubeerere ddala ekitole ekiggya, nga ddala temuliimu kizimbulukusa, kubanga Kristo, endiga ey'Okuyitako#5:7 endiga ey'Okuyitako: Laba ne kuv Emisiri 12:21 kwaffe, atambiddwa.#Laba ne Kuv 12:5 8Kale tulye embaga eteri ya mugaati ogulimu ekizimbulukusa eky'edda, eky'ettima n'obubi, naye ey'omugaati ogutaliimu kizimbulukusa: bwe bulongoofu, obwesimbu, n'amazima.#Laba ne Kuv 13:7; Ma 16:3
9Mu bbaluwa gye nabawandiikira, nabagamba obuteetabanga na benzi. 10Kyokka sigamba abenzi abatalina kukkiriza, ab'omululu oba abanyazi, oba abasinza ebitali Katonda, kubanga okwewala abo, mpozzi mwandibadde nga muviira ddala ku nsi kuno.
11Naye kaakano mbawandiikira, mulemenga kwetaba na muntu n'omu eyeeyita owooluganda, bw'aba nga mwenzi oba ow'omululu, oba asinza ebitali Katonda, oba omuvumi w'abantu, oba omutamiivu, oba omunyazi. Ow'engeri eyo n'okulya temulyanga naye. 12-13Kale nfaayo ki okusalira omusango abantu ab'ebweru? Katonda ye aligubasalira. Naye abo ab'omu nju yammwe, temusaana kubasalira musango? Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Omubi mumuggye mu mmwe.”#Laba ne Ma 13:5; 17:7
Currently Selected:
1 ABAKORINTO 5: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: