1 ABAKORINTO 7
7
Ebifa ku bufumbo
1Kaakano bino bye bikwata ku ebyo bye mwampandiikira. Kirungi omusajja alemenga kuwasa. 2Kyokka olw'okwewala obwenzi, kisaana buli musajja afune omukazi owuwe, era na buli mukazi afune bba. 3Omusajja atuukirizenga ekimubanjibwa mu bufumbo, era n'omukazi akolenga bw'atyo. 4Omukazi si ye alina obuyinza ku mubiri gwe, wabula bba ye agulinako obuyinza. Bw'atyo n'omusajja si ye alina obuyinza ku mubiri gwe, wabula mukazi we ye agulinako obuyinza.
5Abafumbo, buli omu alemenga kugaana munne, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubenga n'ebbanga ery'okwegayiririramu Katonda. Naye oluvannyuma muddiŋŋanenga, sikulwa nga Sitaani abakema olw'obuteefuga bwammwe. 6Ekyo nkyogera nga mbalaga nti muyinza okukikola, sso si tteeka.
7Nandyagadde abantu bonna babe nga nze bwe ndi. Kyokka buli omu alina ekirabo kye ekyenjawulo, Katonda kye yamuwa: omu kya ngeri eno, n'omulala kya ngeri ndala.
8Abo abatali bafumbo ne bannamwandu, mbategeeza nti singa basigalira awo nga nze bwe ndi, kyandibadde kirungi. 9Naye oba nga tebasobola kwefuga, kale bawase oba bafumbirwe, kubanga okufumbiriganwa kusinga okubonyaabonyezebwa okwegomba. 10Bo abafumbo mbalagira bwe nti, si nze mbalagira, wabula Mukama. Omukazi tanobanga ku bba.#Laba ne Mat 5:32; 19:9; Mak 10:11-12; Luk 16:18 11Singa anoba, taafumbirwenga nate. Ateekwa kubeerera awo, oba si ekyo, addiŋŋane ne bba.
12Abalala bo mbagamba, nze sso si Mukama, nti owooluganda bw'abanga n'omukazi atali mukkiriza, ng'ayagala okubeera naye, tamugobanga. 13Era singa omukazi abeera n'omusajja atali mukkiriza, ng'ayagala okubeera naye, tamunobangako. 14Kubanga omusajja atali mukkiriza, atukuzibwa olw'okwegatta ne mukazi we, era n'omukazi atali mukkiriza atukuzibwa olw'okwegatta ne bba omukkiriza. Singa tekiri bwe kityo, abaana bammwe tebandibadde balongoofu, naye kaakano batukuvu.
15Kyokka oyo atali mukkiriza bw'ayagala okwawukana, baawukane. Muganda waffe oba mwannyinaffe tewali kimusiba mu ekyo, kubanga Katonda yatuyitira mirembe. 16Ggwe omukazi omukkiriza omanyi otya ng'olirokola balo? Oba ggwe omusajja omukkiriza, omanyi otya ng'olirokola mukazi wo?
17Buli omu abe mu bulamu Mukama bwe yamuwa, era Katonda bwe yamuyitira. Ekyo kye kiragiro kye mpa mu bibiina byonna eby'abakkiriza Kristo. 18Eyakkiriza nga mukomole aleme okwegomba okuba ataakomolebwa. N'oyo eyakkiriza nga si mukomole aleme kwegomba kukomolebwa. 19Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa si kye kikulu, wabula ekikulu kwe kukwatanga ebiragiro bya Katonda. 20Buli omu asigalenga mu mbeera gye yayitirwamu. 21Wayitibwa ng'oli muddu? Kale tofaayo. Naye oba nga ofunye omukisa okufuuka ow'eddembe, togufiirwa. 22Kubanga eyayitibwa Mukama nga muddu, Mukama yamufuula muntu we wa ddembe. N'oyo Mukama gwe yayita nga wa ddembe, muddu mu Kristo. 23Mmwe yabagula omuwendo munene. N'olwekyo temufuukanga baddu ba bantu. 24Abooluganda, buli omu abeerenga mu mbeera gye yalimu, Katonda bwe yamuyita.
Abatali bafumbo ne bannamwandu
25Ebikwata ku batali bafumbo, sirina kiragiro kiva eri Mukama, naye mbawa ekirowoozo kyange ng'omuntu eyasaasirwa Mukama, ne nfuuka omwesigwa. 26Okusinziira ku bizibu ebiriwo kaakano, ndowooza nti omuntu kirungi okusigala nga bw'ali. 27Bw'oba n'omukazi leka kugezaako kumweggyako. Bw'oba toli mufumbo, leka kugezaako kunoonya mukazi wa kuwasa. 28Kyokka bw'owasa oba tokoze kibi. Era n'omukazi atali mufumbo bw'afumbirwa, aba takoze kibi. Wabula abo abafumbirwa banaabeeranga n'emitawaana egy'obufumbo. Naye mmwe nandyagadde okugibawonya.
29Abooluganda, mbagamba nti ekiseera kisigadde kitono, era okuva kaakano abo abalina abakazi babe ng'abatalina, 30n'abo abakaaba babe ng'abatakaaba, n'abo abasanyuka, babe ng'abatasanyuka. Abo abagula babe ng'abatalina bintu. 31Era n'abo abakozesa eby'oku nsi kuno, babe ng'abatabikozesa, kubanga ensi eno nga bw'eri, eggwaawo.
32Njagala mulemenga kweraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeemalira ku mulimu gwa Mukama, era Mukama gw'ayagala okusanyusa. 33Naye omufumbo, yeeraliikirira bya nsi, nga bw'anaasanyusa mukazi we. 34Aba yeesazeemu, alowooza wabiri. Era omukazi atali mufumbo oba omuwala, yeemalira ku bya Mukama, ayagala abe mutukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo, yeeraliikirira bya nsi, nga bw'anaasanyusanga bba. 35Ebyo mbyogera lwa bulungi bwammwe, sibatikka mugugu, wabula mbalaga bulazi ekisinga obulungi, mulyoke mweweere ddala Mukama, nga temutaataaganyizibwa.
36Naye omusajja bw'alowoozanga nti tayisizza bulungi omuwala gw'abeera naye bw'atamuwasa, ate nga tayinza kwefuga, akole nga bw'ayagala; bafumbiriganwe, ekyo si kibi. 37Naye oyo omunywevu mu mutima gwe, era nga talina kimuwaliriza, naye nga yeefuga, n'amalirira obutawasa muwala oyo, wabula okumukuuma nga mwannyina, aba akoze bulungi. 38Kale oyo awasa omukazi gw'ayogereza aba akoze bulungi, kyokka oyo amukuuma nga mwannyina ye asinga.
39Omukazi omufumbo taba na ddembe okufumbirwa omusajja omulala nga bba akyali mulamu. Kyokka bba bw'afa, olwo aba wa ddembe okufumbirwa omusajja omulala gw'aba ayagadde, wabula ng'agoberera Mukama ky'ayagala. 40Kyokka bw'asigala nga bw'ali, lw'asinga okuba n'essanyu. Ekyo kye kirowoozo kyange, era ndowooza nti nange nnina Mwoyo wa Katonda.
Currently Selected:
1 ABAKORINTO 7: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: