1 ABAKORINTO 4
4
Abatume ba Kristo
1Abantu basaana batulabenga nti tuli baweereza ba Kristo, abaakwasibwa ebyama bya Katonda, 2kubanga omuwanika kimugwanira okuba omwesigwa. 3Naye nze sifaayo, mmwe oba omuntu omulala yenna okunsalira omusango. Nange nzennyini sigwesalira, 4kubanga seemanyiiko musango. Naye ekyo tekitegeeza nti sirina musango, wabula agunsalira ye Mukama. 5N'olwekyo temusaliranga muntu musango ng'ekiseera tekinnatuuka, era nga Mukama tannajja. Bw'alijja, alimulisa buli kintu ekikwekeddwa mu kizikiza; era aliraga ebirowoozo ebiri mu mitima gy'abantu. Olwo n'alyoka awa buli omu ettendo erimusaanira.
6Abooluganda, ebyo byonna mbyogedde ku Apollo ne ku nze nzennyini, ng'ekyokulabirako, biryoke bibayambe, muyige ekyawandiikibwa ekigamba nti: “Tosukkanga kipimo.” Era mu mmwe temusaana kubaamu agulumiza muntu n'omu, ate n'anyooma omulala. 7Ani akufudde omukulu wa banno? Kiki ky'olina ky'otaaweebwa buweebwa? Kale oba nga waweebwa, lwaki weenyumiriza ng'ataaweebwa buweebwa?
8Mumaze okufuna byonna bye mwetaaga. Mugaggawadde. Mufuuse bakabaka, newaakubadde nga ffe si bwe tuli. Ddala nandyagadde mube bakabaka, naffe tulyoke tubeere bakabaka wamu nammwe. 9Kubanga ndowooza nti ffe abatume, Katonda yatuwa ekifo ekisemberayo ddala, nga tuli ng'abasaliddwa ogw'okuttibwa, kubanga twafuuka ekyo ensi n'abantu bonna kye beerolera. 10Ffe tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi. Mmwe muweebwa ekitiibwa, naye ffe tunyoomebwa. 11Era n'okutuusa kati tulumwa enjala n'ennyonta, tetulina kye twambala, tukubibwa, era tubungeeta bubungeesi; 12era tutegana nga tukola n'emikono gyaffe. Batukolimira, ffe ne tubasabira mikisa. Bwe tuyigganyizibwa, tugumiikiriza.#Laba ne Bik 18:3 13Bwe tuvumibwa, ffe tuddamu na ggonjebwa. Era okutuusa kaakano, tuli ng'ebisasiro by'ensi era obusa bwa byonna.
14Ebyo sibiwandiika lwa kubaswaza, wabula lwa kubabuulirira ng'abaana bange abaagalwa. 15Kubanga newaakubadde nga mu Kristo mulina abayigiriza nkumi na nkumi, naye temulina bakitammwe bangi. Kubanga olw'okubaleetera Amawulire Amalungi, nafuuka kitammwe mu Kristo Yesu.
16Kale mbegayiridde mulabirenga ku nze.#Laba ne 1 Kor 11:1; Baf 3:17 17Kyenvudde mbatumira Timoteewo. Ye mwana wange omwagalwa era omwesigwa. Alibajjukiza ebyo bye ngoberera mu bulamu bwange mu Kristo, era bye njigiriza wonna wonna mu buli kibiina ky'abakkiriza Kristo. 18Abamu mu mmwe beekulumbaza nga balowooza nti nze sigenda kujja gye muli. 19Kyokka Mukama bw'alyagala, ndijja mangu gye muli mmanyire ddala ebyo abeekulumbaza bye baasooka okukola, sso si ebyo bye boogera obwogezi. 20Kubanga Obwakabaka bwa Katonda tebuli mu bigambo bugambo, wabula mu maanyi. 21Mwagalako ki? Mwagala njije na muggo oba njije nga njijudde okwagala era n'obukkakkamu?
Currently Selected:
1 ABAKORINTO 4: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.