YouVersion Logo
Search Icon

1 ABAKORINTO 3

3
Abaweereza ba Katonda
1Kale abooluganda, ssaasobola kwogera nammwe ng'abafugibwa omwoyo, naye nayogera nammwe ng'abantu abafugibwa omubiri, abakyali abato mu Kristo. 2Nabanywesa mata, ssaabaliisa mmere, kubanga mwali temunnagisobola. Era ne kaakano temunnagisobola,#Laba ne Beb 5:12-13 3kubanga mukyafugibwa mubiri. Kale obuggya n'okuyombagana bwe bibeera mu mmwe, olwo nga temufugibwa mubiri, era nga n'empisa zammwe si za bantu buntu?
4Kale omu mu mmwe bw'agamba nti: “Nze ndi wa Pawulo,” n'omulala nti: “Nze ndi wa Apollo,” olwo temuba ng'abantu obuntu?#Laba ne 1 Kor 1:12 5Kale Apollo ye ani? Ye Pawulo ye ani? Si baweereza buweereza abaabaleetera okukkiriza, nga Mukama bwe yawa buli omu?
6Nze nasiga, Apollo n'afukirira, kyokka Katonda ye yakuza.#Laba ne Bik 18:4-11,24-28 7Oyo asiga, n'oyo afukirira si be bakulu, wabula Katonda akuza. 8Oyo asiga, n'oyo afukirira, bonna benkana, era buli omu aliweebwa empeera ye, okusinziira ku mulimu gwe yakola, 9kubanga ffe tuli bakozi, abakolera awamu ne Katonda. Mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.
10Nakola omulimu gw'omuzimbi omukugu, nga nsinziira ku kisa Katonda kye yankwatirwa, ne nteekawo omusingi, n'omuzimbi omulala kw'azimbira. Kyokka buli aguzimbirako yeegenderezenga, 11kubanga Yesu Kristo yateekebwawo, nga gwe musingi gwokka, era tewali ayinza kuteekawo musingi mulala.
12Kale ku musingi ogwo, omuntu bw'azimbisaako zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo, emiti, essubi, ebisasiro – 13omulimu gwa buli omu gulirabibwa. Olunaku Mukama lw'alisalirako omusango lwe luligwoleka, kubanga lulikya na muliro. Era omuliro ogwo gwe gulyoleka omulimu gwa buli omu nga bwe gufaanana.
14Omuntu kye yazimba ku musingi ogwo bwe kirisigalawo, aliweebwa empeera. 15Naye bwe kiryokebwa, alikifiirwa. Wabula ye yennyini alirokolebwa, kyokka ng'ali ng'ayise mu muliro.
16Temumanyi nga muli ssinzizo lya Katonda, era nga Mwoyo wa Katonda abeera mu mmwe?#Laba ne 1 Kor 6:19; 2 Kor 6:16 17Kale omuntu bw'azikiriza essinzizo lya Katonda, omuntu oyo alizikirizibwa Katonda, kubanga essinzizo lya Katonda ttukuvu, era essinzizo eryo ye mmwe. 18Waleme kubaawo yeerimba. Bwe wabaawo mu mmwe eyeerowooza okuba omugezi mu by'ensi, afuukenga musiru, lw'aliba omugezi, 19kubanga amagezi g'ensi, buba busirusiru mu maaso ga Katonda. Kyawandiikibwa nti: “Katonda akwatira abagezi mu bugezigezi bwabwe.”#Laba ne Yob 5:13 20Era kyawandiikibwa nti: “Mukama amanyi nti ebirowoozo by'abagezi tebiriimu nsa.”#Laba ne Zab 94:11
21Kale mulemenga kwenyumiririza mu bantu, kubanga byonna byammwe. 22Oba Pawulo, oba Apollo, oba Keefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebigenda okubaawo, byonna byammwe. 23Mmwe muli ba Kristo, ate Kristo wa Katonda.

Currently Selected:

1 ABAKORINTO 3: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in