YouVersion Logo
Search Icon

Mat 1

1
I. OBUTO BWA YEZU
Olulyo lwa Yezu Kristu
1 # Luk 3,23-38. Ekitabo ky'olulyo lwa Yezu Kristu omwana wa Dawudi, omwana wa Yiburayimu: 2Yiburayimu yazaala Yizaake, Yizaake n'azaala Yakobo, Yakobo n'azaala Yuda ne baganda be, 3#Ruus 4,18-22; 1 Ebyaf 2,1-15.Yuda n'azaala Perezi ne Zera mu Tamari, Perezi n'azaala Kezuroni, Kezuroni n'azaala Aramu,#1,3 Oba: Ramu. 4Aramu n'azaala Amminadabu, Amminadabu n'azaala Nakusoni, Nakusoni n'azaala Salumoni, 5Salumoni n'azaala Bowazi mu Rakabu, Bowazi n'azaala Obedi mu Ruusi, Obedi n'azaala Yesse, 6Yesse n'azaala Dawudi kabaka.
Dawudi yazaala Solomoni mu yali muka Wuriya. 7Solomoni n'azaala Rekobowamu, Rekobowamu n'azaala Abiya, Abiya n'azaala Asa, 8Asa n'azaala Yosafati, Yosafati n'azaala Yoramu, Yoramu n'azaala Wuzziya, 9Wuzziya n'azaala Yotamu, Yotamu n'azaala Akazi, Akazi n'azaala Kezekiya, 10Kezekiya n'azaala Manasse, Manasse n'azaala Amosi,#1,10 Oba: Amoni. Amosi n'azaala Yosiya. 11Yosiya n'azaala Yekoniya ne baganda be, mu budde obw'okutwalibwa mu busibe mu Babiloni.#2 Bak 24,14-15; 2 Ebyaf 36,10; Yer 27,20.
12Oluvannyuma lw'obusibe mu Babiloni, Yekoniya yazaala Seyalutyeli, Seyalutyeli n'azaala Zerubabbeli, 13Zerubabbeli n'azaala Abiyudi, Abiyudi n'azaala Eliyakimu, Eliyakimu n'azaala Azori, 14Azori n'azaala Zadoki, Zadoki n'azaala Akimu, Akimu n'azaala Eliyudi, 15Eliyudi n'azaala Eleyazari, Eleyazari n'azaala Mattani, Mattani n'azaala Yakobo, 16Yakobo n'azaala Yozefu bba Mariya, Mariya ono ye yazaala Yezu ayitibwa Kristu.
17Amazadde bwe gatyo: okuva ku Yiburayimu okutuuka ku Dawudi, gaali kkumi n'ana, okuva ku Dawudi okutuusa ku kutwalibwa mu busibe mu Babiloni gaali kkumi n'ana, ate okuva ku busibe mu Babiloni okutuuka ku Kristu, nago amazadde gaali kkumi n'ana.
Okuzaalibwa kwa Yezu
18 # Luk 1,27. Okuzaalibwa kwa Yezu Kristu kwali bwe kuti: Mariya nnyina ng'amaze okwogerezebwa Yozefu, nga tebannaba kubeera wamu, n'alabika ng'ali lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu. 19Naye Yozefu bba, kubanga yali mutuukirivu era nga tayagala kumuswaza, n'ateesa okumugoba mu kyama. 20Yali akyalowoolereza ekyo, malayika w'Omukama n'amulabikira mu kirooto, n'amugamba nti: “Yozefu, mutabani wa Dawudi, totya kuyingiza mumwo Mariya mukazi wo, kubanga olubuto lw'alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutuukirivu. 21#Luk 1,31.35; Yow 1,29; Ebik 13,23. Ajja kuzaala omwana wa bulenzi, ggwe onoomutuuma Yezu, kubanga alirokola abantu be mu bibi byabwe.”
22Ebyo byonna byaba bityo Omukama kye yayogera ng'ayita mu mulanzi kituukirire nti: 23#Yis 7,24.“Laba, omuwala embeerera anaaba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi; erinnya lye balimuyita Emmanweli,” ekivvuunulwa nti: 'Katonda ali naffe'. 24Yozefu bwe yazuukuka mu tulo, n'akola nga malayika w'Omukama bwe yali amulagidde, n'atwala mukazi we, 25#Luk 2,21. n'atamumanyira ddala okutuusa lwe yazaala omwana, n'amutuuma Yezu.
Abasajja bakalimagezi abaava ebuvanjuba

Currently Selected:

Mat 1: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy