Zekkaliya 7
7
1Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okuna ogwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Zekkaliya, ku lunaku olw'okuna olw'omwezi ogw'omwenda, mu Kisuleevu. 2#1 Sam 13:12, Mal 1:9Awo aba Beseri baali batumye Salezeeri ne Legemumereki n'abantu baabwe okwegayirira ekisa kya Mukama, 3#2 Bassek 25:8, Zek 12:12n'okwogera ne bakabona ab'omu nnyumba ya Mukama w'eggye ne bannabbi, nga boogera nti Nandikaabidde amaziga mu mwezi ogw'okutaano nga neeyawudde nga bwe nnakola mu myaka gino egyenkana wano? 4Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera 5#2 Bassek 25:25, Is 58:4,5, Zek 1:12nti Gamba abantu bonna ab'omu nsi ne bakabona ng'oyogera nti Bwe mwasiibanga ne mukubira ebiwoobe mu mwezi ogw'okutaano ne mu gw'omusanvu, mu myaka gino ensanvu, nze mwansiibira nze n'akatono? 6#1 Kol 11:20,21Era bwe mulya ne bwe munywa, temweriira mwekka, temwenywera mwekka? 7#Yer 17:26Tekibagwanidde kuwulira bigambo Mukama bye yalangiriranga mu bannabbi ab'edda, Yerusaalemi bwe kyalimu abantu era nga kiri mirembe, n'ebyalo byakyo ebyali bikiriraanye enjuyi zonna, n'ensi ey'obukiika obwa ddyo n'ensenyi nga bikyalimu abantu.
8Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Zekkaliya, nga kyogera 9#Kuv 22:21,22, Yer 5:28; 21:12, Mi 6:8, Mat 23:23nti Bw'ati bw'ayogedde Mukama w'eggye, nti Musalenga emisango egy'ensonga, era mukolenga buli muntu muganda we ekisa n'okusaasira; 10era muleme okujooganga nnamwandu ne bamulekwa, omugenyi n'omwavu; era muleme okulowoozanga obubi omuntu yenna eri munne mu mutima gwammwe. 11#Nek 9:29Naye ne bagaana okuwulira ne baggyawo ekibegabega ne baziba amatu gaabwe baleme okuwulira. 12#2 Byom 36:16, Nek 9:30, Ez 11:19Weewaawo, ne bakakanyaza emitima gyabwe ng'ejjinja ery'embaalebaale baleme okuwulira amateeka n'ebigambo Mukama w'eggye bye yaweererezanga n'omwoyo gwe mu mukono gwa bannabbi ab'edda; obusungu bungi kyebwava buva eri Mukama w'eggye. 13#Nge 1:24-28, Yer 11:11Awo olwatuuka bwe yayogerera waggulu, nabo ne bagaana okuwulira; bwe kityo balikaaba, nange ndigaana okuwulira, bwe yayogera Mukama w'eggye; 14#Ez 12:15,19, Zef 3:6naye ndibasaasaanyiza n'embuyaga ez'akazimu wakati w'amawanga ge batamanyanga. Awo ensi n'eyonooneka ennyuma waabwe, omuntu yenna alemenga okuyitamu wadde okuddamu; kubanga baagifuula amatongo ensi eyeegombebwa.
Currently Selected:
Zekkaliya 7: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.