Zekkaliya 6
6
1Era ate ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amagaali ana nga gava wakati w'ensozi ebbiri; n'ensozi za bikomo. 2#Zek 1:8Ku ggaali ery'olubereberye kwaliko embalaasi za lukunyu; ne ku ggaali ery'okubiri kwaliko embalaasi enzirugavu; 3ne ku ggaali ery'okusatu kwaliko embalaasi enjeru; ne ku ggaali ery'okuna kwaliko embalaasi eza kikuusikuusi ezitobeseemu obwoya obweru. 4Ne nziramu ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Ebyo biki, mukama wange? 5#Zab 104:4, Beb 1:7Malayika n'addamu n'aŋŋamba nti Ebyo ze mpewo ennya ez'omu ggulu eziva okuyimirira mu maaso ga Mukama w'ensi zonna. 6Liri eririko embalaasi enzirugavu livuddeyo okugenda mu nsi ey'obukiika obwa kkono; n'enjeru zaavaayo ennyuma waazo; n'ezitobeseemu obwoya obweru zavaayo okugenda mu nsi ey'obukiika obwa ddyo. 7N'eza kikuusikuusi zaavaayo nga zaagala okugenda zitambuletambule mu nsi; n'ayogera nti Muveeyo, mutambuletambule mu nsi. Awo ne zitambulayambula mu nsi. 8Awo n'ankoowoola n'aŋŋamba nti Laba, ezo ezigenda mu nsi ey'obukiika obwa kkono banzikakkanyirizza omwoyo mu nsi ey'obukiika obwa kkono.
9Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera 10#2 Bassek 25:18nti Ggya ku abo abaatwalibwa okufugibwa obuddu, ku Kaludai, ne ku Tobiya ne ku Yedaya; naawe ojje ku lunaku luli oyingire mu nnyumba ya Yosiya, omwana wa Zeffaniya, mwe batuuse nga bavudde e Babulooni; 11era obaggyeko effeeza n'ezaabu obakolere engule ozitikkire ku mutwe gwa Yosuwa, omwana wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu; 12omugambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba omuntu, erinnya lye Ettabi; naye aliroka mu kifo kye ye, era alizimba yeekaalu ya Mukama: 13#Zab 21:5; 110:4, Ez 21:27oyo ye alizimba yeekaalu ya Mukama; era oyo ye alitwala ekitiibwa, alituula ku ntebe ye alifuga; era aliba kabona ku ntebe ye; n'okuteesa okw'emirembe kulibeera wakati waabwe bombi. 14N'engule ezo ziribeera za Keremu ne Tobiya ne Yedaya ne Keeni, omwana wa Zeffaniya, ez'okubajjukiza mu yeekaalu ya Mukama. 15#Ma 30:1-3, Is 60:10, Zek 2:9Era abaali ewala balijja balizimba mu yeekaalu ya Mukama, era mulitegeeza nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli. N'ebyo biriba, oba nga mulinyiikira okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.
Currently Selected:
Zekkaliya 6: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.