Abaruumi 8
8
1Kale kaakano tebaliiko musango abali mu Kristo Yesu. 2#Bar 3:27; 7:23,24Kubanga etteeka ery'Omwoyo gw'obulamu mu Kristo Yesu lyanfuula ow'eddembe okunziya mu tteeka ly'ekibi n'ery'okufa. 3#Yok 1:14, Baf 2:7, Bik 13:38; 15:10, Beb 2:17; 4:15Kubanga amateeka kye gatayinza, kubanga manafu olw'omubiri, Katonda, bwe yatuma Omwana we ye mu kifaananyi ky'omubiri ogw'ekibi era olw'ekibi, n'asalira omusango ekibi mu mubiri: 4#Bag 5:16,25obutuukirivu bw'amateeka bulyoke butuukirizibwe mu ffe, abatatambula kugoberera mubiri, wabula omwoyo. 5Kubanga abagoberera omubiri, balowooza bya mubiri: naye abagoberera omwoyo, bya mwoyo. 6#Bar 6:21Kubanga okulowooza kw'omubiri kwe kufa; naye okulowooza kw'omwoyo bwe bulamu n'emirembe: 7#Mat 12:34, Yak 4:4, Yok 8:43; 12:39kubanga okulowooza kw'omubiri bwe bulabe eri Katonda; kubanga tekufugibwa mateeka ga Katonda, kubanga n'okuyinza tegakuyinza: 8n'abo abali mu mubiri tebayinza kusanyusa Katonda. 9#1 Kol 3:16; 12:3Naye mmwe temuli mu mubiri, wabula mu mwoyo, oba ng'Omwoyo gwa Katonda atuula mu mmwe. Naye omuntu bw'ataba na Mwoyo gwa Kristo, oyo wi wuwe. 10#Bag 2:20, Baf 1:21, 1 Peet 4:6Era oba nga Kristo ali mu mmwe, omubiri nga gufudde olw'ekibi; naye omwoyo bwe bulamu olw'obutuukirivu. 11Naye oba nga Omwoyo gw'oyo eyazuukiza Yesu mu bafu atuula mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu mu bafu, era n'emibiri gyammwe egifa aligifuula emiramu ku bw'Omwoyo gwe atuula mu mmwe.
12 #
Bar 6:7,18 Kale nno, ab'oluganda, tulina ebbanja: omubiri si gwe gutubanja, okugobereranga omubiri: 13#Bag 6:8, Bef 4:22-24kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa; naye bwe munaafiisanga ebikolwa by'omubiri olw'Omwoyo, muliba balamu. 14Kubanga bonna abakulemberwa Omwoyo gwa Katonda, abo be baana ba Katonda. 15#2 Tim 1:7, Bag 4:5,6Kubanga temwaweebwa nate mwoyo gwa buddu okutya, naye mwaweebwa Omwoyo ow'okufuuka abaana, atukaabya nti Aba, Kitaffe. 16#2 Kol 1:22Omwoyo yennyini wamu n'omwoyo gwaffe ategeeza nga tuli baana ba Katonda: 17#Bag 4:7, Kub 21:7naye bwe tuli abaana, era tuli basika: abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa.
18 #
2 Kol 4:17, Bar 5:2 Kubanga ngera ng'okubonaabona okw'omu biro bya kaakati nga tekutuuka kwenkanyaankanya n'ekitiibwa ekigenda okutubikkulirwa ffe. 19#Bak 3:4Kubanga okutunuulira ennyo okw'ebitonde kulindirira okubikkulirwa kw'abaana ba Katonda. 20#Mub 1:2, Lub 3:17-19; 5:29Kubanga ebitonde byateekebwa okufugibwa obutaliimu, si lwa kwagala kwabyo wabula ku bw'oyo eyabifugisa, mu kusuubira 21#2 Peet 3:13, 1 Yok 3:2nti era n'ebitonde byennyini nabyo biriweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery'ekitiibwa ky'abaana ba Katonda. 22Kubanga tumanyi ng'ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano. 23#2 Kol 5:2, Bag 5:5Era si ekyo kyokka, naye era naffe, abalina ebibala ebibereberye eby'Omwoyo, era naffe tusinda munda yaffe, nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw'omubiri gwaffe. 24#2 Kol 5:7Kubanga twalokoka lwa kusuubira: naye ekisuubirwa ekirabika si kusuubira: kubanga ani asuubira ky'alabako? 25Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n'okugumiikiriza.
26Era bwe kityo Omwoyo atubeera obunafu bwaffe: kubanga tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira: naye Omwoyo yennyini atuwolereza n'okusinda okutayogerekeka; 27#Zab 139:1, 1 Kol 4:5naye akebera emitima amanyi okulowooza kw'Omwoyo bwe kuli, kubanga awolereza abatukuvu nga Katonda bw'ayagala. 28#Bef 1:11; 3:11Era tumanyi nti eri abo abaagala Katonda era abayitibwa ng'okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna abibakolera wamu olw'obulungi. 29#Bak 1:18, Beb 1:6Kubanga bwe yamanya edda, era yabaawula dda okufaanaanyizibwa n'engeri y'Omwana we, abeerenga omubereberye mu b'oluganda abangi: 30era be yayawula edda, abo era yabayita: era be yayita, yabawa abo era obutuukirivu: era be yawa obutuukirivu, yabawa abo era ekitiibwa.
31 #
Zab 118:6, Mat 1:23 Kale tunaayogera tutya ku ebyo? Katonda bw'abeera ku lwaffe, omulabe waffe ani? 32#Yok 3:16Ataagaana Mwana we ye, naye n'amuwaayo ku lwaffe fenna, era talitugabira bintu byonna wamu naye? 33#Is 50:8Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda abawa obutuukirivu: 34#Zab 110:1, 1 Yok 2:1ani alibasalira omusango? Kristo Yesu eyafa, oba okusinga eyazuukira, ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, era atuwolereza. 35Ani alitwawukanya n'okwagala kwa Kristo? kulaba nnaku, oba kulumwa, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwereere, oba kabi, oba kitala? 36#Zab 44:22, 2 Kol 4:11Nga bwe kyawandiikibwa nti
Tuttibwa obudde okuziba, okutulanga ggwe:
Twabalibwa ng'endiga ez'okusalibwa.
37 #
Yok 16:33
Naye mu ebyo byonna tuwangudde n'okukirawo ku bw'oyo eyatwagala. 38Kubanga ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi, 39newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.
Currently Selected:
Abaruumi 8: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: