Abaruumi 7
7
1Oba temumanyi, ab'oluganda (kubanga ŋŋamba abategeera amateeka), ng'amateeka gafuga omuntu ng'akyali mulamu? 2Kubanga omukazi afugibwa bba ng'akyali mulamu; naye bba bw'afa, ng'asumuluddwa mu mateeka ga bba. 3Kale bwe kityo bba bw'aba ng'akyali mulamu bw'anaabanga n'omusajja omulala, anaayitibwanga mwenzi: naye bba bw'afa, nga wa busa eri amateeka, obutaba mwenzi bw'aba n'omusajja omulala. 4#Bak 2:14Bwe kityo, baganda bange, era nammwe mwafa ku mateeka olw'omubiri gwa Kristo, mubeere n'omulala, ye oyo eyazuukizibwa mu bafu, tulyoke tubalirenga Katonda ebibala. 5#Bar 6:21Kubanga bwe twabanga mu mubiri, okwegomba okubi, okuliwo olw'amateeka, kwakolanga mu bitundu byaffe okubaliranga okufa ebibala. 6#Bar 8:1,2; 6:2,4Naye kaakano twasumululwa mu mateeka, bwe twafa ku ekyo ekyabanga kitufuga, ffe tubeerenga abaddu mu buggya obw'omwoyo, so si mu nnukuta ez'edda.
7 #
Kuv 20:14,17, Ma 5:18,21 Kale tunaayogera tutya? Amateeka kye kibi? Kitalo. Naye ssanditegedde kibi, wabula mu mateeka: kubanga ssandimanye kwegomba, singa amateeka tegaayogera nti Teweegombanga: 8#Bar 5:13naye ekibi bwe kyalaba we kiyima, ne kikolanga mu nze olw'amateeka okwegomba kwonna: kubanga awataba mateeka ekibi nga kifudde. 9Nange edda nnabanga mulamu awatali mateeka: naye ekiragiro bwe kyajja, ekibi ne kizuukira, nange ne nfa; 10#Yak 1:15, Leev 18:5n'ekiragiro ekyali eky'okuleeta obulamu, ekyo ne kirabika gye ndi eky'okuleeta okufa: 11#Beb 3:13kubanga ekibi, bwe kyalaba we kiyima olw'ekiragiro, ne kinnimba, ne kinzita olw'ekyo. 12#1 Tim 1:8Bwe kityo amateeka matukuvu, n'ekiragiro kitukuvu, kituukirivu, kirungi. 13#Bar 5:20Kale ekirungi kyafuuka kufa gye ndi? Kitalo. Naye ekibi kirabike okuba ekibi, kubanga kye kyandeetera okufa olw'ekirungi; ekibi kiryoke kyeyongerenga okubeera ekibi olw'ekiragiro. 14#Zab 51:5, Yok 3:6Kubanga tumanyi ng'amateeka ge g'omwoyo: naye nze ndi wa mubiri, natundibwa okufugibwanga ekibi. 15Kubanga kye nkola, ssikimanyi; kubanga kye njagala si kye nkola; naye kye nkyawa kye nkola. 16Naye oba nga kye ssaagala kye nkola, nzikiriza amateeka nga malungi. 17Kale kaakano si nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula mu nze. 18#Lub 6:5; 8:21Kubanga mmanyi nga mu nze, gwe mubiri gwange, temutuula kirungi: kubanga okwagala kumbeera kumpi, naye okukola ekirungi tewali. 19Kubanga kye njagala ekirungi ssikikola: naye kye ssaagala ekibi kye nkola. 20Naye oba nga kye ssaagala kye nkola, si nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula mu nze. 21Bwe kityo ndaba etteeka nti nze bwe njagala okukola ekirungi, ekibi kimbeera kumpi. 22Kubanga nsanyukira amateeka ga Katonda mu muntu ow'omunda: 23#Bag 5:17, Yak 4:1, 1 Peet 2:11naye ndaba etteeka eddala mu bitundu byange nga lirwana n'etteeka ly'amagezi gange, era nga lindeeta mu bufuge wansi w'etteeka ly'ekibi eriri mu bitundu byange. 24Nze nga ndi muntu munaku! ani alindokola mu mubiri ogw'okufa kuno? 25#1 Kol 15:57Nneebaza Katonda ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe. Kale bwe kityo nze nzekka mu magezi ndi muddu wa mateeka ga Katonda, naye mu mubiri wa tteeka lya kibi.
Currently Selected:
Abaruumi 7: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: