YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 9

9
1Njogera amazima mu Kristo, sirimba, omwoyo gwange nga guntegeereza mu Mwoyo Omutukuvu, 2nga nnina ennaku nnyingi n'okulumwa okutamala mu mutima gwange. 3#Kuv 32:32Kubanga nandyagadde nze mwene okukolimirwa Kristo olwa baganda bange, ab'ekika kyange mu mubiri: 4#Kuv 4:22, Ma 7:6; 14:1,2be Baisiraeri; abaweebwa okufuuka abaana, n'ekitiibwa, n'endagaano, n'okuteekerwa amateeka, n'okuweerezanga Katonda, n'ebyasuubizibwa; 5#Bar 1:25, Mat 1:1, Luk 3:23, Yok 1:1abalina bajjajja abo, era omwava Kristo mu mubiri, afuga byonna, Katonda atenderezebwa emirembe gyonna. Amiina. 6#Bar 2:28, Kubal 23:19Naye si kubanga ekigambo kya Katonda kyavaawo. Kubanga abava mu Isiraeri, si be Baisiraeri bonna: 7so si kubanga lye zzadde lya Ibulayimu, kyebava babeera abaana bonna: naye, Mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga. 8Kwe kugamba nti abaana ab'omubiri, abo si be baana ba Katonda; naye abaana b'okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde. 9#Lub 18:10Kubanga ekigambo kino kye ky'okusuubiza, nti Ng'ebiro ebyo bwe biri ndijja, ne Saala aliba n'omwana. 10#Lub 25:21Naye si ekyo kyokka; era naye ne Lebbeeka bwe yalina olubuto olw'omu, Isaaka jjajjaffe 11kubanga nga tebannazaalibwa, so nga tebannakola kirungi oba kibi, okuteesa kwa Katonda mu kulonda kulyoke kunywere, si lwa bikolwa, wabula ku bw'oyo ayita, 12#Mat 25:23n'agambibwa nti Omukulu aliba muddu wa muto. 13#Mal 1:2,3Nga bwe kyawandiikibwa nti Yakobo n'amwagala, naye Essawu n'amukyawa.
14 # Ma 32:4 Kale tunaayogera tutya? Obutali butuukirivu buli eri Katonda? Kitalo. 15#Kuv 33:19Kubanga agamba Musa nti Ndisaasira gwe ndisaasira, era ndikwatirwa ekisa gwe ndikwatirwa ekisa. 16#Bef 2:8Kale bwe kityo si ky'oyo ayagala newakubadde adduka, wabula kya Katonda asaasira. 17#Kuv 9:16Kubanga ebyawandiikibwa bigamba Falaawo nti Kyennava nkuyimiriza, ndyoke njoleseze amaanyi gange mu ggwe, era erinnya lyange liryoke libuulirwe mu nsi zonna. 18#Kuv 4:21; 7:3; 9:12; 14:4,17Kale bwe kityo asaasira gw'ayagala okusaasira, era akakanyaza gw'ayagala okukakanyaza.
19Kale onoŋŋamba nti Kiki ekimunenyesa nate? Kubanga ani aziyiza by'ayagala? 20#Is 29:16; 45:9Naye ekisinga, ggwe omuntu, ggwe ani awakana ne Katonda? Ekibumbe kirigamba eyakibumba nti Kiki ekyakunkoza bw'oti? 21#Yer 18:6Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, mu kitole kimu okukola ekibya kimu eky'ekitiibwa, n'ekirala eky'ensonyi? 22#Yer 50:25Kiki, oba nga Katonda bwe yayagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa obuyinza bwe, yagumiikiriza n'okulindirira ennyo ebibya eby'obusungu ebyateekerwateekerwa okuzikirira: 23#Bef 1:3-12, Bar 2:4; 8:29alyoke amanyise obugagga obw'ekitiibwa kye ku bibya eby'okusaasirwa, bye yateekerateekera edda ekitiibwa, 24ye ffe, n'okuyita be yayita, si mu Bayudaaya bokka, era naye ne mu b'amawanga? 25#Kos 2:23Era nga bw'ayogera mu Koseya nti
Ndibayita abantu bange, abatali bantu bange;
Era ataayagalwa, ayagaliddwa.
26 # Kos 1:10 Awo mu kifo kye baagambirwamu nti Mmwe temuli bantu bange,
Mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu.
27 # Is 10:22,23, Bar 11:5 Era Isaaya ayogerera waggulu ebya Isiraeri nti Omuwendo gw'abaana ba Isiraeri oba guliba ng'omusenyu gw'ennyanja, ekitundu ekirisigalawo kye kirirokoka: 28kubanga Mukama alikola ekigambo kye ku nsi, ng'akituukiriza era ng'akisalako. 29#Is 1:9Era nga Isaaya bwe yasooka okwogera nti
Singa Mukama Ow'eggye teyatulekerawo zzadde,
Twandifuuse nga Sodomu, era twandifaanayizibbwa nga Ggomola.
30 # Bar 10:20 Kale tunaayogera tutya? Nti ab'amawanga, abataagobereranga butuukirivu, baatuuka ku butuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza; 31#Bar 10:2,3naye Isiraeri, mu kugobereranga amateeka ag'obutuukirivu, teyatuuka ku mateeka gali. 32#Is 8:14Lwa ki? Kubanga tebaabugobereranga nga bayima mu kukkiriza, wabula nga mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako: 33#Is 28:16, Mat 21:42, 1 Peet 2:6nga bwe kyawandiikibwa nti
Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n'olwazi olugwisa:
Era akkiriza oyo talikwasibwa nsonyi.

Currently Selected:

Abaruumi 9: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in