Abaruumi 6
6
1 #
Bar 3:5-8
Kale tunaayogera tutya? Tunyiikirenga okukola ekibi ekisa kyeyongerenga? 2Kitalo. Abaafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate? 3Oba temumanyi nga ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu, nga twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe? 4#1 Peet 3:21, Bak 2:12Kyetwava tuziikibwa awamu naye mu kubatizibwa okuyingira mu kufa: nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu olw'ekitiibwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya. 5#Baf 3:10,11Kuba obanga twagattibwa wamu naye mu kifaananyi ky'okufa kwe, era tuligattibwa ne mu kifaananyi ky'okuzuukira kwe; 6#Bag 5:24bwe tumanya kino ng'omuntu waffe ow'edda yakomererwa wamu naye, omubiri gw'ekibi gulyoke guggibwewo, tuleme okubeeranga nate abaddu b'ekibi; 7#1 Peet 4:1kubanga afa nga takyaliko musango eri ekibi. 8Naye oba nga twafiira wamu ne Kristo, era tukkiriza nga tulibeera balamu wamu naye; 9bwe tumanyi nga Kristo yamala okuzuukizibwa mu bafu takyafa nate; okufa tekukyamufuga. 10#Beb 9:26-28, Bag 2:19, 1 Peet 2:24Kubanga okufa kwe yafa yafa ku kibi omulundi gumu, naye obulamu bw'alina, ali nabwo eri Katonda. 11Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okubeera abafa ku kibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
12 #
Lub 4:7
Kale ekibi kiremenga okufuga mu mubiri gwammwe ogufa, okuwuliranga okwegomba kwagwo: 13#Bar 12:1, Bef 2:5; 5:14so temuwangayo bitundu byammwe eri ekibi okubanga eby'okukoza obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abalamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubanga eby'okukoza obutuukirivu eri Katonda. 14#1 Yok 3:6Kubanga ekibi tekiibenga mukama wammwe; kubanga amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa.
15 #
Bar 5:17,21 Kale tukole tutya? tukolenga ekibi, kubanga amateeka si ge gatufuga, wabula ekisa? Kitalo. 16#Yok 8:34, 2 Peet 2:19Temumanyi nga gwe mwewa okuba abaddu b'okuwulira, muli baddu b'oyo gwe muwulira, oba ab'ekibi okuleeta okufa, oba ab'okuwulira okuleeta obutuukirivu? 17Naye Katonda yeebale, kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye mwawulira mu mutima engeri eyo ey'okuyigirizibwa gye mwaweebwa; 18#Yok 8:32kale bwe mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, ne mufuuka abaddu b'obutuukirivu. 19Njogera mu buntu olw'obunafu bw'omubiri gwammwe: kuba nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe okuba abaddu eri obugwagwa n'eri obujeemu okujeemanga, bwe mutyo kaakano muwengayo ebitundu byammwe okubanga abaddu eri obutuukirivu okutukuzibwa. 20Kubanga bwe mwabanga abaddu b'ekibi, mwabanga ba ddembe eri obutuukirivu. 21#Ez 16:61,63, Bar 8:6,13Kale bibala ki bye mwalina mu biro biri eby'ebigambo ebibakwasa ensonyi kaakano? kubanga enkomerero yaabyo kufa. 22#1 Peet 1:9Naye kaakano bwe mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, ne mufuuka abaddu ba Katonda, mulina ebibala byammwe olw'okutukuzibwa, n'enkomerero bulamu obutaggwaawo. 23#Bar 5:12Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.
Currently Selected:
Abaruumi 6: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: