Abaruumi 5
5
1 #
Bar 3:24,28; 4:24, Is 53:5 Kale bwe twaweebwa obutuukirivu olw'okukkiriza, tubeerenga n'emirembe eri Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo. 2#Bef 3:12, Bar 3:23era eyatuweesa olw'okukkiriza okutuuka mu kisa kino kye tuyimiriddemu; era twenyumirizenga olw'okusuubira ekitiibwa kya Katonda. 3#Yak 1:2,3, 1 Peet 1:5-7So si ekyo kyokka, era naye twenyumirizenga mu kubonaabona kwaffe, nga tumanyi ng'okubonaabona kuleeta okugumiikiriza; 4nate okugumiikiriza kuleeta okukemebwa; nate okukemebwa kuleeta okusuubira: 5#Zab 22:5; 25:20, Beb 6:18,19nate okusuubira tekukwasa nsonyi, kubanga okwagala kwa Katonda kufukiddwa ddala mu mitima gyaffe, ku bw'Omwoyo Omutukuvu gwe twaweebwa. 6Kubanga bwe twali nga tukyali banafu, mu ntuuko ze Kristo yafiirira abatatya Katonda. 7Kubanga kizibu omuntu okufiirira omutuukirivu; kubanga omulungi mpozzi omuntu aguma n'okumufiirira. 8#Yok 3:16, 1 Yok 4:10Naye Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n'atufiirira. 9#Bar 1:18; 2:5,8Kale okusinga ennyo kaakano bwe twaweebwa obutuukirivu olw'omusaayi gwe, tugenda kulokoka mu busungu ku bubwe. 10#Bar 8:7Kuba obanga bwe twali tukyali balabe, twatabaganyizibwa ne Katonda olw'okufa kw'Omwana we, okusinga ennyo bwe twatabaganyizibwa tulirokoka olw'obulamu bwe; 11so si ekyo kyokka, era naye nga twenyumiririza mu Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, atuweesezza kaakano okutabagana.
12 #
Lub 2:17; 3:19, Bar 6:23 Olw'ebyo, nga ku bw'omuntu omu ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw'ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna, kubanga bonna baayonoona: 13#Bar 4:15Kubanga okutuusa ku mateeka ekibi kyali mu nsi: naye ekibi tekibalibwa, awataba mateeka. 14#1 Kol 15:21,22,45,55Naye okufa kwafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, era ne ku abo abataasobya ng'engeri ey'okwonoona kwa Adamu, ye kye kifaananyi ky'oyo agenda okujja. 15Naye ng'okwonoona kuli bwe kwali, era n'ekirabo tekyali bwe kityo. Kuba obanga olw'okwonoona kw'omu abaafa bangi, okusinga ennyo ekisa kya Katonda n'ekirabo olw'ekisa ky'omuntu oli omu Yesu Kristo kyasukkirira okubuna abangi. 16Era nga bwe kwajja ku bw'omu eyayonoona, ekirabo tekyali bwe kityo: kubanga omusango gwava ku omu okusinga, naye ekirabo ne kiva mu byonoono ebingi okuweesa obutuukirivu. 17Kuba obanga olw'okwonoona kw'omu okufa kwafuga ku bw'omu, okusinga ennyo abo abaweebwa ekisa ekisukkirivu n'ekirabo eky'obutuukirivu balifugira mu bulamu ku bw'oyo omu Yesu Kristo. 18#1 Kol 15:22Kale bwe kityo ng'olw'okwonoona kw'omu omusango bwe gwasinga abantu bonna, bwe kityo n'olw'obutuukirivu bw'omu ekirabo kyali ku bantu bonna okuweesa obutuukirivu bw'obulamu. 19#Is 53:11Kuba ng'olw'obutawulira bw'omuntu omu oli abangi bwe baafuuka ababi, bwe kityo n'olw'okuwulira kw'oyo omu abangi balifuuka abatuukirivu. 20#Bar 4:15; 7:8, Bag 3:19Era n'amateeka ne gayingira, okwonoona kusukkirire; naye ekibi bwe kyasukkirira, ekisa ne kisinga okusukkirira: 21#Bar 6:23ng'ekibi bwe kyafugira mu kufa, era n'ekisa bwe kityo kiryoke kifuge olw'obutuukirivu okuweesa obulamu obutaggwaawo, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe.
Currently Selected:
Abaruumi 5: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: