Abaruumi 4
4
1Kale kiki kye tunaayogera Ibulayimu jjajjaffe mu mubiri kye yalaba? 2Kubanga Ibulayimu singa yaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa, singa alina ekimwenyumirizisa; naye talina mu maaso ga Katonda. 3#Lub 15:6, Bag 3:6, Yak 2:23Kubanga ebyawandiikibwa byogera bitya? Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu. 4#Bar 11:6, Mat 20:7,14Kale, omukozi empeera ye temubalirwa lwa kisa, naye ng'ebbanja. 5Naye atakola, kyokka n'akkiriza oyo awa obutuukirivu abatatya Katonda, okukkiriza kwe kumubalirwa okuba obutuukirivu. 6#Zab 32:1,2Era nga Dawudi bw'ayogera omukisa gw'omuntu, Katonda gw'abalira obutuukirivu awatali bikolwa, nti
7Baweereddwa omukisa abaggibwako ebyonoono byabwe,
Ebibi byabwe byabikkibwako.
8Aweereddwa omukisa omuntu Mukama gw'atalibalira kibi.
9 #
Lub 15:6
Kale omukisa ogwo guli ku bakomole bokka, oba nantiki ku abo abatali bakomole? Kubanga tugambye nti okukkiriza kwe kwabalirwa Ibulayimu okuba obutuukirivu. 10Kale kwabalwa kutya? bwe yali ng'akomoleddwa, nantiki bwe yali nga tannakomolebwa? si bwe yali ng'akomoleddwa, naye nga tannakomolebwa: 11#Lub 17:10,11n'aweebwa ekyokulabirako eky'okukomolebwa, akabonero k'obutuukirivu obw'okukkiriza kwe yalina nga tannakomolebwa: alyoke abeerenga jjajjaabwe bonna abakkiriza nga si bakomole, babalirwenga obutuukirivu; 12#Mat 3:9, 1 Peet 2:21, 2 Kol 12:18era ne jjajja w'abakomole, so si w'abo abakomole obukomozi, naye abatambulira mu bigere by'okukkiriza kwa jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa. 13#Lub 18:18; 22:17,18Kubanga okusuubiza tekwaweerwa Ibulayimu newakubadde ezzadde lye mu mateeka, nti alibeera musika wa nsi zonna, wabula mu butuukirivu obw'okukkiriza. 14Kubanga ab'omu mateeka singa be basika, okukkiriza singa kudibye, era n'okusuubiza singa kuggiddwawo: 15#Bar 3:20; 5:13; 7:8,10kubanga amateeka galeeta obusungu; naye awatali mateeka, era tewabaawo kwonoona. 16Kyekuva kuva mu kukkiriza, kulyoke kubeerenga kwa kisa, okusuubiza kulyoke kunywere eri ezzadde lyonna, si eri ab'omu mateeka bokka, naye era n'eri ab'omu kukkiriza kwa Ibulayimu, ye jjajjaffe fenna 17#Lub 17:5, Is 48:13(nga bwe kyawandiikibwa nti Nkufudde jjajja w'amawanga amangi) mu maaso g'oyo gwe yakkiriza, ye Katonda, azuukiza abafu, era ayita ebitaliiwo ng'ebiriwo. 18#Lub 15:5Eyakkiriza mu ssuubi awatasuubirikika, alyoke abeerenga jjajja w'amawanga amangi, nga bwe kyayogerwa nti Ezzadde lyo liriba bwe lityo. 19#Lub 17:17N'atanafuwa mu kukkiriza bwe yalowooza omubiri gwe ye nga gufudde (nga yaakamala emyaka nga kikumi), n'olubuto lwa Saala nga lufudde: 20#Beb 11:7,11,34naye mu kusuubiza kwa Katonda teyabuusabuusa mu butakkiriza, naye n'afuna amaanyi olw'okukkiriza, ng'agulumiza Katonda, 21era ng'ategeerera ddala nga bye yasuubiza era ayinza n'okubikola. 22#Lub 15:6Era kyekwava kumubalirwa okuba obutuukirivu. 23#Bar 15:4Naye tekyawandiikibwa ku lulwe yekka nti kwamubalirwa; 24#1 Peet 1:21naye era ne ku lwaffe, abagenda okubalirwa, abakkiriza oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu, 25#Is 53:4,5, 1 Kol 15:17eyaweebwayo olw'ebyonoono byaffe n'azuukira olw'okutuweesa obutuukirivu.
Currently Selected:
Abaruumi 4: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: