YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 3

3
1Kale Omuyudaaya asinga atya? oba n'okukomolebwa kugasa ki? 2#Bar 9:4, Ma 4:7,8, Zab 103:7; 147:19, 1 Peet 4:11Kugasa nnyo mu bigambo byonna: eky'olubereberye kubanga baateresebwa Katonda bye yayogera. 3Kubanga kiba ki abamu bwe bataba na kukkiriza, obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda? 4#Zab 116:11; 51:4Kitalo: nedda, Katonda abeerenga wa mazima, naye buli muntu abeerenga mulimba; nga bwe kyawandiikibwa nti
Obeere n'obutuukirivu mu bigambo byo,
Osinge bw'osalirwa omusango.
5Naye obutali butuukirivu bwaffe bwe butenderezesa obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera tutya? Katonda talina butuukirivu aleeta obusungu? (Njogera mu buntu.) 6Kitalo: kubanga, (bwe kiba bwe kityo), Katonda alisalira atya ensi omusango? 7Naye amazima ga Katonda bwe geeyongera okulabika olw'obulimba bwange ye n'aweebwa ekitiibwa, nze kiki ekinsaliza omusango nate ng'omwonoonyi? 8#Bar 6:1,2era kiki ekitulobera okwogera (nga bwe tuwaayirizibwa, era ng'abamu bwe boogera nti tugamba) nti Tukolenga ebibi, ebirungi biryoke bijje? abo okusalirwa omusango kwa nsonga.
9 # Bar 1:18; 2:24 Kale kiki? ffe zisanze okusinga bo? Nedda n'akatono: kubanga tusoose okuwawaabira Abayudaaya era n'Abayonaani nti bonna bafugibwa kibi; 10#Zab 14:1-3; 53:2-4nga bwe kyawandiikibwa nti
Tewali mutuukirivu n'omu;
11Tewali ategeera,
Tewali anoonya Katonda;
12Bonna baakyama, baafuuka batasaana wamu;
Tewali akola obulungi, tewali n'omu;
13 # Zab 5:9; 140:3 Omumiro gwabwe ye ntaana eyasaamiridde;
Balimba n'ennimi zaabwe;
Obusagwa bw'embalasaasa buli wansi w'emimwa gyabwe:
14 # Zab 10:7 Akamwa kaabwe kajjudde okukolima n'okukaawa:
15 # Is 59:7,8 Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi;
16Okuzikirira n'obunaku biri mu makubo gaabwe;
17So tebamanyanga kkubo lya mirembe:
18 # Zab 36:1 Tewali kutya Katonda mu maaso gaabwe.
19 # Bar 2:12, Bag 3:22 Naye tumanyi nga byonna amateeka bye googera, gagamba abo abalina amateeka; buli kamwa konna kazibibwe, n'ensi zonna zibeereko omusango eri Katonda: 20#Zab 143:2, Bar 7:7, Bag 2:16kubanga olw'ebikolwa by'amateeka alina omubiri yenna taliweebwa butuukirivu mu maaso ge: kubanga amateeka ge gamanyisa ekibi. 21Naye kaakano awatali mateeka obutuukirivu bwa Katonda, obutegeezebwa amateeka ne bannabbi, bulabisibwa; 22bwe butuukirivu bwa Katonda olw'okukkiriza Yesu Kristo eri bonna abakkiriza; kubanga tewali njawulo; 23#Bar 3:9,19; 5:12kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda; 24#Bar 5:1, Bef 2:8naye baweebwa obutuukirivu bwa buwa lwa kisa kye olw'okununulibwa okuli mu Kristo Yesu: 25#Leev 16:12-15, Beb 4:16, Bef 1:7Katonda gwe yassaawo okuba omutango, olw'okukkiriza omusaayi gwe, okulaga obutuukirivu bwe, olw'okuleka ebibi ebyakolebwanga edda, Katonda ng'agumiikiriza; 26okulaga obutuukirivu bwe mu biro bino: alyoke abeere omutuukirivu era ng'awa obutuukirivu akkiriza Yesu. 27#1 Kol 1:29,31Kale okwenyumiriza kuli luuyi wa? Kwaziyizibwa. Kwaziyizibwa n'amateeka gafaanana gatya? ga bikolwa? Nedda: naye n'amateeka ga kukkiriza. 28#Bag 2:16Kyetuva tubala ng'omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza awatali bikolwa bya mu mateeka. 29#Bar 10:12Oba Katonda, Katonda wa Bayudaaya? era si Katonda wa ba mawanga? Weewaawo, era wa ba mawanga: 30#Bar 4:11,12oba nga Katonda ali omu, aliwa obutuukirivu abakomole olw'okukkiriza, n'abatali bakomole olw'okukkiriza. 31#Bar 4:3; 8:4, Mat 5:17Kale amateeka tugaggyawo olw'okukkiriza? Kitalo: nedda, tuganyweza bunyweza.

Currently Selected:

Abaruumi 3: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in