Abaruumi 2
2
1 #
Mat 7:2, Yok 8:7 Kyova olema okubeera n'eky'okuwoza, ggwe buli muntu anenya: kubanga ky'onenya munno, weenenyeza ddala wekka; kubanga ggwe anenya okola ebyo. 2Era tumanyi ng'okunenya kwa Katonda nga kwa mazima ku abo abakola bwe batyo. 3Ggwe omuntu, anenya abakola bwe batyo naawe n'okola ebyo, olowooza ng'olirokoka mu kunenya kwa Katonda? 4#2 Peet 3:15Oba onyoomye obugagga bw'obulungi bwe n'obuwombeefu n'okugumiikiriza, nga tomanyi ng'obulungi bwa Katonda bukuleeta mu kwenenya? 5Naye nga bw'olina obukakanyavu n'omutima oguteenenya, weeterekera obusungu obuliba ku lunaku olw'obusungu omusango ogw'ensonga gwa Katonda kwe gulibikkukira; 6#Zab 62:12, Nge 24:12, Mat 16:27, Yok 5:29, 2 Kol 5:10alisasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe byali: 7abanoonya ekitiibwa n'ettendo n'obutaggwaawo mu kugumiikiriza nga bakola bulungi alibasasula obulamu obutaggwaawo: 8#2 Bas 1:8naye ku abo abayomba, n'abatawulira mazima, naye bawulira obutali butuukirivu kulibeera obusungu n'obukambwe, 9#Bar 1:16; 3:9okubonyaabonyezebwa n'okulumizibwa, ku buli bulamu bw'omuntu akola obubi, okusookera ku Muyudaaya era ne ku Muyonaani: 10naye ekitiibwa n'ettendo n'emirembe ku buli akola obulungi, okusookera ku Muyudaaya era ne ku Muyonaani: 11#Bik 10:34, 1 Peet 1:17kubanga Katonda tasosola mu bantu. 12Kubanga bonna abaayonoonanga awatali mateeka, era balibula awatali mateeka: era bonna abaayonoonanga nga balina amateeka, balisalirwa omusango n'amateeka; 13#Mat 7:21, 1 Yok 3:7, Yak 1:22,25kubanga abawulira obuwulizi amateeka si be batuukirivu eri Katonda, naye abakola eby'amateeka be baliweebwa obutuukirivu: 14#Bik 10:35kubanga ab'amawanga abatalina mateeka bwe bakola mu buzaaliranwa eby'amateeka, abo, bwe bataba na mateeka, beebeerera amateeka bokka: 15#Bar 1:32kubanga balaga omulimu gw'amateeka nga gwawandiikibwa mu mitima gyabwe, omwoyo gwabwe nga gutegeeza wamu, n'ebirowoozo byabwe nga biroopagana oba nga biwozagana byokka na byokka; 16#2 Tim 2:8ku lunaku Katonda kw'alisalira omusango gw'ebyama by'abantu, ng'enjiri yange bw'eri, ku bwa Yesu Kristo.
17 #
Yak 2:19
Naye ggwe bw'oyitibwa Omuyudaaya, ne weesigama ku mateeka, ne weenyumiririza mu Katonda, 18#Baf 1:10n'omanya by'ayagala, n'osiima ebisinga obulungi, ng'oyigirizibwa mu mateeka, 19#Mat 15:14, Luk 18:9ne weetegeera ggwe okubeera omusaale w'abazibe b'amaaso, omusana gw'abali mu kizikiza, 20#2 Tim 3:5omulagirizi w'abatalina magezi, omuyigiriza w'abaana abato, ng'olina ekyokulabirako eky'amagezi n'eky'amazima mu mateeka; 21#Zab 50:16-21, Mat 23:3,4kale ggwe ayigiriza omulala, teweeyigiriza wekka? abuulira obutabbanga, obba? 22ayogera obutayendanga, oyenda? akyawa ebifaananyi, obba eby'omu biggwa? 23eyeenyumiririza mu mateeka, olw'okusobya amateeka oswaza Katonda? 24#Is 52:5, Ez 36:20Kubanga erinnya lya Katonda livvoolebwa mu b'amawanga ku lwammwe, nga bwe kyawandiikibwa. 25#Yer 4:4; 9:24,25Kubanga okukomolebwa kugasa, bw'okwata amateeka: naye bw'oba omusobya w'amateeka okukomolebwa kwo kufuuse butakomolebwa. 26#Bag 5:6Kale atali mukomole bw'akwata ebiragiro ebiri mu mateeka, obutakomolebwa bwe tebulibalibwa kuba kukomolebwa? 27era atali mukomole mu buzaaliranwa, bw'atuukiriza amateeka, talikusalira musango ggwe, omusobya w'amateeka, ng'olina ennukuta n'okukomolebwa? 28#Yok 8:15,39; 7:24Kubanga Omuyudaaya ow'okungulu si ye Muyudaaya; so n'okukomolebwa kw'omubiri okw'okungulu si kwe kukomolebwa: 29#Lub 49:8, Ma 30:6, Bak 2:11naye Omuyudaaya ow'omunda ye Muyudaaya; n'okukomolebwa kwe kw'omutima, mu mwoyo, si mu nnukuta; atatenderezebwa bantu, wabula Katonda.
Currently Selected:
Abaruumi 2: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: