YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 1

1
1 # Bik 9:15; 13:2, Bag 1:15 Pawulo, omuddu wa Yesu Kristo, eyayitibwa okuba omutume, eyayawulirwa enjiri ya Katonda, 2#Tit 1:2, Bar 16:25,26gye yasuubiriza edda mu bannabbi be mu byawandiikibwa ebitukuvu, 3#Bar 9:5, 2 Sam 7:12, Mat 22:42, 2 Tim 2:8ebigambo ebyogera ku Mwana we, eyazaalibwa mu zzadde lya Dawudi mu mubiri, 4#Bik 13:33eyalagibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi, mu mwoyo gw'obutukuvu, olw'okuzuukira kw'abafu, Yesu Kristo Mukama waffe, 5#Bik 26:16-18, Bar 15:18, Bag 2:7,9eyatuweesa ekisa n'obutume olw'okuwulira okuva mu kukkiriza mu mawanga gonna, olw'erinnya lye; 6era nammwe muli mu bo, abayitibwa okuba aba Yesu Kristo: 7#1 Kol 1:2, 2 Kol 1:1, Bef 1:1, Kubal 6:25,26eri bonna abali mu ruumi, abaagalwa Katonda, abayitibwa okuba abatukuvu: ekisa kibe nammwe n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
8 # Bar 16:19, 1 Bas 1:8 Okusooka, nneebaza Katonda wange ku bwa Yesu Kristo ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kubuulirwa mu nsi zonna. 9#Baf 1:8, Bef 1:16Kubanga Katonda ye mujulirwa wange, gwe mpeerereza mu mwoyo gwange mu njiri y'Omwana we, bwe njogera ku mmwe obutamala, 10#Bik 19:21, Bar 15:23,32nga nneegayirira bulijjo mu kusaba kwange, ndyoke ntambuzibwe bulungi ne kaakano, Katonda bw'ayagala, okujja gye muli. 11#Bik 28:31Kubanga mbalumirwa okubalaba, ndyoke mbawe ku kirabo eky'omwoyo, mulyoke munywezebwe: 12#2 Peet 1:1kwe kusanyukagana awamu nammwe olw'okukkiriza kwammwe n'okwange. 13#Yok 15:16Era, ab'oluganda, saagala muleme kumanya ng'emirundi mingi nalowoozanga okujja gye muli (ne nziyizibwanga okutuusa kaakano), era ndyoke mbeereko n'ebibala mu mmwe, era nga mu mawanga amalala. 14Abayonaani era ne bannaggwanga, ab'amagezi era n'abasirusiru, bammanja. 15Era kyenva njagala okubabuulira enjiri nammwe abali mu Ruumi nga bwe nnyinza. 16#Zab 119:46, 1 Kol 1:18,24, Bik 13:46Kubanga enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda olw'okulokoka eri buli akkiriza, okusookera ku Muyudaaya era n'eri Omuyonaani. 17#Bar 3:21,22, Kaab 2:4Kubanga mu yo Obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa obuva mu kukkiriza okutuusa mu kukkiriza: nga bwe kyawandiikibwa nti Naye omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.
18 # Yok 16:9, 2 Bas 2:12 Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibwa okuva mu ggulu ku butatya Katonda bwonna n'obutaba na butuukirivu obw'abantu abaziyiza amazima mu butaba na butuukirivu; 19#Bik 14:15-17; 17:24-28kubanga ebya Katonda ebimanyika birabika eri bo: kubanga Katonda yabibalabisa. 20#Zab 19:1, Beb 11:3, Yob 12:7-9Kubanga ebibye ebitalabika okuva ku kutonda ensi birabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde, obuyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe; babeere nga tebalina kya kuwoza: 21#Bef 4:18, Kub 14:7kubanga, bwe baamanya Katonda, ne batamugulumizanga nga Katonda newakubadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne guzikirizibwa. 22#Yer 10:14, 1 Kol 1:20Bwe beeyita ab'amagezi, so nga baasiruwala, 23#Zab 106:20, Ma 4:15-19ne bawaanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okufaanana ekifaananyi ky'omuntu aggwaawo, n'eky'ebibuuka n'eky'ebirina amagulu ana n'eky'ebyewalula.
24 # Bik 14:16 Katonda kyeyava abawaayo eri obugwagwa mu kwegomba kw'emitima gyabwe, okwonoonanga ekitiibwa ky'emibiri gyabwe bokka na bokka: 25#Bar 9:5kubanga amazima ga Katonda baagawaanyisaamu obulimba, ne basinzanga ne baweerezanga ekitonde okusinga Omutonzi, eyeebazibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
26Katonda kyeyava abawaayo eri okukwatibwa okw'ensonyi: kubanga abakazi baabwe baawaanyisa ekikolwa kyabwe eky'obuzaaliranwa ne bakifuula ekitali kya buzaaliranwa: 27#Leev 18:22; 20:13, 1 Kol 6:9era n'abasajja bwe batyo, bwe baaleka ekikolwa eky'omukazi eky'obuzaaliranwa, ne baakanga mu kwegomba kwabwe bokka na bokka, abasajja n'abasajja nga bakolagananga ebitasaana, era nga baweebwanga mu bo bokka empeera eyo eyasaanira okwonoona kwabwe.
28Era nga bwe batakkiriza kubeera ne Katonda mu magezi gaabwe, Katonda yabawaayo eri omwoyo ogutakkirizibwa, okukolanga ebitasaana; 29nga bajjudde obutaba na butuukirivu bwonna, obubi, okwegomba, ettima; nga bajjudde obuggya, obussi, okuyomba, obukuusa, enge; abageya, 30abalyolyoma, abakyawa Katonda, ab'ekyejo, ab'amalala, abeenyumiriza, abayiiya ebigambo ebibi, abatawulira bazadde baabwe, 31abatalina magezi, abaleka endagaano, abataagalana, abatalina kusaasira: 32abamanya omusango gwa Katonda, nti abakola ebyo basaanidde kufa, tebabikola bukozi, era naye basiima ababikola.

Currently Selected:

Abaruumi 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in