YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 16

16
1Mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, ye muweereza w'ekkanisa ey'omu Kenkereya: 2mulyoke mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era mumuyambe mu kigambo kyonna ky'alyetaaga gye muli: kubanga naye yennyini yayamba bangi, era nange nzennyini.
3 # Bik 18:2,18,26 Mumulamuse Pulisika ne Akula abaakolera awamu nange mu Kristo Yesu, 4abaawaayo obulago bwabwe olw'obulamu bwange; be sseebaza nze nzekka, era naye n'ekkanisa zonna ez'ab'amawanga: 5#1 Kol 16:15,19era mulamuse ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe. Mulamuse Epayineeto, gwe njagala, kye kibala eky'olubereberye eky'omu Asiya eri Kristo. 6Mulamuse Malyamu, eyabakolera mmwe emirimu emingi. 7#2 Kol 8:23Mulamuse Anduloniiko ne Yuniya, ab'ekika kyange, era abaasibirwa awamu nange, ab'amaanyi mu batume, era abansooka okubeera mu Kristo. 8Mulamuse Ampuliyaato, gwe njagala mu Mukama waffe. 9Mulamuse Ulubano, akolera awamu naffe mu Kristo, ne Sutaku gwe njagala. 10Mulamuse Apere akkirizibwa mu Kristo. Mubalamuse ab'omu nnyumba ya Alisutobulo. 11Mulamuse Kerodiyoni, ow'ekika kyange. Mubalamuse ab'omu nnyumba ya Nalukiso, abali mu Mukama waffe. 12Mulamuse Terufayina ne Terufoosa abaakola emirimu mu Mukama waffe. Mulamuse Perusi omwagalwa, eyakola emirimu emingi mu Mukama waffe. 13#Mak 15:21Mulamuse Luufo, eyalondebwa mu Mukama waffe, ne nnyina, ye mmange. 14Mulamuse Asunkulito, Fulegoni, Kerume, Patuloba, Keruma, n'ab'oluganda abali awamu nabo. 15Mulamuse Firologo ne Yuliya, Nerewu ne mwannyina, ne Olumpa, n'abatukuvu bonna abali awamu nabo. 16#1 Kol 16:20, 1 Peet 5:14Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu. Ekkanisa zonna eza Kristo zibalamusizza.
17Era mbeegayiridde, ab'oluganda, mutunuulirenga abo abaleeta eby'okwawukanya n'eby'okwesittaza, ebitali bya kuyigiriza kwe mwayiga: mubakubenga amabega abo. 18#Baf 3:19, Ez 13:18, Bak 2:4, 2 Peet 2:3Kubanga abaliŋŋanga abo si baddu ba Mukama waffe Kristo, naye ba mbuto zaabwe bokka; era n'ebigambo ebirungi n'eby'okunyumya obulungi balimbalimba emitima gy'abo abatalina kabi. 19#Bar 1:8, Mat 10:16, 1 Kol 14:20Kubanga okuwulira kwammwe kwabuna mu bonna. Kyenvudde mbasanyukira mmwe: naye njagala mmwe okubeeranga abagezi mu bulungi, era abasirusiru mu bubi. 20#Bar 15:33, Lub 3:15Era Katonda ow'emirembe alibetenta Setaani wansi w'ebigere byammwe mangu.
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
21 # Bik 16:1; 19:22; 20:4, Baf 2:19 Timoseewo, akolera awamu nange, abalamusizza; ne Lukiyo ne Yasooni ne Sosipateri, ab'ekika kyange. 22Nze Terutiyo, awandiise ebbaluwa eno, mbalamusizza mu Mukama waffe. 23#1 Kol 1:14Gayo, ansuza nze n'ekkanisa yonna, abalamusizza. Erasuto, omuwanika w'ekibuga, abalamusizza, ne Kwaluto, ow'oluganda. [ 24Ekisa kya Mukama waffe Kristo Yesu Kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.]
25 # Bef 1:9; 3:5,9, Bak 1:26 Era oyo ayinza okubanyweza ng'enjiri yange n'okubuulirwa kwa Yesu Kristo bwe biri, ng'ekyama bwe kibikkuddwa ekyasirikirwa okuva mu biro eby'emirembe n'emirembe, 26#2 Tim 1:10, Bar 1:5naye kaakati kirabise ne kitegeezebwa amawanga gonna mu byawandiikibwa bya bannabbi, nga bwe yalagira Katonda ataggwaawo, olw'okuwulira okuva mu kukkiriza; 27#1 Tim 1:17, Balam 1:25Katonda ow'amagezi omu yekka aweebwenga ekitiibwa ku bwa Yesu Kristo emirembe egitaggwaawo. Amiina.

Currently Selected:

Abaruumi 16: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in