YouVersion Logo
Search Icon

1 Abakkolinso 1

1
1Paulo, eyayitibwa okuba omutume wa Yesu Kristo olw'okwagala kwa Katonda, ne Sossene ow'oluganda, 2#1 Kol 6:11, Bik 9:14eri ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso, abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abaayitibwa okuba abatukuvu, wamu ne bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, ye Mukama waabwe era owaffe: 3#Bar 1:7ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
4Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olw'ekisa kya Katonda kye mwaweerwa mu Kristo Yesu; 5kubanga mu buli kigambo mwagaggawalira mu ye, mu kwogera kwonna ne mu kutegeera kwonna; 6ng'okutegeeza kwa Kristo bwe kwanywezebwa mu mmwe: 7#Luk 17:30, 2 Bas 1:7, Tit 2:13mmwe obutaweebuuka mu kirabo kyonna; nga mulindirira okubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo; 8#Baf 1:6, 1 Bas 3:13; 5:23era alibanyweza okutuusa ku nkomerero, obutabaako kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo. 9#1 Bas 5:24, 1 Yok 1:3Katonda mwesigwa, eyabayisa okuyingira mu kusseekimu kw'Omwana we Yesu Kristo Mukama waffe.
10 # Baf 2:2; 3:16 Naye mbeegayirira, ab'oluganda, olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mwenna okwogeranga obumu, so okwawukana kulemenga okuba mu mmwe, naye mugattirwenga ddala mu magezi gamu ne mu kulowooza kumu. 11Kubanga nnabuulirwa ebifa gye muli, baganda bange, abo ab'omu nnyumba ya Kuloowe, ng'eriyo ennyombo mu mmwe. 12#Bik 18:24,27, 1 Kol 3:4, Yok 1:42Kye njogedde kye kino nti buli muntu mu mmwe ayogera nti Nze ndi wa Pawulo; nange wa Apolo; nange wa Keefa; nange wa Kristo. 13Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yakomererwa ku lwammwe? oba mwabatizibwa okuyingira mu linnya lya Pawulo? 14#Bik 18:8, Bar 16:23Nneebaza Katonda kubanga sibatizanga muntu yenna mu mmwe, wabula Kulisupo ne Gaayo; 15omuntu yenna alemenga okwogera nga mwabatizibwa okuyingira mu linnya lyange. 16Era nnabatiza n'ennyumba ya Suteefana: nate simanyi nga nnabatiza omulala yenna. 17#Yok 4:2, Mat 28:19Kubanga Kristo teyantuma kubatiza, wabula okubuulira enjiri: si mu magezi ga bigambo, omusalaba gwa Kristo gulemenga okuba ogw'obwereere.
18Kubanga ekigambo eky'omusalaba bwe busirusiru eri abo ababula; naye eri ffe abalokolebwa ge maanyi ga Katonda. 19#Is 29:14Kubanga kyawandiikibwa nti
Ndizikiriza amagezi g'abagezigezi,
N'obukabakaba bw'abakabakaba ndibuggyawo.
20 # Yob 12:17, Is 19:12; 33:18 Omugezigezi aluwa? omuwandiisi aluwa? omuwakanyi ow'omu nsi muno aluwa? Katonda teyasiruwaza magezi ga nsi? 21#Mat 11:25, Luk 8:12Kubanga mu magezi ga Katonda ensi olw'amagezi gaayo bw'etaategeera Katonda, Katonda n'asiima olw'obusirusiru obw'okubuulira okwo okulokola abo abakkiriza. 22#Mat 12:38, Yok 4:48, Bik 17:18,32Kubanga Abayudaaya basaba obubonero, n'Abayonaani banoonya amagezi: 23#1 Kol 2:14, Bar 9:32naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa, eri Abayudaaya nkonge, n'eri ab'amawanga busirusiru; 24#Bak 2:3naye eri abo abayite Abayudaaya era n'Abayonaani, Kristo maanyi ga Katonda, era magezi ga Katonda. 25#2 Kol 13:4Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga abantu amagezi; n'obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.
26 # Mat 11:25, Yok 7:48 Kubanga mutunuulire okuyitibwa kwammwe, ab'oluganda, ng'ab'amagezi ag'omubiri si bangi abayitibwa, ab'amaanyi si bangi, ab'ekitiibwa si bangi: 27#Yak 2:1-5naye Katonda yalonda ebisirusiru eby'ensi, abagezigezi abakwase ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby'ensi, akwase ensonyi eby'amaanyi; 28n'ebikopi by'ensi n'ebinyoomebwa Katonda yabironda era n'ebitaliiwo, aggyewo ebiriwo: 29#Bar 3:27, Bef 2:9omubiri gwonna gulemenga okwenyumiriza mu maaso ga Katonda. 30#Yer 23:5,6, 2 Kol 5:21, Yok 17:19Naye ku bw'oyo mmwe muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, era n'obutuukirivu, n'okutukuzibwa, n'okununulibwa: 31#Yer 9:23,24nga bwe kyawandiikibwa nti Eyeenyumiriza, yeenyumiririzenga mu Mukama.

Currently Selected:

1 Abakkolinso 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in