YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 15

15
1Era ffe abalina amaanyi kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw'abo abatalina maanyi, so si kwesanyusanga fekka. 2#1 Kol 9:19; 10:24,33Buli muntu mu ffe asanyusenga munne mu bulungi olw'okuzimba. 3#Zab 69:9Kubanga era ne Kristo teyeesanyusanga yekka: naye, nga bwe kyawandiikibwa, nti Ebivume byabwe abaakuvuma byagwa ku nze. 4#Bar 4:23,24, 1 Kol 10:11Kubanga byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, tulyoke tubeerenga n'okusuubira olw'okugumiikiriza n'olw'okusanyusa kw'ebyawandiikibwa. 5#Baf 3:16Era Katonda w'okugumiikiriza n'okusanyusa abawe mmwe okulowoozanga obumu mwekka na mwekka mu ngeri ya Kristo Yesu: 6mulyoke muwenga ekitiibwa Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, n'omwoyo ogumu n'akamwa akamu. 7Kale musembezaganyenga mwekka na mwekka, nga Kristo bwe yabasembeza mmwe, olw'ekitiibwa kya Katonda. 8#Mat 15:24, Bik 3:25Kubanga njogera nti Kristo yali muweereza w'abakomole olw'amazima ga Katonda, okunyweza ebyasuubizibwa eri bajjajja, 9#Bar 11:30, Zab 18:49, 2 Sam 22:50era ab'amawanga balyoke bawenga Katonda ekitiibwa olw'okusaasira; nga bwe kyawandiikibwa nti
Kyennaavanga nkwatula mu b'amawanga,
Era nnaayimbiranga erinnya lyo.
10 # Ma 32:43 Era nate ayogera nti
Musanyukenga, mmwe ab'amawanga, wamu n'abantu be.
11 # Zab 117:1 Era nate nti
Mutenderezenga Mukama, mmwe ab'amawanga mwenna;
Era ebika byonna bimutenderezenga.
12 # Is 11:10, Kub 5:5 Era nate Isaaya ayogera nti
Waliba ekikolo kya Yese,
Era ayimirira okufuga ab'amawanga;
Oyo ab'amawanga gwe balisuubira.
13Era Katonda ow'okusuubirwa abajjuze mmwe essanyu lyonna n'emirembe olw'okukkiriza, mmwe musukkirirenga mu kusuubira, mu maanyi g'Omwoyo Omutukuvu.
14Era nange nze ntegeeredde ddala ebyammwe, baganda bange, nga nammwe mujjudde obulungi, mujjudde okutegeera kwonna, nga muyinza n'okubuuliriragananga mwekka na mwekka. 15#Bar 1:5; 12:3Naye nneeyongedde okuguma katono okubawandiikira, nga kubajjukiza nate, olw'ekisa kye nnaweebwa Katonda, 16#Bar 11:13, Baf 2:17nze okubeeranga omuweereza wa Kristo Yesu eri ab'amawanga nga nkolera enjiri ya Katonda omulimu gwa kabona, ssaddaaka y'ab'amawanga eryoke esiimibwe ng'etukuzibwa Omwoyo Omutukuvu. 17Kale okwenyumiriza ndi nakwo mu Kristo Yesu mu bya Katonda. 18#2 Kol 3:5Kubanga siryaŋŋanga kwogera kigambo kyonna wabula Kristo bye yankoza, olw'okuwulira kw'ab'amawanga, mu kigambo ne mu kikolwa, 19#Mak 16:17mu maanyi g'obubonero n'eby'amagero, mu maanyi g'Omwoyo Omutukuvu; bwe kityo okuva mu Yerusaalemi n'okwetooloola okutuuka mu Iruliko, natuukiriza enjiri ya Kristo; 20#2 Kol 10:15,16naye nga njagala ekitiibwa kino okubuuliranga enjiri, si awayatulibwa erinnya lya Kristo, nnemenga okuzimba ku musingi gwa beene; 21#Is 52:15naye nga bwe kyawandiikibwa nti
Baliraba abatabuulirwanga bigambo bye,
Era abataawulira balitegeera.
22 # Bar 1:10-13 Era kyennavanga nziyizibwa emirundi emingi okujja gye muli: 23naye kaakati, kubanga sikyalina bbanga mu nsi zino, era kubanga okuva mu myaka mingi nnali njagala okujja gye muli, 24#1 Kol 16:6we ndigendera mu Esupaniya (kubanga nsuubira okubalaba nga mpitayo, mmwe mumperekereko okuntuusa eyo, bwe ndimala okubalabako n'okusanyukirako awamu nammwe); 25#Bik 19:21; 20:22naye kaakati ŋŋenda e Yerusaalemi, okuweereza abatukuvu. 26#1 Kol 16:1, 2 Kol 8:1; 9:2,12Kubanga ab'e Makedoni n'ab'e Akaya baasiima okusolooleza ebintu abaavu ab'omu batukuvu abali e Yerusaalemi. 27#Bar 9:4, 1 Kol 9:11Kubanga basiima; era nga bababanja. Kuba oba ng'ab'amawanga basseekimu n'ebyabwe eby'omwoyo, babanja okubaweereza nate eby'omubiri. 28Kale bwe ndimala ekyo, bwe ndibakwasiza ddala ebibala ebyo, ndivaayo, okuyita ewammwe okugenda e Supaniya. 29#Bar 1:11Era mmanyi nga bwe ndijja gye muli ndijja mu mukisa gwa Kristo nga gutuukiridde.
30 # 2 Kol 1:11, Baf 1:27, Bak 4:3, 2 Bas 3:1 Era mbeegayiridde, ab'oluganda, ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okwagala kw'Omwoyo, okufubiranga awamu nange mu kunsabira Katonda; 31ndyoke mpone mu abo abatawulira mu Buyudaaya, n'okuweereza kwange kwe ntwala e Yerusaalemi kusiimibwe abatukuvu; 32ndyoke njije gye muli n'essanyu olw'okwagala kwa Katonda, mpummulire wamu nammwe. 33Era Katonda ow'emirembe abeerenga nammwe mwenna. Amiina.

Currently Selected:

Abaruumi 15: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in