YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 14

14
1 # Bar 15:1, 1 Kol 8:9 Naye atali munywevu mu kukkiriza mumusembezenga, naye si lwa kusala musango gwa mpaka. 2#Lub 1:29; 9:3Omulala akkiriza n'okulya n'alya byonna: naye atali munywevu alya nva. 3#Bak 2:16Alya tanyoomanga atalya; era atalya tasaliranga musango alya: kubanga Katonda yamusembeza. 4#Mak 7:1, Yak 4:11,12Ggwe ani asalira omusango omuweereza wa beene? eri mukama we yekka ayimirira oba agwa. Naye aliyimirira; kubanga Mukama waffe ayinza okumuyimiriza. 5#Bag 4:10Omuntu omulala alowooza olunaku olumu okusinga olulala, omulala alowooza ennaku zonna okwenkanankana. Buli muntu ategeererenga ddala mu magezi ge yekka. 6Alowooza olunaku, alulowooza ku bwa Mukama waffe: n'oyo alya, alya ku bwa Mukama waffe, kubanga yeebaza Katonda; n'oyo atalya, talya ku bwa Mukama waffe, era yeebaza Katonda. 7Kubanga tewali muntu mu ffe eyeebeerera omulamu ku bubwe yekka, era tewali eyeefiira ku bubwe yekka. 8#Bag 2:20, 1 Bas 5:10, Luk 20:38Kubanga bwe tubeera abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama waffe: oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama waffe: kale, bwe tuba abalamu, oba bwe tufa, tuba ba Mukama waffe. 9Kubanga Kristo kyeyava afa n'abeera omulamu, alyoke abeerenga Mukama w'abafu era n'abalamu. 10#Bik 17:31, 2 Kol 5:10, Mat 25:31,32Naye ggwe kiki ekikusaliza omusango muganda wo? oba naawe kiki ekikunyoomesa muganda wo? kubanga fenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ey'emisango eya Katonda. 11#Is 45:23; 49:18, Baf 2:10,11Kubanga kyawandiikibwa nti
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, buli vviivi lirinfukaamirira,
Na buli lulimi lulyatula Katonda.
12 # Bag 6:5 Kale bwe kityo buli muntu mu ffe alibalirira omuwendo gwe yekka eri Katonda.
13Kale tulemenga okusalira bannaffe emisango nate fekka na fekka: naye waakiri musale omusango guno, obutaleeteranga wa luganda ekyesittaza oba nkonge. 14#Mat 15:11, Bik 10:15, Tit 1:15Mmanyi era ntegeeredde ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kintu kya muzizo mu buwangwa bwakyo: wabula eri oyo akirowooza nga kya muzizo, kiba kya muzizo. 15#1 Kol 8:11-13Kuba oba nga muganda wo anakuwala olw'emmere, nga tokyatambulira mu kwagala. Tomuzikirizanga lwa mmere yo oyo Kristo gwe yafiirira. 16#Tit 2:5Kale ekirungi kyammwe kiremenga okuvumibwa: 17#Luk 17:20kubanga obwakabaka bwa Katonda si kwe kulya n'okunywa, wabula butuukirivu na mirembe na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu. 18Kubanga aweereza Kristo bw'ati asanyusa nnyo Katonda, n'abantu bamusiima. 19#Bar 12:18; 15:2Kale bwe kityo tugobererenga eby'emirembe, n'eby'okuzimbagananga fekka na fekka. 20Toyonoonanga mulimu gwa Katonda lwa mmere. Byonna birungi; naye kinaabanga kibi eri oyo alya nga yeesittala. 21#1 Kol 8:13Kirungi obutalyanga nnyama newakubadde okunywanga omwenge, newakubadde okukolanga byonna ebyesitazza muganda wo oba ebimunyiiza oba ebimunafuya. 22Okukkiriza kw'olina, beeranga nakwo wekka mu maaso ga Katonda. Oyo alina omukisa ateesalira musango mu kigambo ky'asiima. 23Naye oyo abuusabuusa azza musango bw'alya, kubanga talya mu kukkiriza; na buli ekitava mu kukkiriza, kye kibi. #Tit 1:15

Currently Selected:

Abaruumi 14: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in