Abaruumi 13
13
1 #
1 Tim 3:1, Yok 19:11, Nge 8:15 Buli muntu awulirenga abakulu abafuga: kubanga tewali bukulu butava eri Katonda; n'abakulu abaliwo baalagirwa Katonda. 2Awakanya obukulu kyava awakanya okulagira kwa Katonda: era abawakanya balyezzaako omusango bo bokka. 3#1 Peet 2:13,14; 3:13Kubanga abafuga si ba kutiisa mu kikolwa ekirungi, wabula mu kibi. Era oyagala obutatya bukulu? kola bulungi, alikusiima: 4#Zab 82:6, Bar 12:19kubanga ye muweereza wa Katonda eri ggwe olw'obulungi. Naye bw'okola obubi, tya; kubanga takwatira kitala bwereere: kubanga ye muweereza wa Katonda, awalana obusungu ku oyo akola obubi. 5Kyekivudde kibagwanira okuwulira, si lwa busungu bwokka, naye era ku lw'omwoyo gwammwe. 6Era kyemuva muwa omusolo; kubanga be baweereza ba Katonda, nga banyiikirira mu mulimu ogwo. 7#Mat 22:21Musasulenga bonna amabanja gaabwe: ab'omusolo musolo; ab'empooza mpooza; ab'okutiibwa kutya; ab'ekitiibwa kitiibwa.
8 #
Bag 5:14, 1 Tim 1:5 Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga: kubanga ayagala muntu munne, ng'atuukirizza amateeka. 9#Kuv 20:13-17, Leev 19:18, Ma 5:17Kubanga kino nti Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga, n'etteeka eddala lyonna, ligattiddwa mu kino, nti Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka. 10#Bik 17:31, 2 Kol 5:10, Mat 25:31,32Okwagala tekukola bubi muntu munne: okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.
11 #
Is 45:23; 49:18, Baf 2:10,11 Era mukolenga bwe mutyo, kubanga mumanyi ebiro, ng'obudde butuuse kaakano mmwe okuzuukuka mu tulo: kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga bwe twakkiriza. 12#Bag 6:5Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya: kale twambule ebikolwa eby'ekizikiza, era twambale ebyokulwanyisa eby'omusana. 13Tutambulenga nga tuwoomye nga mu musana, si mu binyumu ne mu mbaga ez'okutamiiranga, si mu bwenzi n'obukaba, si mu kuyombanga n'obuggya. 14#Bag 3:27Naye mwambale Mukama waffe Yesu Kristo, so temutegekeranga mubiri, olw'okwegomba.
Currently Selected:
Abaruumi 13: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: