Abaruumi 12
12
1 #
Bar 6:11,13, 1 Peet 2:5, Yok 4:24 Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaasira kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi. 2#Bef 4:23; 5:10,17, Bar 1:28, Bag 1:4So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by'ayagala, ebirungi, ebisanyusa, ebituufu.
3 #
1 Kol 12:11, Bef 4:7 Kubanga njogera, olw'ekisa kye nnaweebwa, eri buli muntu ali mu mmwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky'okukkiriza. 4#1 Kol 12:12Kuba nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, naye ebitundu byonna tebirina mulimu gumu: 5#1 Kol 12:27, Bef 4:25bwe kityo ffe abangi tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli ebitundu bya bannaffe fekka na fekka. 6#1 Kol 12:4Era bwe tulina ebirabo ebitenkanankana ng'ekisa kye twaweebwa bwe kiri, oba bunnabbi, tubuulirenga mu kigera ky'okukkiriza kwaffe; 7#1 Peet 4:10,11oba kuweereza, tunyiikirenga mu kuweereza kwaffe; oba ayigiriza, anyiikirenga mu kuyigiriza kwe; 8#Mat 6:3, 2 Kol 8:2; 9:7oba abuulirira, mu kubuulirira kwe: agaba, agabenga awatali bukuusa; afuga afugenga n'okunyiikira; asaasira, asaasirenga n'essanyu. 9#1 Peet 1:22, 1 Tim 1:5, Am 5:15Okwagala kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga obubi, mwegattenga n'obulungi. 10#2 Peet 1:7, Baf 2:3Mu kwagala kw'ab'oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka; mu kitiibwa buli muntu agulumizenga munne; 11#Kub 3:15, Bik 18:25mu kunyiikira si bagayaavu; abasanyufu mu mwoyo; nga mubeeranga baddu ba Mukama waffe; 12#1 Bas 5:17musanyukenga mu kusuubira; mugumiikirizenga mu bunaku; munyiikirenga mu kusaba; 13#Beb 13:2mugabirenga abatukuvu bye beetaaga; mwanirizenga abagenyi. 14#Mat 5:44, Bik 7:59, 1 Kol 4:12Musabirenga ababayigganya; musabirenga, so temukolimanga. 15#Zab 35:12Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; mukaabirenga wamu n'abo abakaaba. 16#Nge 3:7, Bar 15:5; 11:20Mulowoozenga bumu mwekka na mwekka. Temwegulumizanga, naye mugendenga n'abo abatalina bukulu. Temubanga ba magezi mu maaso gammwe mwekka. 17Temuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Mwetegekenga ebirungi mu maaso g'abantu bonna. 18#Mak 9:50, Beb 12:14Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n'abantu bonna. 19#Ma 32:35, Leev 19:18, Mat 5:39, 2 Bas 1:6,7, Bar 13:4, Beb 10:30Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu: kubanga kyawandiikibwa nti Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'ayogera Mukama. 20#Nge 25:21,22, Mat 5:44Naye omulabe wo bw'alumwanga enjala, muliisenga; bw'alumwanga ennyonta, munywesenga: kubanga bw'okola bw'otyo, olimukumira amanda g'omuliro ku mutwe gwe. 21Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw'obulungi.
Currently Selected:
Abaruumi 12: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: