YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa By'Abatume 28

28
1Bwe twamala okulokoka ne tulyoka tutegeera ng'ekizinga kiyitibwa Merita. 2#Bik 27:3, 2 Kol 11:27Bannaggwanga ne batukola obulungi obutali bwa bulijjo: kubanga baakuma omuliro, ne batusembeza fenna olw'enkuba eyatonnya n'olw'empewo. 3Naye Pawulo bwe yakuŋŋaanya omuganda gw'obuku, n'agussa mu muliro, embalasaasa n'evaamu olw'ebbugumu n'emwerippa ku mukono. 4Bannaggwanga bwe baalaba ekyekulula nga kireebeetera ku mukono, ne bagamba bokka na bokka nti Mazima omuntu ono mussi; newakubadde ng'alokose mu nnyanja, omusango tegumuganya kubeera mulamu. 5#Mak 16:18Naye n'akunkumulira mu muliro ekyekulula n'atabaako kabi. 6#Bik 14:11Naye bali ne balowooza nti anaazimba oba anaasinduka, okugwa eri nga mufu: naye bwe baalwawo ennyo nga bamutunuulira ne batalaba kibi ky'abaddeko, ne bakyuka ne bagamba nti katonda.
7Waaliwo kumpi n'ekifo ekyo ensuku z'omuntu omukulu w'ekizinga, erinnya lye Pubuliyo; oyo n'atusembeza n'atujjanjabira n'ekisa ennaku ssatu. 8Awo kitaawe wa Pubuliyo yali agalamidde, ng'alwadde omusujja n'ekiddukano ky'omusaayi: Pawulo n'ayingira mw'ali, n'asaba n'amussaako emikono n'amuwonya. 9Ekyo bwe kyakolebwa, abalala nabo abaali ku kizinga abaalina endwadde ne bajja ne bawonyezebwa: 10era abo ne batuwa ekitiibwa kinene; bwe twali tuvaayo ne baleeta ku lyato ebintu bye twetaaga.
11Emyezi esatu bwe gyayitawo, ne tuviirayo mu kyombo eky'e Alegezanderiya, ekyali ku kizinga mu biro eby'omuyaga, akabonero kaakyo Ab'oluganda abalongo. 12Ne tugoba mu Sulakusa ne tumalayo ennaku ssatu: 13ne tuvaayo ne twetooloola ne tutuuka e Regio: bwe waayitawo olunaku lumu, empewo ez'omuggundu ne zikunta, ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka e Putiyooli; 14gye twasanga ab'oluganda ne batuyita okumala wamu nabo ennaku musanvu: awo bwe tutyo ne tutuuka e Ruumi 15Ab'oluganda bwe baawulira ebigambo byaffe ne bavaayo okutusisinkana mu Katale ka Apiyo ne mu Bisulo Ebisatu: Pawulo bwe yabalabako ne yeebaza Katonda n'aguma omwoyo.
16 # Bik 27:3 Bwe twayingira mu Ruumi, Pawulo n'alagirwa okubeera yekka wamu ne sserikale eyali amukuuma. 17#Bik 23:1Awo bwe waayitawo ennaku ssatu, n'ayita abakulu b'Abayudaaya: bwe baamala okukuŋŋaana n'abagamba nti Nze, abasajja ab'oluganda, newakubadde nga saakola kibi ku bantu newakubadde ku mpisa za bajjajjaffe, naye nnasibibwa ne mpeebwayo mu mikono gy'Abaruumi mu Yerusaalemi: 18abo bwe baamala okunkemereza ne baagala okunsumulula, kubanga tewaali nsonga gye ndi ya kunzisa. 19#Bik 25:11Naye Abayudaaya bwe baagaana, ne mpalirizibwa okujulira Kayisaali, si ng'alina ekigambo okuloopa eggwanga lyaffe. 20#Bik 26:6,7Kale olw'ensonga eyo mbayise okundaba n'okwogera nange: kubanga olw'essuubi lya Isiraeri nsibiddwa n'olujegere luno. 21Bo ne bamugamba nti Ffe so tetuweebwanga bbaluwa za bigambo byo okuva mu Buyudaaya, so tewali ku b'oluganda eyali azze n'atubuulira oba n'ayogera ekigambo ekibi ku ggwe. 22#Bik 24:14, Luk 2:34Naye twagala okuwulira okuva gy'oli by'olowooza: kubanga ebigambo by'enzikiriza eno, tumanyi nti kiwerebwa wonna wonna.
23Ne bamulaga olunaku ne bajja bangi gy'ali mu kisulo; n'abannyonnyola ng'ategeeza obwakabaka bwa Katonda, era ng'abakkirizisa ebigambo bya Yesu mu mateeka ga Musa ne mu bya bannabbi okusooka enkya okutuusa akawungeezi. 24Abamu ne bakkiriza bye yayogera, abamu ne batakkiriza. 25Bwe bataatabagana bokka na bokka, ne bagenda, Pawulo bwe yamala okwogera ekigambo kimu, nti Omwoyo Omutukuvu yagamba bulungi bajjajjammwe mu nnabbi Isaaya 26ng'agamba nti
Genda eri abantu bano, oyogere nti
Okuwulira muliwulira, ne mutategeera;
Okulaba muliraba, ne muteetegeereza#Is 6:9,10, Mat 13:14, Mak 4:12, Yok 12:40
27Kubanga omutima gw'abantu bano gusavuwadde,
N'amatu gaabwe bawulira bubi,
N'amaaso gaabwe bagazibye;
Baleme okulaba n'amaaso,
N'okuwulira n'amatu,
N'okutegeera n'omutima gwabwe,
N'okukyuka,
Nze okubawonya.
28Kale mutegeere nti obulokozi bwa Katonda buno buweerezebbwa ab'amawanga: nabo balibuwulira. [29#Zab 67:2; 98:3, Luk 3:6, Bik 13:46Bwe yayogera ebigambo ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.]
30N'amalayo emyaka ebiri miramba ewuwe yekka mu nju gye yapangisa, n'asembezanga bonna abajjanga gy'ali, 31#Bik 1:3; 28:23ng'abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era ng'ayigirizanga n'obugumu bwonna ebigambo bya Mukama Yesu Kristo, n'ataziyizibwanga.

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in