Zabbuli 8
8
Ya mukulu wa bayimbi; ey'e Kigaasi. Zabbuli ya Dawudi.
1 #
Zab 113:4; 148:13 Ai Mukama, Mukama waffe,
Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna!
Ggwe eyateeka ekitiibwa kyo ku ggulu.
2 #
Zab 44:16, Mat 11:25; 21:16, 1 Kol 1:27 Mu kamwa k'abawere n'abayonka wanyweza amaanyi,
Olw'abalabe bo,
Olyoke osirise omulabe n'oyo awalana eggwanga.
3 #
Lub 1:16, Zab 19:1; 111:2, Bar 1:20 Bwe ndowooza eggulu lyo, omulimu gw'engalo zo,
Omwezi n'emmunyeenye, bye walagira;
4 #
Beb 2:6-8
#
Yob 7:17; 25:6, Zab 144:3 Omuntu kye kiki, ggwe okumujjukira,
Oba omwana w'omuntu, ggwe okumujjira?
5 #
Lub 1:26-28, Zab 21:5, 1 Kol 15:27, Bef 1:22 Kubanga wamukola okubulako akatono okuba nga Katonda,
Era omussaako engule ey'ekitiibwa n'ettendo.
6Wamufuza emirimu egy'emikono gyo;
Wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye:
7Endiga zonna n'ente,
Era n'ensolo ez'omu nsiko;
8Ennyonyi eza waggulu, n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja,
Buli kintu ekiyita mu makubo ag'ennyanja.
9Ai Mukama, Mukama waffe,
Erinnya lyo nga ddungi nnyo
mu nsi zonna!
Currently Selected:
Zabbuli 8: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.